|
|
| 1 |
Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika. |
| 2 |
Kubanga abakadde baategeerezebwa mu okwo. |
| 3 |
Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, era ekirabika kyekyava kirema okukolebwa okuva mu birabika. |
| 4 |
Olw'okukkiriza Abiri yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, eyamutegeezesa okuba n'obutuukirivu, Katonda bwe yategeereza ku birabo bye: era olw'okwo newakubadde nga yafa akyayogera. |
| 5 |
Olw'okukkiriza, Enoka yatwalibwa obutalaba kufa; n'atalabika kubanga Katoada yamutwala: kubanga bwe yali nga tannatwalibwa yategeezebwa okusumibwa Katonda: |
| 6 |
era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya. |
| 7 |
Olw'okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katoada ku bigambo ebyali bitannalabika, n'atya bulungi n'asiba eryato olw'okulokola ennyumba ye; kyeyava asalira ensi omusango, n'afuuka omusika w'obutuukirivu obuli mu kukkiriza. |
| 8 |
Olw'okukkiriza Ibulayimu, bwe yayitibwa, n'awulira n'okugenda n'agenda mu kifo kye yali agenda okuweebwa okuba obusika; a'avaayo nga tamanyi gy'agenda. |
| 9 |
Olw'okukkiriza n'abeeranga omugenyi mu nsi eyasuubizibwa, ng'etali yiye, ng'asula mu weema wamu ne Isaaka ne Yakobo, basika banne ab'okusuubizibwa okwo: |
| 10 |
kubanga yalindirira ekibuga kiri ekirina emisingi, Katonda kye yakuba kye yazimba. |
| 11 |
Olw'okukkiriza era ne Saala yennyini n'aweebwa amaanyi okuba olubuto newakubadde nga yali ayitiridde mu myaka, kubanga oyo eyasuubiza yamulowooza nga mwesigwa: |
| 12 |
era kyebaava bazaalibwa oyo omu era eyali ng'afudde, abali ng'emmunyeenye ez'omu ggulu obungi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja ogutabalika. |
| 13 |
Abo bonna baafiiira mu kukkiriza, nga tebaweereddwa ebyasuubizibwa, naye nga babirengerera wala, era nga babiramusa, era nga baatula nga bagenyi era abatambuze ku nsi. |
| 14 |
Kubanga aboogera bwe batyo boolesa nga banoonya ensi ey'obutaka. |
| 15 |
Era singa bajjukira ensi eri gye baavaamu, bandibadde n'ebbanga okuddayo. |
| 16 |
Naye kaakano beegomba ensi esinga obulungi, ye y'omu ggulu; Katonda kyava alema okukwatibwa ensonyi ku lw'abo, okuyitibwanga Katonda waabwe: kubanga yabateekerateekera ekibuga. |
| 17 |
Olw'okukkiriza Ibulayimu; bwe yakemebwa, n'awaayo Isaaka; era eyaweebwa ebyasuubizibwa n'essanyu yali agenda okuwaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka; |
| 18 |
eyagambibwa nti Mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga: |
| 19 |
bwe yalowooza nga Katonda ayinza okuzuukiza mu bafu era; era mwe yamuweerwa mu kifaananyi. |
| 20 |
Olw'okukkiriza Isaaka yasabira omukisa Yakobo ne Esawu, era mu bigambo ebyali bigenda okujja. |
| 21 |
Olw'okukkiriza Yakobo, bwe yali agenda okufa, yasabira omukisa abaana ba Yusufu bombiriri; n'asinza ng'akutamye ku musa gw'omuggo gwe. |
| 22 |
Olw'okukkiriza Yusufu, bwe yali ng'anaatera okufa, n'ayogera ku kuvaayo kw'abaana ba Isiraeri; n'alagira eby'amagumba ge. |
| 23 |
Olw'okukkiriza Musa, bwe yazaalibwa, abazadde be ne bamukwekera emyezi esatu, kubanga baamuleba nga mulungi; ne batarya kiragiro kya kabaka. |
| 24 |
Olw'okukkiriza Musa, bwe yakula, n'agaana okuyitibwanga omwana wa muwala wa Falaawo; |
| 25 |
ng'asinga okwagala okukolebwanga obubi awamu n'abantu ba Katonda okukira okubanga n'okwesiima okw'ekibi okuggwaawo amangu; |
| 26 |
ng'alowooza ekivume kya Kristo okuba obugagga obusinga ebintu by'e Misiri: kubanga yeekaliriza empeera eyo. |
| 27 |
Olw'okukkiriza n'aleka Misiri, nga tatya busungu bwa kabaka: kubanga yagumiikiriza ng'alaba oyo atalabika. |
| 28 |
Olw'okukkiriza yakola Okuyitako n'okumansira omusaayi, eyazikiriza ababereberye aleme okubakomako. |
| 29 |
Olw'okukkiriza ne bayita mu Nnyanja Emmyufu nga ku lukalu: Abamisiri bwe baagezaako okukola bwe batyo ne basaanyizibwawo. |
| 30 |
Olw'okukkiriza bbugwe wa Yeriko n'agwa, nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu. |
| 31 |
Olw'okukkiriza Lakabu omwenzi oyo teyazikiririra wamu n'abo abataagonda, bwe yasembeza abakessi emirembe. |
| 32 |
Njogere ki nate? Kubanga ebbanga linanzigwako bwe nnaayogera ku Gidiyooni, Balaki, Samusooni, Yefusa; ku Dawudi ne Samwiri ne bannabbi: |
| 33 |
olw'okukkiriza abo be baawangula obwakabaka, be baakola eby'obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, be baabuniza obumwa bw'empologoma, |
| 34 |
be baazikiza amaanyi g'omuliro, be badduka obwogi bw'ekitala, be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, be baafuuka abazira mu ntalo, be baagoba eggye ly'ab'amawanga. |
| 35 |
Abakazi ne baweebwa abafu baabwe mu kuzuukira: n'abalala ne bayigganyizibwa, nga tebagaaya kununutibwa, balyoke baweebwe okuzuukira okusinga obulungi: |
| 36 |
n'abalala ne bakemebwa nga baduulirwa era nga bakubibwa, era nate nga basibibwa ne bateekebwa mu kkomera: |
| 37 |
baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala: baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi; nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, nga bakolwa obubi |
| 38 |
(ensi beetaasaanira), nga bakyamira mu malungu ne ku nsozi ne mu mpuku ne mu bunnya obw'ensi. |
| 39 |
N'abo bonna bwe baamala okutegeezebwa olw'okukkiriza kwabwe, ne batafuna ekyasuubizibwa, |
| 40 |
Katonda bwe yatulabira edda ffe ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo. |
| |
|