| |
|
|
| 1 |
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebya Abusaalomu mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, erinnya lye Tamali; Amunoni mutabani wa Dawudi n'amwagala. |
| 2 |
Awo Amunoni ne yeeraliikirira bw'atyo n'okulwala n'alwala olwa mwannyina Tamali; kubanga yali tannamanya musajja; Amunoni n'akirowooza nga kizubu okumukola ekigambo kyonna. |
| 3 |
Naye Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa Dawudi: era Yonadabu yali musajja mugerengetanya nnyo. |
| 4 |
N'amugamba nti Ekikukozza bw'otyo bulijjo bulijjo kiki, ggwe omwana wa kabaka? tombuulire? Amunoni n'amugamba nti Njagala Tamali mwannyina muganda wange Abusaalomu. |
| 5 |
Awo Yonadabu n'amugamba nti Galamira ku kitanda kyo weerwazerwaze: kale kitaawo bw'aliba ng'azze okukulaba, n'omugmaba nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, ampe emmere okulya, era afumbe emmere mu maaso gange ngirabe ngiriire mu ngalo ze. |
| 6 |
Awo Amunoni n'agalamira ne yeerwazalwaza: awo kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'agamba kabaka nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, anfumbire emigaati ebiri mu maaso gange ndiire mu ngalo ze. |
| 7 |
Awo Dawudi n'atuma eka eri Tamali ng'ayogera nti Genda nno eri ennyumba ya muganda we Amunoni omufumbire emmere. |
| 8 |
Awo Tamali n'agenda eri ennyumba yamuganda we Amunoni; ye ng'agalamidde. N'addira obutta n'abugoya n'abumba emigaati mu maaso ge n'ayokya emigaati. |
| 9 |
N'addira ekikalango n'agifuka mu maaso ge; naye n'agaana okulya. Amunoni n'agamba nti Abasajja bonna bave we ndi. Ne bava w'ali buli musajja. |
| 10 |
Amunoni n'agamba Tamali nti Leeta emmere mu kisenge ndiire mu ngalo zo. Tamali n'addira emigaati gy'afumbye n'agireeta mu kisenge eri Amunoni mwannyina. |
| 11 |
Awo bwe yagimusembereza okulya n'amukwata n'amugamba nti Jjangu osule nange, mwannyinaze. |
| 12 |
N'amuddamu nti Nedda, mwannyinaze, tonkwata; kubanga tekigwanidde kukola kigambo ekifaanana bwe kityo mu, Isiraeri: tokola busirusiru buno. |
| 13 |
Nange nno naatwala wa obuwemu bwange? naawe oliba ng'omu ku basirusiru mu Isiraeri. Kale nno, nkwegayiridde, yogera ne kabaka; kubanga tajja kukunnyima. |
| 14 |
Naye n'atakkiriza kuwulira ddoboozi lye: naye kubanga yamusinga amaanyi n'amu kwata n'asula naye. |
| 15 |
Awo Amunoni n'alyoka amukyawa ekitakyayika; kubanga okukyawa kwe yamukyawa kwasinga okwagala kwe yamwagala. Amunoni n'amugamba nti Golokoka ogende. |
| 16 |
N'ayogera nti Nedda, kubanga ekyonoono kino ekinene ky'onkola ng'ongoba kisinga kiri ky'onkoze. Naye n'ataganya kumuwulira. |
| 17 |
Awo n'alyoka ayita omuddu we eyamuweerezanga n'ayogera nti Fulumya nno omukazi ono ave we ndi, osibe oluggi ennyuma we. |
| 18 |
Era yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi: kubanga bwe baayambalanga bwe batyo abawala ba kabaka abatamanyi musajja. Awo omuddu we n'amufulumya n'asiba oluggi ennyuma we. |
| 19 |
Awo Tamali n'ateeka evvu ku mutwe gwe n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde; ne yeetikka omukono gwe n'agenda ng'akaaba. |
| 20 |
