|
|
| 1 |
Naye tubeegayirira, ab'oluganda, olw'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo n'olw'okuku#331;ŋaana kwaffe gy'ali; |
| 2 |
obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe, newakubadde okweraliikirira newakubadde olw'omwoyo, newakubadde olw'ebbaluwa efaanana ng'evudde gye tuli, nti olunaku lwa Mukama waffe lutuuse; |
| 3 |
omuntu yenna tabalimbanga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga olunaku olwo terulijja wabula ng'okwawukana kuli kumaze kubaawo, era omuntu oli ow'okwonoona nga alimala okubikkulwa, omwana w'okuzikirira, |
| 4 |
aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutuula n'atuula mu yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda. |
| 5 |
Temujjukira, nga bwe nnali nga nkyali gye muli, nababuulira ebyo? |
| 6 |
Era ne kaakano ekirobera mukimanyi, alyoke abikkuke mu ntuuko ze. |
| 7 |
Kubanga ne kaakano ekyama eky'obujeemu weekiri kikola: wabula kyokka aziyiza kaakano okutuusa lw'aliggibwawo. |
| 8 |
Awo omujeemi oli n'alyoka abikkuka, Mukama waffe Yesu gw'alitta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era gw'alizikiriza n'okulabisibwa kw'okujja kwe; |
| 9 |
naye okujja kw'oyo kuli mu kukola kwa Setaani n'amaanyi gonna n'obubonero n'eby'amagero eby'obuli mba, |
| 10 |
n'okukyamya kwonna okutali kwa buruukirivu eri abo ababula; kubanga tebakkiriza kwagala mazima, balyoke balokoke. |
| 11 |
Katonda kyava abasindikira okukyamya okukola, bakkirize eby'obulimba: |
| 12 |
bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu. |
| 13 |
Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda abaagalwa Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye mu kutukuzibwa Omwoyo n'okukkiriza amazima |
| 14 |
bye yabayitira n'enjiri yaffe olw'okufuna ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo. |
| 15 |
Kale nno ab'oluganda, muyimirirenga, era munywezenga bye mwaweebwa ne muyigirizibwa, oba mu kigambo obi mu bbaluwa yaffe. |
| 16 |
Naye Mukama waffe Yesi Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala n'atuwa okusanyusa okutaggwaawo n'essuubi eddungu mu kisa, |
| 17 |
abasanyuse emitima gyammwe aginywezenga mu buli kikolwa n'ekigambo ekirungi. |
| |
|