|
|
| 1 |
Kale tuleke okwogera ku bigambo eby'olubereberye ebya Kristo, tuyitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwa kubiri musingi, kwe kwenenya ebikolwa ebifu, n'okukkiriza eri Katonda, |
| 2 |
okuyigiriza okw'okubatiza, n'okuteekako emikono, n'okuzuukira kw'abafu, n'omusango ogutaggwaawo. |
| 3 |
Era bwe tunaakola bwe tutyo Katonda bw'anaayagala. |
| 4 |
Kubanga abo abamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, |
| 5 |
ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag'emirembe egigenda okujja, |
| 6 |
ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw'okwenenya; nga beekomererera bokka omulundi ogw'okubiri Omwana wa Katonda, ne bamukwasa ensonyi mu lwatu. |
| 7 |
Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emir u, emingi, n'ebala enva ezibasaa nira abo b'erimirwa, efuna omugabo gw'omukisa eri Katonda: |
| 8 |
naye bw'ebala amaggwa ne ssere, tesii mibwa era eri kumpi n'okukolimirwa; enkomerero yaayo kwokebwa. |
| 9 |
Naye, abaagalwa, twetegerezza ku mmwe ebigambo ebisinga ebyo obulungi era ebiri okumpi n'obulokozi, newakubadde nga twogeddi bwe tutyo: |
| 10 |
kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n'okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza. |
| 11 |
Era twagala nnyo bili muntu ku mmwe okulaganga obunyiikivu obwo olw'okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero: |
| 12 |
mulemenga okubeera abagayaavu, naye abagoberera abo olw'okukkiriza n'okugumiikiriza abasikira ebyasuubizibwa. |
| 13 |
Kubanga, Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, bwe watali gw'ayinza kulayira amusinga obukulu, ne yeerayira yekka |
| 14 |
ng'ayogera nti Mazima okuwa omukisa nnaakuwanga omukisa, n'okwaza nnaakwazanga. |
| 15 |
Bw'atyo bwe yamala okugumiikiriza n'aweebwa ekyasuubizibwa |
| 16 |
Kubanga abantu balayira asinga obukulu: ne mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro kye kisalawo okukakasa. |
| 17 |
Katonda kyeyava ateeka wakati ekirayiro, ng'ayagala okubooleseza ddala ennyo abasika ab'ekyasuubizibwa okuteesa kwe bwe kutajjulukuka: |
| 18 |
olw'ebigambo ebibiri ebitajjulukuka, Katonda by'atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n'ekitugumya ekinywevu ffe abadduka okunoonya ekyekwekero okunyweza essuubi eryateekebwa mu maaso gaffe; |
| 19 |
lye tulina ng'essika ery'obulamu, essuubi eri tabuusibwabuusibwa era erinywevu era eriyingira munda w'eggigi. |
| 20 |
Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka ka bona asinga obukulu emirembe gyonna ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri. |
| |
|