| |
|
Omulokozi eyazuukira |
| 1 |
Kale mbategeeza, ab'oluganda, enjiri gye nnababuulira, era gye mwaweebwa, era gye, munywereramu, |
| 2 |
era gye mulokokeramu; mbategeeza ebigambo bye nnagibuuliriramu, oba nga muginyweza, wabula nga mwakkiririza bwereere. |
| 3 |
Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera; |
| 4 |
era nga yaziikibwa; era nga yazuukizibwa ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe byogera; |
| 5 |
era nga palabikira Keefa; n'alyoka alabikira ekkumi n'ababiri; |
| 6 |
n'alyoka alabikira ab'oluganda abasingawo ebitaano omulundi gumu, ku abo bangi abakyali abalamu okutuusa kaakano, naye abamu beebaka; |
| 7 |
n'alyoka alabikira Yakobo; n'alyoka alabikira abatume bonna; |
| 8 |
era oluvannyuma lwa bonna n'alabikira nange ng'omwana omusowole. |
| 9 |
Kubanga nze ndi muto mu batume, atasaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda.
|
| 10 |
Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi; n'ekisa kye ekyali gye ndi tekyali kya bwereere; naye nnakola emirimu mingi okusinga bonna: naye si aze, wabula ekisa kya Katonda ekyali nange. |
| 11 |
Kale oba nze oba bo, bwe tutyo bwe tubuulira, era bwe mutyo bwe mwakkiriza.
|
| 12 |
Naye Kristo bw'abuulirwa nga yazuukizibwa mu bafu, abamu mu mmwe boogera batya nga tewali kuzuukira kwa bafu?
|
| 13 |
Naye oba nga tewali kuzuukira kwa bafu, era ne Kristo teyazuukizibwa; |
| 14 |
era oba nga Kristo teyazuukizibwa, kale okubuulira kwaffe tekuliimu, so n'okukkiriza kwammwe tekuliimu. |
| 15 |
Era naye tulabika ag'abajulirwa ab'obulimba aba Katonda; kubanga twategeeza Katonda nga yazuukiza Kristo: gw'ataazuukiza, oba ng'a bafu tebazuukizibwa. |
| 16 |
Kuba oba ng'abafu tebazuukizibwa, era ne Kristo teyazuukizibwa: |
| 17 |
era oba nga Kristo teyazuukizibwa, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa; mukyali mu bibi byammwe. |
| 18 |
Kale era n'abo abeebaka mu Kristo baabula. |
| 19 |
Oba nga mu bulamu buno bwokka mwe tubeeredde n’essuubi mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna: |
| 20 |
Naye kaakano Kristo yazuukizibwa mu bafu, gwe mwaka omubereberye ogw'abo abeebaka. |
| 21 |
Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n’okuzuukira kw'abafu kwabaawo ku bwa muntu. |
| 22 |
Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu. |
| 23 |
Naye buli muntu mu kifo kye ye: Kristo gwe mwaka omubereberye; oluvannyuma aba Y,risto mu kujja kwe. |
| 24 |
Enkomerero n'eryoka etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw'aliba ng'amaze okuggyawo okufuga kwonna n'amaanyi gonna n'obuyinza. |
| 25 |
Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw'alissa abalabe be bonna wansi w'ebigere bye. |
| 26 |
Omulabe ow'enkomerero aliggibwawo, kwe kufa. |
| 27 |
Kubanga kyawandiikibwa nti Yassa byonna wansi w'ebigere bye. Naye bw'ayogera nti Byonna byassibwa wansi, kitegeerekeka ng'oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we. |
| 28 |
Naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we, era n'Omwana yennyini n'alyoka assibwa wansi w'oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna. |
| 29 |
Kubanga balikola batya ababatizibwa ku Iw'abafu? oba ng'abafu tebazuukizibwa ddala, kiki ekibabatizisa ku lw'abo? |
| 30 |
Naffe lwaki okubeera mu kabi buli kaseera? |
| 31 |
Nfa bulijjo, ndayidde okwenyumiriza okwo ku lwammwe, kwe ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waffe. |
| 32 |
Oba nga nnalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, ngasibwa ntya? Oba ng'abafu tebazuukizibwa, tulye tunywe, kubanga tufa enkya. |
| 33 |
Temulimbwanga: Okukwana n'ababi kwonoona empisa ennungi. |
| 34 |
Mutamiirukukenga mu butuukirivu, so temwonoonanga; kubanga abalala tebategeera Katonda: njogedde kubakwasa nsonyi. |
| 35 |
Naye omuntu alyogera nti Abafu bazuukizibwa batya? era mubiri ki gwe bajja nagwo? |
| 36 |
Mu sirusiru ggwe, gy'osiga teba nnamu wabula ng'efa: |
| 37 |
ne gy'osiga, tosiga mubiri oguliba, wabula mpeke njereere, mpozzi ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala; |
| 38 |
naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yokka. |
| 39 |
Ennyama yonna si nnyama emu: naye endala ya bantu, n'endala ya nsolo, n'endala ya nnyonyi, n'endala ya byannyanja. |
| 40 |
Era waliwo emibiri egy'omu ggulu n'emibiri egy'omu nsi: naye ekitiibwa eky'egy'omu ggulu kirala, n'eky'egy'omu nsi kirala. |
| 41 |
Ekitiibwa ky'enjuba kirala, n'ekitiibwa ky'omwezi kirala, n'eldtiibwa ly'emmunyeenye kirala: kubanga emmunyeenye teyenkana na ginnaayo kitiibwa. |
| 42 |
Era n'okuzuukira kw'abafu bwe kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda: |
| 43 |
gusigibwa awatali kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maanyi: |
| 44 |
gusigibwa nga mubiri gwa mukka; guzuukizibwa mubiri gwa mwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omukka, era waliwo n'ogw'omwoyo. |
| 45 |
Era bwe kityo kyawandiikibwa nti Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu. Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu. |
| 46 |
Naye eky'omwoyo tekisooka, wabula eky'omukka; oluvannyuma kya mwoyo. |
| 47 |
Omuntu ow'olubereberye yava mu nsi, wa ttaka: omuntu ow'okubiri yava mu ggulu. |
| 48 |
Ng'oli ow'ettaka bwe yali, era n'ab'ettaka bwe bah bwe batyo: era ng'oli ow'omu ggulu bw'ali; era n'ab'omu ggulu bwe bali batyo. |
| 49 |
ra nga bwe twatwala ekifaananyi ky'oli ow'ettaka, era tulitwala n'ekifaananyi ky'oli ow'omu ggulu. |
| 50 |
Naye kino kye njogera, ab'oluganda, ng'omubiri n'omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda so okuvunda. tekusikira butavunda: |
| 51 |
Laba, mbabuulira ekyama: tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa, |
| 52 |
mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa. |
| 53 |
Kubanga oguvunda guno,kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa. |
| 54 |
Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti Okufa kumiriddwa mu kuwangula. |
| 55 |
Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa? |
| 56 |
Okuluma kw'okufa kye kibi; n'amaanyi g'ekibi ge mateeka: |
| 57 |
naye Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo. |
| 58 |
Kale, baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng'okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe. |
| |
|