| |
|
Dawudi ne Goliyasi |
| 1 |
Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya eggye lyabwe okulwana, ne bakuŋŋaanira e Soko ekya Yuda, ne basiisira wakati We Soko ne Azeka mu Efusudammimu. |
| 2 |
Sawulo n'abasajja ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu kiwoavu Era, ne basimba ennyiriri okulwana n'Abafirisuuti. |
| 3 |
Abafirisuuti ne bayimirira ku lusozi eruuyi ne Isiraeri n'ayimirira ku lusozi eruuyi: ne waba ekiwonvu wakati waabwe. |
| 4 |
Ne mu lusiisira olw'Abafrisuuti ne muva omuzira, erinnya lye Goliyaasi, ow'e Gaasi, obuwanvu bwe emikono mukaaga ko oluta; |
| 5 |
Era yali atikkide seppewo ey'ekikomo ku mutwe gwe, n'ayambala ekizibawo eky'ekikomo; n'obuzito bw'ekizibawo bwali sekeri onkumi ttaano ez'ekikomo. |
| 6 |
Era yali ayambadde ku magulu eby'ebikomo, era yalina n'effumu ery'ekikomo ku kibegabega kye. |
| 7 |
N'oluuyago lw'effumu lye lwaliŋŋanga omuti ogulukirwako engoye; n'effumu lye lyennyini obuzito bwalyo sekeri kikumi ez'ekyuma: n'oyo eyatwalanga engabo ye n'amukulemberanga |
| 8 |
Awo n'ayimirira n'alangira eggye lya Isiraeri n'abagamba nti Mwafulumira ki okusimba ennyiriri zammwe? nze siri Mufirisuuti nammwe baddu ba Sawulo? mwerondere omusajja aserengete gye ndi. |
| 9 |
Bw'anaayinza okulwana nange n'anzita, kale tunaaba baddu bammwe: naye bwe nnaamusinga ne mmutta, kale mmwe munaaba baddu baffe ne mutuweereza. |
| 10 |
Omufirisuuti n'ayogera nti Nsoomozezza eggye lya Isiraeri leero: mumpe omusajja tulwane fembi. |
| 11 |
Awo Sawulo ne Isiraeri yenna bwe baawulira ebigambo ebyo eby'Omufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo. |
| 12 |
Awo Dawudi yali mwana wa Mwefulaasi oyo ow'e Besirekemuyuda, erianya lye Yese; era yalina batabani be munaana: era omusajja yali mukadde ku mirembe gya Sawulo ng'akootakoota mu bantu. |
| 13 |
Ne batabani ba Yese abakulu abasatu baali bagoberedde Sawulo mu ntalo : ne batabani be abasatu abaagenda mu ntalo amannya gaabwe Eriyaabu omubereberye, n'eyamuddako Abinadaabu, n'ow'okusatu Samma. |
| 14 |
Ne Dawudi ye yali omuto: n'abakulu abasatu ne bagoberera Sawulo. |
| 15 |
Era Dawudi n'addirjnananga okuva eri Sawulo okulunda endiga za kitaawe e Besirekemu. |
| 16 |
Omufirisuuti n'asemberanga. enkya n'akawuageezi, ne yeeyolekeranga ennaku amakumi ana. |
| 17 |
Awo Yese n'agamba Dawudi mutabani we nti Twalira nno baganda bo efa ey'eŋŋaano eno ensiike n'emigaati gino ekkumi, oyanguwe obitwale mu lusiisira eri baganda bo; |
| 18 |
otwalire omukulu w'olukumi lwabwe ebitole bino ekkumi eby'amata amakalu, olabe baganda bo bwe bali, obaggyeko omusingo gwabwe. |
| 19 |
Era Sawulo nabo abasajja bonna aba Isiraeri baali mu kiwonvu Era nga balwana n'Abafirisuuti. |
| 20 |
