|
|
| 1 |
Kale muteekenga wala obubi bwonna n'obukuusa bwonaa n'obunnanfuusi n'obuggya n'okwogera obubi kwonna, |
| 2 |
ng'abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag'omwoyo agataliimu bulimba; galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu |
| 3 |
oba nga rnwalega ku Mukama waffe bw'ali omulungi: |
| 4 |
nga mujja eri oyo, ejjinja eddamu, eryagaanibwa abantu, naye eri Katonda ddonde, lya muwendo mungi, |
| 5 |
era nammwe ng'amayinja amalamu muzimbibwa ennyumba ey'omwoyo okubeeranga bakabona abatukuvu okuwangayo ssaddaaka ez'omwoyo, ezisiimibwa Katonda ku bwa Yesu Kristo. |
| 6 |
Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa ati Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja ekkulu ery'oku nsonda, eddonde, ery'omuwendo omungi: Era amukkiriza talikwasibwa nsonyi. |
| 7 |
Kale eri mmwe abakkiriza omuwendo mungi: naye eri abatakkiriza, Ejjinja abazimbi lye baagaana, eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda; |
| 8 |
era Ejjinja eryesittalwako, era olwazi olusuula; kubanga beesittala ku kigambo nga tebagonda; era kwe baateekerwawo. |
| 9 |
Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw'ekitalo: |
| 10 |
edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda: abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa. |
| 11 |
Abaagalwa, mbeegayirira ng'abayise n'abatambuze, okwewalanga okwegomba kw'omubiri okulwana n'obulamu; |
| 12 |
nga mulina empisa zammwe mu b'amawanga ennungi; nga bwe baboogerako ng'abakola obubi, olw'ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw'okulabirwamu. |
| 13 |
Mugonderenga buli kiragiro ky'abantu ku bwa Mukama waffe: oba kabaka nga ye asinga bonna; |
| 14 |
oba abaamasaza, nga ye b'atuma olw'okukangavvulanga abakola obubi, n'olw'okusiimanga abakola obulungi. |
| 15 |
Kubanga Katonda bw'ayagala bw'atyo, mmwe okusirisanga obutamanya bw'abantu abasirusiru nga mukola obulungi: |
| 16 |
ng'ab'eddembe, so si ng'abalina eddembe lyammwe olw'okukisa obubi, naye ng'abaddu ba Katonda. |
| 17 |
Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab'oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa kabaka. |
| 18 |
Abaweereza, mugonderenga bakama bammwe mu kutya kwonna, si balungi bokka n'abawombeefu, naye era n'abakambwe. |
| 19 |
Kubanga kino kye kisiimibwa, omuntu bw'agumiikiriza okulumwa olw'okujjukira Katonda, ng'abonyaabonyezebwa awatali nsonga. |
| 20 |
Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda. |
| 21 |
Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye: |
| 22 |
ataakola kibi, newakubadde obukuusa tebwalabika mu kamwa ke: |
| 23 |
bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw'ensonga: |
| 24 |
eyeetikka ye yennyini ebibi byaffe mu mubiri gwe ku muti, ffe nga tumaze okufa ku bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri obutuukirivu; okukubibwa kw'oyo kwe kwabawonya. |
| 25 |
Kubanga mwali mukyama ng'endiga; naye kaakano mukomyewo eri Omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe. |
| |
|