Abusaalomu mwannyina n'amugamba nti Amunoni mwannyoko abadde naawe? naye kaakano sirika, mwannyinaze: ye mwannyoko; ekigambo ekyo kireme okukunakuwaza omwoyo. Awo Tamali n'abeera mu nnyumba ya mwannyina Abusaalomu nga talina bba. |
| 21 |
Awo kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo. |
| 22 |
Abusaalomu n'atayogera ne Amunoni newakubadde ebirungi newakubadde ebibi: kubanga Abusaalomu n'akyawa Amunoni, kubanga yali akutte Tamali mwannyina. |
| 23 |
Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Abuaalomu yalina abasala ebyoya by'eidiga ze e Baalukazoli, ekiri ku nabbali ga Efulayimu: Abusaalomu n'ayita abaana ba kabaka bonna. |
| 24 |
Abusaalomu n'ajja eri kabaka n’ayogera nti Laba nno, omuddu wo alina abasala ebyoya by'endiga; nkwegayiridde, kabaka n'abbaddu be bagende n'omuddu wo. |
| 25 |
Kakaka n'agamba Abusaalomu nti Nedda, mwana wange, tuleme okugenda fenna, tuleme okukuzitoowerera. N'amutayirira: naye n'atakkiriza kugenda, naye n'amusabira mukisa. |
| 26 |
Awo Abusaalomu n'ayogera nti ogaanyi, nkwegayiridde muganda wange Amunoni agende naffe. Kabaka n'amugamba nti Ekinaaba kimutwala nawe kiki? |
| 27 |
Naye Abusaalomu n'amutayirira akkirize Amunoni n'abaana ba kabaka bonna okugenda naye. |
| 28 |
Awo Abusaalomu n'alagira abaddu be ng'ayogera nti Mwekkaanye nno, omutima gwa Amunoni nga gusanyuse olw'omwenge; awo bwe nnaabagamba nti Mufiunite Amunoni, mumutte, temutya: si nze mbalagidde? mugume emyoyo mube abazira. |
| 29 |
Abaddu ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bw'alagidde. Awo abaana ba kabaka bonna ne balyoka bagolokoka, ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka. |
| 30 |
Awo olwatuuka bwe baali nga bakyali mu kkubo, Dawudi n'aleeterwa ebigambo nga boogera nti Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, tekusigadde n'omu. |
| 31 |
Awo kabaka n'agolokoka n'ayuza ebyambalo bye n'agalamira ku ttaka; abaddu be bonna ne bayimirira gy'ali nga bayuzizza engoye zaabwe. |
| 32 |
Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa kabaka, n'addamu n'ayogera nti Mukama wange aleme okulowooza nga basse abalenzi bonna abaana ba kabaka; kubanga Amunoni yekka ye afudde: kubanga Abusaalomu yateesa bw'atyo ng'akimalirira okuva ku lunaku lwe yakwata Tamali mwannyina. |
| 33 |
Kale nno mukama wange kabaka ekigambo ekyo kireme okumunakuwaza omwoyo okulowooza ng'abaana ba kabaka bonna bafudde: kubanga Amunoni yekka ye afudde. |
| 34 |
Naye Abusaalomu n'adduka. Awo omulenzi eyakuumanga n'ayimusa amaaso ge n'atunula, awo, laba, abantu bangi nga bajja nga bafuluma mu kkubo ery'oku lusazi ennyuma we. |
| 35 |
Awo Yonadabu n'agamba kabaka nti Laba, abaana ba kabaka batuuse: ng'omuddu wo bw'ayogedde, bwe guli bwe gutyo. |
| 36 |
Awo olwatuuka bwe yamala okwogera, awo, laba, abaana ba kabaka ne bajja ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba: era ne kabaka n'abaddu be bonna ne bakaaba nnyo nnyini. |
| 37 |
Naye Abusaalomu n'adduka, n'agenda eri Talumayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w'e Gesuli. Dawudi n'anaakuwaliranga mutabani we buli lunaku. |
| 38 |
Awo Abusaalomu n'adduka n'agenda e Gesuli, n'amalayo emyaka esatu. |
| 39 |
Dawudi ne yeegomba okuvaayo okugenda eri Abusaalomu: kubanga yakubagizibwa olwa Amunoni, okuba ng'afudde. |
| |
|