Dawudi n'agolokoka enkya mu makya, n'alekera endiga omusumba n'addira ebintu n'agenda nga Yese bwe yamulagira; n'atuuka mu kifo eky'amagaali, eggye eryali lifuluma okulwana nga balanga emiruka egy'obulwa. |
| 21 |
Awo Isiraeri n'Abafirisuuti ne basimba ennyiriri, eggye nga lyolekera eggye. |
| 22 |
Dawudi n'aleka omugugu gwe mu mukono gw'omukuumi w'emigugu, n'adduka mbiro eri eggye n'ajja n'alamusa baganda be. |
| 23 |
Awo bwe yali anyumya nabo, laba, ne wayambuka oyo omuzira, Omufirisuuti ow'e Gaasi, erinnya lye Goliyaasi, ng'ava mu nnyiriri ez'Abafirisuuti n'ayogera ng'ebigambo ebyo bwe byali: Dawudi n'abiwulira. |
| 24 |
Awo abasajja bonna aba Isiraeri bwe baalaba omusajja ne bamudduka ne barya nnyo. |
| 25 |
Abasajja ba Isiraeri ne boogera nti Mulabye omusajja oyo ayambuse? mazima okusoomoza Isiraeri kyavudde ayambuka: awo olunaatuuka omuntu anaamutta kabaka anaamugaggawaza n'obugagga bungi, era anaamuwa ne muwala we, era anaafuula ennyumba ya kitaawe okuba ey'eddembe mu Isiraeri. |
| 26 |
Awo Dawudi n'ayogera n'abasajja abaali bayimiridde okumuliraana nti Omuntu anaakolwa atya anatta Omufirisuuti ono, n'aggya ekivume ku Isiraeri? kubanga Omufirisuuti ono atali mukomole ye ani asoomoze eggye lya Katonda omulamu? |
| 27 |
Abantu ne bamuddamu bwe bati nga boogera nti Bw'atyo bw'anaakolwa omuntu anaamutta. |
| 28 |
Ne Eriyaabu muganda we omukulu n'awulira bwe yayogera n'abasajja; obusungu ne bumukwata Eriyaabu eri Dawudi, n'ayogera nti Oserengetedde ki? n'endiga ezo entono wazirekera ani ku ttale? Mmanyi amalala go n'ekyejo ekiri mu mutima gwo, kubanga oserengese okulaba olutalo. |
| 29 |
Dawudi n'ayogera nti Nkoze ki kaakano? Tewali nsonga? |
| 30 |
N'amuvaako n'akyukira omulala n'ayogera ebigambo ebimu n'ebyo: abantu ne bamuddamu nate bwe batyo nga bwe baamuzzeemu olubereberye. |
| 31 |
Awo ebigambo bwe byawulirwa Dawudi bye yayogera he babyogerera mu maaso ga Sawulo; n'amutumya. |
| 32 |
Dawudi n'agamba Sawulo nti Omuntu yenna aleme akuggwaamu omwoyo ku lulwe; omuddu wo anaagenda n'alwana n'Omufirisuuti oyo. |
| 33 |
Sawulo n'agamba Dawudi nti Toyinza kusisinkana na Mufirisuuti oyo okulwana naye: kubanga ggwe oli mulenzi bulenzi, naye ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe; |
| 34 |
Dawudi n'agamba Sawulo nti Omuddu wo yakuumanga endiga za kitaawe; awo bwe wajjanga empologoma oba ddubu n'eggya omwana gw'endiga mu kisibo, |
| 35 |
ne nfulumanga ne ngigoberera ne ngikuba ne ngiwonya nga ngiggya mu kamwa kaayo: awo bwe yaagolokokerangako ne ngikwata ku kirevu kyayo ne ngikuba ne agitta. |
| 36 |
Omuddu wo yakuba empologoma era n'eddubu: n'Omufirisuuti oyo atali mukomole aliba ng'emu ku zo kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.
|
| 37 |
Dawudi n'ayogera nti Mukama eyamponya mu njala z'empologoma ne mu njala z'eddubu, alunponya ne mu mukono gw'Omufirisuuti oyo. Sawulo n'agamba Dawudi nti Genda, era Mukama anaaba naawe.
