|
|
| 1 |
Kale ggwe, mwana wange, beeranga wa maanyi mu kisa ekiri mu Kristo Yesu. |
| 2 |
Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala. |
| 3 |
Bonaboneranga wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu. |
| 4 |
Siwali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe eyamuwandiika okuba omulwanyi. |
| 5 |
Naye era omuntu bw'awakana, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa. |
| 6 |
Omulimi akola emirimu kimugwanira okusooka okutwala ku bibala. |
| 7 |
Lowooza kye njogedde; kubanga Mukama waffe anaakuwanga okutegeera mu bigambo byonna. |
| 8 |
Jjukira Yesu Kristo, nga yazuukira mu bafu, ow'omu zzadde lya Dawudi, ng'enjiri yange bw'eyogera: |
| 9 |
gye mbonaboneramu okutuusa ku kusibibwa, ng'akola obubi; naye ekigambo kya Katonda tekisibibwa. |
| 10 |
Kyenva ngumiikiriza byonna olw'abalonde, era nabo balyoke bafune obulokovu obuli mu Kristo Yesu, wamu n'ekitiibwa ekitaggwaawo. |
| 11 |
Ekigambo kino kyesigwa nti Kuba oba nga twafa naye, era tulibeera balamu naye |
| 12 |
oba nga tugumiikiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ffe: |
| 13 |
oba nga tetukkiriza, ye abeera mwesigwa kubanga tayinza kwerimba. |
| 14 |
Ebyo obibajjukizanga, ng'obakuutirira mu maaso ga Mukama waffe, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira |
| 15 |
Fubanga okweraga ng'osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky'amazima. |
| 16 |
Naye ebigambo ebitaliimu ebitali bya ddiini obye walanga: kubanga baliyitirira mi butatya Katonda, |
| 17 |
n'ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo: ku abo ye Kumenayo ne Fireeto; |
| 18 |
kubanga baakyama mu mazima, nga boogera ng'okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe |
| 19 |
Naye omusingi gwa Katonda omugumu gubeerawo, nga gulina akabonero kano nti Mukama waffe amanyi ababe: era nti Yeewalenga obutali butuukirivu buli ayatula erinnya lya Mukama waffe |
| 20 |
Naye mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye era n'eby'emiti n'eby'ebbumba; n'ebirala eby'ekitiibwa, n'ebirala ebitali bya kitiibwa |
| 21 |
Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky'ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga ekyalongooserezebwa buli mulimi omulungi. |
| 22 |
Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga naye ogobereranga obutuukirivu okukkiriza, okwagala, emirembe awamu n'abo abamusaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofi: |
| 23 |
Naye omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza, omugumiikiriza, |
| 24 |
abuulirira n'obuwombeefu abawakanyi, mpozzi oba nga Ka tonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera ddala amazima, |
| 25 |
era balitamiirukuka okuva mu mutego wa Setaani, oyo ng'amaze okuakwasa okukolanga okwagala kw'oli. |
| |
|