| 1 |
Pawulo omutume wa Kzisto Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, |
| 2 |
era abatukuvu, ab'oluganda abeesigwa mu Kristo ab'omu Kkolosaayi: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe. |
| 3 |
Twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira ennaku zonna, |
| 4 |
bwe twawulira okukkiriza kwammwe mu Kristo Yesu, n'okwagala kwe mulina eri abatukuvu bonna, |
| 5 |
olw'essuubi eryatsaterekerwa mu ggulu, lye mwawulira edda mu kigambo eky'amazima ag'enjiri, |
| 6 |
eyajja gye muli; era nga bw'eri mu nsi zonna, ng'ebala ebibala era ng'ekula, era nga ne mu mmwe, okuva ku lunaku bwe mwawulira ne mutegeera ekisa kya |
| 7 |
Katonda mu mazima; nga bwe mwayigirizibwa Epafula muddu mu nnaffe omwagalwa, ye muweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe, |
| 8 |
era eyatubuulira okwagala kwammwe mu Mwoyo. |
| 9 |
Naffe kyetuva tetulekaayo, okuva ku lunaku bwe twawulira, okubasabira n'okubeegayirira mulyoke mujjuzibwe okutegeeranga by'ayagala mu magezi gonna n'okutegeera eby'Omwoyo, |
| 10 |
okutambulanga nga bwe kisaanira Mukama waffe olw'okusiimibwa kwonna, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mukuLiranga mu kutegeera Katonda; |
| 11 |
nga muyinzisibwanga n'obuyinza bwonna, ng'amaanyi ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonna n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyu:a; |
| 12 |
nga mwebaza Kitaffe, eyarusaanyiza ffe omugabo ogw'obusika obw'abatukuvu mu musana, |
| 13 |
eyatulokola mu buyinza obw'ekizikiza, n'atutwala mu bwakabal:a obw'Omwana we omwagalwa; |
| 14 |
mwe tubeerera n'okununulwa, kwe kusonyiyibwa kw'ebibi byaffe: |
| 15 |
oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye ow'ebitonde byonna; 16 |
| 16 |
kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwaizabaka, oba bwami, oba kufuga, oba masaza; ebintu byonna byatondebwa ye, era ne ku lulwe; |
| 17 |
naye ye w'olubereberye mu byonna, era ebintu byonna bibeerawo mu ye. |
| 18 |
Era oyo gwe mutwe gw'omubiri, ve kkanisa: oyo lwe lubereberye, emubereberye ow'omu bafu; ye alyoke abeerenga ow'olubereberye mu byonna. |
| 19 |
Kubanga Kitaffe rasiima okutuukirira kwonna okubeeranga mu ye; |
| 20 |
n'okutabaganyisa ebintu byonna eri ye yennyini mu ye, bwe yamala okuleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe; mu ye okutabaganyisa oba eby'oku nsi oba eby'omu ggulu. |
| 21 |
Nammwe, bwe mwali edda bannaggwanga era abalabe mu kulowooza kwammwe mu bikolwa ebibi, naye kaakano yabatabaganyisa |
| 22 |
mu mubiri ogw'ennyama ye olw'okufa, okubanjula abatukuvu, abataliiko mabala abatanenyezebwa mu maaso ge: |
| 23 |
bwe mubeera obubeezi mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly'enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w'eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo. |
| 24 |
Kaakano nsanyuse mu bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw'omubiri gwe, ye kkanisa; |
| 25 |
nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda, |
| 26 |
ekyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda n'emirembe n'emirembe: naye kaakano kyolesebbwa eri abatukuvu be, |
| 27 |
Katonda be yayagala okutegeeza obugagga obw'ekitiibwa eky'ekyama kino bwe buli mu b'amawanga, ekyo ye Kristo mu mmwe, essuubi ery'ekitiibwa: |
| 28 |
gwe tubuulira ffe, nga tulabula buli muntu, era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna, tulyoke twanjule buli muntu ng'atuukiridde mu Kristo; |
| 29 |
n'okufuba kye nfubira era, nga mpakana ng'okukola kwe bwe kuli, okukolera mu nze n'amaanyi. |
| |
|