| |
|
|
| 1 |
Awo omukazi omu ow'oku bakazi b'abaana ba bannabbi n'ayogerera waggulu eri Erisa ng'ayogera nti Omuddu wo baze yafa: era omanyi ng’omuddu wo yatyanga Mukama: era ow'ebbanja azze okwetwalira abaana bange bombi okuba abaddu |
| 2 |
Erisa n'amugamba nti Naakukolera ki? mbuulira: olina ki mu nnyumba? N'ayogera nti Omuzaana wo talina kintu mu nnyumba wabula akasumbi ak'amafuta. |
| 3 |
Awo n'ayogera nti Genda weeyazike ebintu ebweru mu banno bonna, ebintu ebyereere; weeyazike bingiko. |
| 4 |
Awo n'oyingira weggalire ggwe ne batabani bo, ottululire mu bintu ebyo byonna; otereke ebijjudde. |
| 5 |
Awo n'ava w'ali ne yeggalira ye ne batabani be; ne bamuleetera ebintu n'attulula. |
| 6 |
Awo olwatuuka ebintu bwe byajjula n'agamba mutabani we nti Ndeetera nate ekintu. N'amugamba nti Tewakyali nate kintu. Amafuta ne gakoma. |
| 7 |
Awo n’ajja n'abuulira omusajja wa Katonda. N'ayogera nti Genda otunde amafuta osasule ebbanja lyo, ebinaafikkawo bikutiiseaga ggwe ne batabatu bo. |
| 8 |
Awo olunaku lwali lumu Erisa n'ayita n'agenda e Sunemu eyali omukazi omukulu; n'amuwaliriza okulya ku mmere. Awo olwatuukanga buli lwe yayitangawo n'akyamiranga omwo okulya ku mmere. |
| 9 |
N'agamba bba nti Laba nno, ntegedde ag'ono musajja mutukuvu wa Katonda atuyitako buli kaseera. |
| 10 |
Nkwegayiridde tukookere ku kisenge; tumuteekere eyo ekitanda n'emmeeza n'entebe n'eky'ettabaaza: awo olunaatuukanga bw'anajjanga gye tuli anaakyamiranga omwo. |
| 11 |
Awo olunaku lwali lumu n'ajjayo n'akyamira mu nju n'agalamira omwo. |
| 12 |
N'agamba Gekazi omuddu we nti Yita Omusu'nammu ono. Awo bwe yamuyita n'ayimirira mu maaso ge. |
| 13 |
N'amugamba nti Mugambe nno nti Laba, watujjanjaba okujjanjaba okwenkana awo; kiki ekinaaba kikukolerwa? oyagala okwogererwa eri kabaka oba eri omukulu w'eggye? N'addamu nti Ntuula mu bantu bange nze. |
| 14 |
N'ayogera nti Kale kiki ekinaaba kimukolerwa? Gekazi n'addamu nti Niazima talina mwana wa bulenzi ne bba mukadde. |
| 15 |
N'ayogera nti Muyite. Awo bwe yamuyita n'ayimirira ku mulyango. |
| 16 |
N'ayogera nti Mu kiseera kino ebiro bwe biridda, oliwambaatira omwana ow'obulenzi. N'ayogera nti Nedda, mukama wange, ggwe omusajja wa Katonda, tolimba muzaana wo. |
| 17 |
Omukazi n'aba olubuto n'azaalira omwana ow'obulenzi mu kiseera ekyo ebiro bwe byadda nga Erisa bwe yamugamba. |
| 18 |
Awo omwana bwe yakula olunaku lwali lumu n'afuluma n'agenda eri kitaawe eri abakunguzi. |
| 19 |
N'agamba kitaawe nti Omutwe gwange, omutwe gwange. N'agamba omuddu we nti Musitule omutwale eri nnyina. |
| 20 |
Awo bwe yamutwala n'amutuusa eri nnyina, n'atuula ku maviivi ge okutuusa ettuntu n'alyoka afa. |
| 21 |
N'alinnya n'amugalamiza. ku kitanda ky'omusajja wa Katonda, n'amuggalira oluggi n'afuluma. |
| 22 |
N'ayita bba n'ayogera nti Nkwegayiridde, mpeereza omu ku baddu n'emu ku ndogoyi ŋŋende mbiro eri omusajja wa Katonda nkomewo. |
| 23 |
N'ayogera nti Kiki ekikwagaza okugenda gy'ali leero? si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka so si ssabbiiti. N'ayogera nti Mirembe. |
| 24 |
Awo n'atandiika endogoyi n'agamba omuddu we nti Goba otambule; totta ku bigere wabula nga nkugambye. |
| 25 |
