|
|
| 1 |
Naye njogera nti omusika ng'akyali muto tayawulwa na muddu n'akatono, newakubadde nga ye'mukama wa byonna; |
| 2 |
naye afugibwa abasigire n'abawanika okutuusa entuuko kitaawe ze yalagira edda. |
| 3 |
Bwe tutyo naffe, bwe twabanga abato, twabanga baddu nga tufugibwa eby'olubereberye eby'omu nsi: |
| 4 |
naye okutuukirira kw'ebiro bwe kwatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka, |
| 5 |
alyoke abanunule abaafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana. |
| 6 |
Era kubanga muli banns, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe; ng'akaaba nti Aba, Kitaffe. |
| 7 |
Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oh musika ku bwa Katonda. |
| 8 |
Naye mu nnaku ziri bwe mutaamanyanga Katonda, mwabanga baddu ba bali abatali bakatonda mu buwangwa: |
| 9 |
naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya ennyuma mu bigambo eby'olubereberye ebitalina maanyi ebinafu, ate bye mwagala okufugibwa omulundi ogw'okubiri? |
| 10 |
Mukwata ennaku n'emyezi n'ebiro n'emyaka. |
| 11 |
Mbakeŋŋentererwa okutegana kwange gye muli okuba okw'obwereere. |
| 12 |
Mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe, ab'oluganda mbeegayiridde. Temunnyonoonanga: |
| 13 |
naye mumanyi ng'olw'obunafu bw'omubiri nnababuulira enjiri omuluadi ogw'olubereberye: |
| 14 |
era okukemebwa kwammwe okw'omu mubiri gwange temwakuzeyooma so temwakulondoola, naye mwanzikiriza nga malayika ova Katonda, nga Kristo Yesu. |
| 15 |
Kale okwetenda kwammwe kuli luuyi wa? kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kiyinzika, mwaadiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze. |
| 16 |
Kale afuuse mulabe wammwe nga mbabuulira amazima? |
| 17 |
Beegonza gye muli naye si bulungi; naye kye baagala kwe kubaggalira ebweru, tnmwe mulyoke mwegonzenga gye bali: |
| 18 |
Naye kirungi abantu okwegonzaaga mu bulungi ennaku zonna, naye si nze lwe mbeera nammwe lwokka. |
| 19 |
Abaana bange abato, abannuma nate okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe, |
| 20 |
era nnandyagadde okubeera nammwe kaakano, n'okuwaanyisa eddoboozi lyange, kubanga mbuusabuusa olw'ebigambo byammwe. |
| 21 |
Mumbuulire mmwe abaagala okufugibwa amateeka, temuwulira mateeka? |
| 22 |
Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yalina abaana babiri, omu wa muzaana, omu: wa wa ddembe. |
| 23 |
Naye ow'omuzaana yazaalibwa lwa mubiri; naye ow'ow'eddembe lwa kusuubiza. |
| 24 |
Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ezaala olw'obuddu, eyo ye Agali. |
| 25 |
Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be. |
| 26 |
Naye Yerusaalemi eky'omu ggutu kye ky'eddembe, ye nnyaffe. |
| 27 |
Kubanga kyawandiikibwa nti Saayuka, omugumba atazaala; Baguka okwogerera waggulu, atalumwa: Kubanga abaana b'oyo eyale kebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja: |
| 28 |
Naye ffe, ab'oluganda, tuli baana ba kuauubiza nga Isaaka bwe yali: |
| 29 |
Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo ne kaakano. |
| 30 |
Naye ebyawandiikibwa byogera, bitya? nti Goba omuzaana n'omwana we: knbaana omwana w’omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe. |
| 31 |
Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye ba wa ddembe. |
| |
|