|
Ebbaluwa eri Omukyala Omulonde |
| 1 |
Eri omukyala omulonde n'abaana be benjagala mu mazima, ate nga si nze nzekka, naye n'eri bonna abalina amazima |
| 2 |
Omwagalwa, nsaba obeerenga bulungi mu bigambo byonna era obeerenga n'obulamu, ng'omwoyo gwo bwe gubeera obulungi. |
| 3 |
Kubanga nnasanyuka nnyo ab'oluganda bwe bajja ne bategeeza amazima go, nga ggwe bw'otambulira mu mazima. |
| 4 |
Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira abaana bange nga batambulira mu mazima. |
| 5 |
Omwagalwa, gya bwesigwa emirimu gyo gyonna gyonna gy'okolera ab'oluganda era abagenyi; |
| 6 |
abaategeeza okwagala kwo mu maaso g'ekkanisa; abo bw'onoobatambuzanga nga Katonda bw'asaanira, onookolanga bulungi: |
| 7 |
kubanga baavaayo olw'Erinnya nga tebaweereddwa kintu ba mawanga. |
| 8 |
Kale kitugwanidde okusembezanga abali ng'abo tulyoke tukolenga omulimu gumu n'amazima. |
| 9 |
Nnawandiikira ekkanisa ekigambo: naye Diyotuleefe ayagala okubeera omukulu waabwe tatukkiriza. |
| 10 |
Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by'akola ng'ayogera ku f£e ebigambo ebibi ebitaliimu: so ebyo tebimumala, naye era ye yennyini tasembeza ba luganda, era n'abaagala okubasembeza abaziyiza n'abagoba mu kkanisa. |
| 11 |
Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula ekirungi. Akola obulungi ye wa Katonda: akola obubi nga talabanga Katonda. |
| 12 |
Demeteriyo asiimibwa bonna, era n'amazima gennyini: era naffe tutegeeza; naawe omanyi ng'okutegeeza kwaffe kwa mazima. |
| 13 |
Nnalina ebigambo bingi okukuwandiikira, naye saagala kukuwandiikira na bwino na kkalaamu: |
| 14 |
naye nsuubira okukulaba amangu, tulyogera akamwa n'akamwa. Emirembe gibenga gy'oli. Ab'omukwano bakulamusizza. Lamusa ab'omukwano ng'amamiya gaabwe bwe gali. |
| |
|