Awo n'agenda n'atuuka eri omusajja wa Katonda ku lusozi Kalumeeri. Awo olwatuuka omusajja wa Katonda bwe yamulengera ng'akyali wala, n'agamba Gekazi omuddu we nti Laba. Omu sunammu wuuyo: |
| 26 |
nkwegayiridde, dduka nno mbiro omusisinkane omugambe nti Oli bulungi? balo ali bulungi? omwana ali bulungi? N'addamu nti Bulungi. |
| 27 |
Awo bwe yatuuka eri omusajja wa Katonda ku lusozi, n'amukwata ku bigere. Gekazi n'asembera okumusindika; naye omusajja wa Katonda n'ayogera nti Muleke: kubanga emmeeme ye enyiikaddel munda mu ye; era Mukama akinkisizza so tambuulidde. |
| 28 |
Awo n'ayogera nti Nayagala omwana ow'obulenzi eri mukama wange? saayogera nti Tonnimba? |
| 29 |
Awo n'agamba Gekazi nti Weesibe ekimyu oddire omuggo gwange mu mukono gwo ogende: bw'onoosanga omuntu yenna tomulamusa; era omuntu yenna bw'anaakulamusa, tomuddamu: oteeke omuggo gwange ku maaso g'omwana. |
| 30 |
Nnyina w'omwana n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. N'agolokoka n'amugoberera. |
| 31 |
Awo Gekazi n'ayitamu n'abakulembera n'ateeka omuggo ku maasc g'omwana; naye ne wataba ddoboozi newakubadde okuwulira. Kyeyava akomawo okumusisinkana, n'amubuulira nti Omwana tazuukuse. |
| 32 |
Awo Erisa bwe yayingira mu nnyumba, laba, omwana ng'afudde era ng'agalamidde ku kitanda kye. |
| 33 |
Awo n'ayingira ne yeggalira iaye bombi n'asaba Mukama. |
| 34 |
N'alinnya n'agalamira ku mwana n'ateeka akamwa ke ku kamwa ke n’amaaso ge ku maaso ge n'emikono gye ku mikono gye: ne yeegololera ku ye; omubiri gw'omwana ne gubuguma. |
| 35 |
Awo n'akomawo n’atambula mu nnyumba omulundi ogumu eruuyi n'omulundi ogumu eruuyi; n'alinnya ne yeegololera ku ye: omwana n'ayasimula emirundi musanvu, omwana n'azibula amaaso. |
| 36 |
N'ayita Gekazi n'ayogera nti Muyite Omusunammu oyo. Awo n'amuyita. Awo ng'ayingidde gy'ali n'ayogera nti Situla omwana wo. |
| 37 |
Awo n'ayingira n'avuunama ku bigere bye n'akutama wansi; n'asitula omwana we n'afuluma. |
| 38 |
Awo Erisa n'ajja nate e Girugaali: ne waba enjala mu nsi; abaana ba bannabbi ne batuula mu maaso ge: n'agamba omuddu we nti Teekako entamu ennene, ofumbire abaana ba bannabbi enva. |
| 39 |
Awo omu n'afiuluma n'agenda ku ttale okunoga amaboga, n'asanga omuzabbibu ogw'omu nsiko, n'anogako amaboga ag'omu nsiko n'ajjuza olugoye lwe, n'ajja n'agatyemulatyemulira mu ntamu erimu enva: kubanga tebaagamanya. |
| 40 |
Awo ne bajjulira abantu okulya. Awo olwatuuka bwe baali nga balya ku nva, ne boogerera waggulu nga bagamba nti Ai omusajja wa Katonda, mu ntamu mulimu okufa. So tebaayinza kugiryako. |
| 41 |
Naye n'ayogera nti Kale muleete obutta. N'abusuula mu ntamu; n'ayogera nti Mujjulire abantu balye. Ne wataba kabi mu ntamu. |
| 42 |
Awo omusajja n'ajja ng'ava e Baalusalisa, n'aleetera omusajja wa Katonda emmere ey'okubibereberye, emigaati egya sayiri amakumi abiri n'ebirimba eby'eŋŋaano ebibisi mu nsawo ye. N'ayogera nti Bawe abantu balye. |
| 43 |
Awo omuddu we n'ayogera nti Owa! nteeke kino mu maaso g'abasajja ekikumi? Naye n'ayogera nti Bawe abantu balye; kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Banaalya ne balemwa. |
| 44 |
Awo n'agiteeka mu maaso gaabwe, ne balya ne balemwa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. |
| |
|