[Ddayo waggulu]
| |
| 1 |
Kale okusooka byonna mbabuulirira okwegayiriranga n'okusabanga n'okutakabananga n'okwebazanga bikolebwenga ku lw'abantu bonna; |
| 2 |
ku lwa bakabaka n'abakulu bonna; tulyoke tubeerenga n'obulamu obutereevu obw'emirembe mu kutya Katonda kwonna ne mu kwegendereza. |
| 3 |
Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g'Omulokozi waffe Katonda, |
| 4 |
ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima. |
| 5 |
Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n'abantu omu, omuntu Kristo Yesu, |
| 6 |
eyeewaayo abe omutango olwa bonna; okutegeeza kulibaawo mu nruuko zaakwo: |
| 7 |
nze kwe nnateekerwa omubuulizi era omutume (njogera mazima, ssirimba), omuyigiriza w'amawanga olw'okukkiriza n'amazima. |
| 8 |
Kyenva njagala abasajja basabenga mu buli kifo, aga bayimusa emikono emitukuvu, awatali busungu na mpaka. |
| 9 |
Bwe batyo n'abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n'okukwatibwa ensonyi n'okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez'omuwendo omungi; |
| 10 |
naye (nga bwe kisaanira abakazi abeeyita abatya Katonda) n'ebikolwa ebirungi. |
| 11 |
Omukazi ayigenga mu bukkakkamu mu kugonda kwonna. |
| 12 |
Naye omukazi mmugaanyi okuyigirizanga, newakubadde okufuganga omusajja, naye okubeeranga mu bukkakkamu. |
| 13 |
Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, oluvannyuma Kaawa; |
| 14 |
era Adamu si ye yalimbibwa, naye omukazi oli ye yalimbibwa n'aba mu kwonoona: |
| 15 |
naye anaalokokanga mu kuzaala, bwe banaanyiikiranga mu kukkiriza n'okwagala n'obutukuvu awamu n'okwegendereza. |
| |
|
[Ddayo waggulu]
|
|
| 1 |
Tonenyanga mukadde, naye omubuuliriranga nga kitaawo abavubuka ng'ab'oluganda: |
| 2 |
abakazi abakadde nga nnyoko; abato nga bannyoko mu bulongoofu bwonna. |
| 3 |
Obawenga ekioibwa bannamwandu ababa bannamwandu ddala. |
| 4 |
Naye nnamwandu yenna bw'aba n'abaana oba bazzukulu basookenga okuyiga okwegendereza eri ab'omu nnyumba zaabwe, n'okusasula bakadde baabwe: kubange ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda. |
| 5 |
Naye abeera nnamwandu ddala n'alekebwa yekka, asuubira Katonda, n'anyiikiranga okusaba n'okwegayiriranga emisana n'ekiro. |
| 6 |
Naye oyo awoomerwa ebinyumu ng'afudde newakubaddi ng'akyali mulamu. |
| 7 |
Era n'ebyo obalagire, balemenga okubaaki eky'okunenyezebwa. |
| 8 |
Naye omuntu yenna bw'atajjanjaba babe n'okusinga ab'omu nnyumba ye nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza |
| 9 |
Nnamwandu yenna tawandiikibwanga nga tannatuusa myaka nkaaga, eyafumbirwa omusajja omu |
| 10 |
asiimibwa mu bikolwa ebirungi oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yabeeranga ababonaabona, oba nga yagobezeranga nnyo buli ki lwa ekirungi. |
| 11 |
Naye bannamwandu abakyali abato obagaanenga: kubanga bwe balikabawala ezi Kristo, nga baagala okufumbiri |
| 12 |
nga bazza omusango kuba basuula okukkiriza kwabwe okw’olubereberye. |
| 13 |
Era ate bayiga okubeeranga abagayaavu, nga ba mbulatambula okubuna amayumba naye tebagayaala bugayaazi, naye balina olugambo n'akajanja nga boogera ebitasaana. |
| 14 |
Kyenva njagala abakyali abato bafumbirwenga, bazaalenga abaana, ba: genga ennyumba, balemenga oku omulabe ebbanga w'ayima okuma: |
| 15 |
kubanga waliwo kaakano abaakyuka okugoberera Seta: |
| 16 |
Omukazi yenna akkiriza bw’banga ne bannamwandu, abo mbenga, era ekkanisa eremenga okuzitoowererwa, eryoke eyambenga bannamwandu ddala ddala. |
| 17 |
Abakadde abafuga obulungi basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ebiri, okusinga abafuba mu kigambo n'okuyigiri: |
