| 1 |
Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde n'abaana be nze be njagala mu mazima; so si nze nzekka, era naye ne bonna abategeera amazima; |
| 2 |
olw'amazima agabeera mu ffe, era aganaabeeranga naffe emirembe n'emirembe: |
| 3 |
ekisa, okusaasira, emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n'eri Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe, binaabeeranga naffe mu mazima n'okwagala. |
| 4 |
Nsanyuse nnyo kubanga nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima, nga bwe twaweebwa Kitaffe ekiragiro. |
| 5 |
Era kaakano nkwegayirira, omukyala, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya wabula kye twalina okuva ku lubereberye, twagalanenga fekka na fekka. |
| 6 |
Na kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye. Ekyo kye kiragiro, nga bwe mwawulira okuva ku lubereberye mulyoke mukitambulirengamu. |
| 7 |
Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng'ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo. |
| 8 |
Mwekuumenga muleme okubulwa emirimu gye twakola, naye muweebwe empeera ennamba. |
| 9 |
Buli muntu ayitirira n'atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda: abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n'Omwana. |
| 10 |
Omuntu yenna bw'ajjanga gye muli n'ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga: |
| 11 |
kubanga amulamusa assa ekimu naye mu bikolwa bye ebibi. |
| 12 |
Newakubadde nga nnina ebigambo bingi okubawandiikira, ssaagala kubiwandiika ku lupapula ne bwino: naye nsuubira okujja gye muli, n'okwogera akamwa n'akamwa, essanyu lyammwe liryoke lituukirire. |
| 13 |
Abaana ba muganda wo omulonde bakulamusizza: |
| |
|