|
| 38 |
Awo Sawulo n'ayambaza Dawudi ebyambalo bye, n'amutikkira enkuufiira ey'ekikomo ku mutwe gwe, n'amwambaza ekizibawo eky'ekikomo. |
| 39 |
Awo Dawudi ne yeesiba ekitala kye ku byambalo bye, n'agezaako okutambula; kubanga yali tannaba kubyegezaamu. Awo Dawudi n'agamba Sawulo nti Siyinza kugenda na bino; kubanga sinnabyegezaamu. Dawudi n'abyeyambulamu. |
| 40 |
N'addira omuggo gwe mu mukono gwe, ne yeerondera amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n'agateeka mu nsawo ey'omusumba gye yalina, mu ndyanga ye; n'envuumuulo ye yali mu mukono gwe: n'asemberera Omufirisuuti. |
| 41 |
Awo Omufirisuuti n'ajja n'amusemberera Dawudi; n'omusajja eyatwalanga engabo n'amukulembera. |
| 42 |
Awo Omufirisuuti bwe yamagamaga n'alaba Dawudi, n'amunyooma: kubanga nga yali mulenzirenzi, era mumyufu, n'amaaso ge nga malungi. |
| 43 |
Omufirisuuti n'agamba Dawudi nti Nze ndi mbwa n'okujja n'ojja gye ndi n'emiggo? Omufirisuuti n'akolimira Dawudi eri bakatonda be |
| 44 |
Omufirisuuti n'agamba Dawudi nti Jjangu gye ndi ngabire omubiri gwo ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko. |
| 45 |
Awo Dawudi n'agamba Omufirisuuti nti Ojja gye ndi n'ekitala n'olunyago n'effuniu: naye nze njija gy'oli mu linnya lya Mukama ow'eggye, Katonda w'eggye lya Isiraeri, ly'osoomozezza: |
| 46 |
Leero Mukama anaakugabula mu mukono gwange; era naakukuba ne nkuggyako omutwe gwo; era naagabira ennyoayi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko emirambo egy'eggye ery'Abafirisuuti; ensi zonna zitegeere nga mulimu Katonda mu Isiraeri: |
| 47 |
era ekibiina kino kyonna kitegeere nga Mukama talokola na kitala na ffumu: kubanga olutalo lwa Mukama, naye anaabagabula mu mukono gwaffe. |
| 48 |
Awo olwatuuka Omufirisuuti bwe yagolokoka n'asembera okusisinkana ne Dawudi, awo Dawudi n'ayanguwa n'adduka mbiro eri eggye okusisinkana n'Omufirisuuti. |
| 49 |
Awo Dawudi n'ayingiza engalo ze mu nsawo ye n'aggyamu ejjinja n'alivuumuula n'akuba Omufirisuuti ekyenyi; ejjinja ne liiyingira mu kyenyi kye, n'agwa nga yevuunise. |
| 50 |
Awo Dawudi n'awangula bw'atyo Omufirisuuti n'envuumuulo n'ejjinja, n'akuba Omufirisuuti n'amutta; naye nga temuli kitala mu mukono gwa Dawudi. |
| 51 |
Awo Dawudi n'adduka mbiro n'ayimirira ku Mufirisuuti, n'addira ekitala kye n'akisowola mu kiraato kyakyo, n'amutta n'amutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng'afudde ne badduka. |
| 52 |
Awo abasajja ba Isiraeri n'aba Yuda ne bagolokoka ne boogerera waggulu ne bagoberera Abafirisuuti okutuusa lw'otuuka e Gaayi ne ku miryango gya Ekuloni. N'Abafirisuuti abaafumitibwa ebiwundu ne bagwa ku kkubo eridda e Saalayimu, okutuusa e Gaasi ne Ekuloni. |
| 53 |
Abaana ba Isiraeri ne baleka okugoberera Abafirisuuti ne bakomawo ne banyaga olusiisira lwabwe. |
| 54 |
wo Dawudi n'addira omutwe gw'Omufirisuuti n'agutwala e Yerusaalemi; naye n'ateeka ebyokulwanyisa bye mu weema ye. |
| 55 |
Era Sawulo bwe yalaba Dawudi ng'afuluma okulwana n'Omufirisuuti, n'agamba Abuneeri, omukulu w'eggye, nti Abuneeri, omulenzi ono ye mwana w'ani? Abuneeri n'ayogera nti Nga ggwe bw'oli omulamu, ai kabaka, simanyi. |
| 56 |
Kabaka n'ayogera nti Buuza kitaawe w'omuvubuka oyo bw'ali. |
| 57 |
Awo Dawudi bwe yali akomawo ng'asse Omufirisuuti, Abuneeri n'amutwala n'amuleeta eri Sawulo ng'alina omutwe gw'Omufirisuuti mu mukono gwe. |
| 58 |
Sawulo n'amugamba nti Ggwe oli mwana w'ani, mulenzi ggwe? Dawudi n'addamu nti Nze ndi mwana wa muddu wo Yese Omubesirekemu. |
| |
|