|
|
| 1 |
Baana bange abato, mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omunru yenna bw'akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu: |
| 2 |
n'oyo gwe mutango olw'ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n'olw'ensi zonna. |
| 3 |
Era ku kino kwe tutegeerera nga tumutegedde, bwe tukwata ebiragiro bye. |
| 4 |
Ayogera nti Mmutegedde, n'atakwata biragiro bye, ye mulimba, n'amazima tegali mu oyo; |
| 5 |
naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo. Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye: |
| 6 |
ayogera ng'abeera mu ye kimugwanira naye yennyini okutambulanga era nga ye bwe yatambula. |
| 7 |
Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, wabula ekiragiro eky'edda, kye mwalina okuva ku lubereberye; ekiragiro ekyo eky'edda kye kigambo kye mwawulira. |
| 8 |
Nate mbawandiikira ekiragiro ekiggya, elugambo elry'amazima mu ye ne mu mmwe; kubanga ekizikiza kiggwaawo, n'omusana ogw'amazima kaakano gwaka. |
| 9 |
Ayogera ng'ali mu musana n'akyawa muganda we, ng'akyali mu kizikiza ne kaakano. |
| 10 |
Ayagala muganda we abeera mu musana, era tewali kimwesittaza. |
| 11 |
Naye akyawa muganda we ali mu kizikiza, era atambulira mu kizikiza, so nga tamanyi gy'agenda, kubanga ekizikiza kyamuziba amaaso. |
| 12 |
Mbawandiikira mmwe, abaana abato, kubanga ebibi byammwe bibasonyiyiddwa olw'erinnya lye. |
| 13 |
Mbawandiikira mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikira mmwe, abavubuka, kubanga muwangudde omubi. Mbawandiikidde mmwe, abaana abato, kubanga mutegedde Kitaffe. |
| 14 |
Mbawandiikidde mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe, abavubuka, kubanga mulina amaanyi, n'ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi. |
| 15 |
Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw'ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye. |
| 16 |
Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw'omubiri, n'okwegomba kw'amaaso, n'okwegulumiza kw'obutamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi. |
| 17 |
Era ensi eggwaawo, n'okwegomba kwayo; naye akola Katonda by'ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo. |
| 18 |
Abaana abato, kye kiseera eky'enkomerero, era nga bwe mwawulira ng'omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi; kyetuva tutegeera nga kye kiseera eky'enkomerero. |
| 19 |
Baava mu ffe, naye tebaali b'ewaffe; kuba singa baali b'ewaffe, bandibadde wamu naffe; naye baatuvaamu era balabisibwe bonna nga si b'ewaffe. |
| 20 |
Nammwe mufukibwako amafuta eri Omutuknvu, era mumanyi byonna. |
| 21 |
Sibawandiikidde kubanga temumanyi mazima, naye kubanga mugamanyi, era kubanga tewali btilimba obuva mu mazima. |
| 22 |
Omulimba ye ani wabuta oyo agaananga Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo, agaana Kitaffe n'Omwana. |
| 23 |
Buli muntu yenna agaana Omwana, ne Kitaffe nga tali naye; ayatula Omwana, ne Kitaffe ali naye. |
| 24 |
Mmwe kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Kye mwawulira okuva ku lubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe. |
| 25 |
Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza, obulamu obutaggwaawo. |
| 26 |
Ebyo mbawandiikidde olw'ebigambo by'abo abakyamya. |
| 27 |
Nammwe okufukibwako amafuta kwe mwaweebwa ye kubeera mu mmwe, so temwetaaga muntu yenna okubayigirizanga; naye ng'okufuka kwe okw'amafuta bwe kubayigiriza mu bigambo byonna, era kwa noazima so si bulimba, era nga bwe kwabayigiriza, mubeerenga mu ye. |
| 28 |
Ne kaakano, abaana abato, mubeerenga mu ye; bw'alirabisibwa tulyoke tubeere n'obugumu, era ensonyi zireme okutukwatira mu maaso ge mu kujja kwe. |
| 29 |
Oba nga mumaayi nga mutuukirivu, era mutegeera nga buli muntu yenna akola obutuukirivu yazaalibwa ye. |
| |
|