| 18 |
Kubanga ekyawandiikibwa kyogera nti Tosibanga mumwa gn nte ewuula eŋŋaano. Era nti Akola emirimu asaanira empeera ye. |
| 19 |
Tokkirizanga kiroope ku mukadde awatali bajulirwa babiri oba basatu. |
| 20 |
Aboonoona obanenyezanga mu maaso g'abantu bonna, era n'abalala balyoke batyenga. |
| 21 |
Nkukuutirira mu maa; ga Katonda, ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde, weekuumenga ebyo awatali kusaliriza, nga tokola kigambo olw'obuganzi. |
| 22 |
Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by'abantu abalala: weekuume obeerenga mulongoofu. |
| 23 |
Tonywanga mazzi gokka, naye onywa nga ne ku mwenge katono olw'olu buto lwo n'olw'okulwalalwala. |
| 24 |
Waliwo abantu ebibi byabwe biba mu lwatu; nga bibakulembera okugenda mu musango; era n'abalala bibavaako nnyuma. |
| 25 |
Era bwe zityo n'ebikolwa ebirungi biba mu lwatu; ne bwe kitaba bwe kityo tebirirema kwolesebwa. |
| |
|
[Ddayo waggulu]
|
|
| 1 |
Abali mu bufuge abaddu balowoozenga bakama baabwe bennyini nga basaanidde ekitiibwa kyonna, erinnya lya Katonda n'okuyigiriza kwaffe biremenga okuvumibwa. |
| 2 |
Era abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, kubanga ba luganda; naye beeyongere okubaweerezanga, kubanga abassa ekimu mu kukolwa obulungi bakkiriza era baagalwa. Yigirizanga ebyo obibuulirirenga. |
| 3 |
Omuntu yenna bw'ayigirizanga obulala, so nga takkiriza bigambo bya bulamu, bye bya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okuyigiriza okugobereranga okutya Katonda; |
| 4 |
nga yeekulumbaza, nga taliiko ky'ategeera, wabula okukalambiza obukalambiza empaka n'entalo ez'ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, okuteerera obubi, |
| 5 |
okukaayana kw'abantu abayonooneka amagezi, abaggibwako amazima, nga balowooza ng'okutya Katonda kwe kufuna amagoba. |
| 6 |
Nave okutya Katonda wamu n'obutayaayaananga ge magoba amangi: |
| 7 |
kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, kubanga era tetuyinza kuggya mu kintu; |
| 8 |
naye bwe tuba n’emmere n'ebyokwambala, ebyo binaatumalanga. |
| 9 |
Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n'okwegomba okungi okw'obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n'okuzikirira. |
| 10 |
Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi. |
| 11 |
Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo,ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu. |
| 12 |
Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi. |
| 13 |
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne Kristo Yesu eyategeeza okwatula okulungi eri Pontio Piraato; |
| 14 |
weekuumenga ekiragiro awatali bbala, awatali kya kunenyezebwa, okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo: |
| 15 |
kw'aliraga mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami; |
| 16 |
alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okttmulaba: aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina. |
| 17 |
Okuutirenga abagagga ab'omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw'obugagga tulyoke twesanyusenga n'ebyo; |
| 18 |
bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu; |
| 19 |
nga beeterekera eky'okuyimako ekirungi olw'ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu ddala ddala. |
| 20 |
Ai Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n'okulwana kw'ebigambo eby'okutegeera, okuyitibwa bwe kutyo mu bulimba; |
| 21 |
waliwo abantu abeegamba okuba nakwo, ne bakyama mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe. |
| |
|