| |
| 1 |
Kale oba nga waliwo okukubagiza kwonna mu Kristo, oba ng'okusanyusa kwonna okw'okwagala, oba ng'okussa ekimu kwonna okw'Omwoyo, oba ng'okusaasira n'ekisa, |
| 2 |
mutuukirize essanyu lyange mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala kumu, omwoyo gumu nga mulowooza bumu; |
| 3 |
temukolanga kintu kyonna olw'okuyomba newakubadde olw'ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muatu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka; |
| 4 |
temutunuuliranga buli muntu ebibyo yekka, era naye buli muntu n'eby'abalala. |
| 5 |
Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu; |
| 6 |
oyo bwe yasook, okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda, |
| 7 |
naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'abeera mu kifaananyi ky'abantu; |
| 8 |
era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba. |
| 9 |
Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna; |
| 10 |
buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery'eby'omu ggulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi, |
| 11 |
era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa. |
| 12 |
Kale, abaagalwa bange, nga bwe mwawuliranga ennaku zonna, si nga nze lwe mbeerawo lwokka, naye kaakano okusinga ennyo nga ssiriiyo, mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n'okutya n'okukankana; |
| 13 |
kubanga Katonda yakoza mu mmwe okwagala n'okukola, olw'okusiima kwe okulungi. |
| 14 |
Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga n'empaka; |
| 15 |
mulemenga okubaako kye munenye;ebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati n'emirembe egyakyama emikakaiyavu, gye mulabikiramu ng'ettabaaza z'omu nsi, |
| 16 |
nga mwolesa ekigambo eky'obulamu; ndyoke nbeere n'okwenyumiriza ku lunaku wa Kristo, kubanga ssaddukira bwereere, so ssaafubira bwereere. |
| 17 |
Naye newakubadde nga nfukima ku ssaddaaka n'okuweereza okw'okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nanmwe mwenna: |
| 18 |
era nammwe me mutyo musanyuke era musanyukire wamu nange. |
| 19 |
Naye nsuubira mu Mukama waffe Yesu, okubatumira amangu Timoseewo, nange ndyoke ngume omwoyo, bwe ndimala okutegeera ebifa gye muli. |
| 20 |
Kubanga sirina muntu mulala alina emmeeme eyenkana n'ey'oyo, aligenderera ebya mmwe mu mazima. |
| 21 |
Kubanga bo bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, si bya Yesu Kristo. |
| 22 |
Naye ekimutegeezesa mukimanyi, nga aweerezanga wamu nange olw'enjiri, ng'omwana eri kitaawe. |
| 23 |
Kale oyo nsuubira okumutuma mangu, kyokka bwe ndimala okusba ebifa gye ndi: |
| 24 |
naye nsuubira mu Mukama waffe nti nange ndijja mangu. |
| 25 |
Naye nnalaba nga #331;ŋwanye okubatumira Epafuloddito muganda wange, era mukozi munange, era mulwanyi munnange, naye ye mutume wammwe era omuweereza w'ebintu bye nneetaaga; |
| 26 |
kubanga yabalumirwa omwoyo mmwe mwenna, ne yeeraliikirira nyo, kubanga mwawulira nga yalwala: |
| 27 |
kubanga okulwala yalwayali kumpi n'okufa: naye Katonda yamusaasira; so si ye yekka, naye era nange, ennaku endala zireme okweyongera ku nnaku ze nnina. |
| 28 |
Kyenva njagala ennyo okumutuma, bwe mulimulaba nate mulyo: musanyuke, nange nkendeeze ku makuwala kwange. |
| 29 |
Kale muwanirizanga mu Mukama waffe essanyu lyonna; era abafaanana oyo mubassengamu ekitiibwa: |
| 30 |
kubanga yabulako katono afe w'omulimu gwa Kristo, bwe yaigawo obulamu bwe alyoke atuukirize ekyabulako mu kuweereza kwammwe gye ndi. |
| |
|