| |
|
Abeddembe eri ekibi eky'obuzaaliranwa |
| 1 |
Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu |
| 2 |
Kubanga etteeka ery'Omwoyo gw'obulamu mu Kristo Yesu lyanfuula ow'eddembe okunziya mu tteeka ly'ekibi n'ery'okufa. |
| 3 |
Kubanga amateeka kye gatayinza, kubanga manafu olw'omubiri, Katonda, bwe yatuma Omwana we ye mu kifaananyi ky'omubiri ogw'ekibi era olw'ekibi, n'asalira omusango ekibi mu mubiri: |
| 4 |
obutuukirivu bw'amateeka bulyoke butuukirizibwe mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula omwoyo. |
| 5 |
Kubanga abagoberera omubiri, balowooza bya mubiri: naye abagoberera omwoyo, bya mwoyo. |
| 6 |
Kubaaga okulowooza kw'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw'omwoyo bwe bulamu n'emirembe: |
| 7 |
kubanga okulowooza kw'omubiri bwe bulabe eri Katonda; kubangatekufugibwa mateeka ga Katonda, kubanga n'okuyinza tegakuyinza: |
| 8 |
n'abo abali mu mubiri tebayinza kusanyusa Katonda. |
| 9 |
Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng'Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyogwa Kristo, oyo si, wuwe. |
| 10 |
Era oba aga Kristo ali'mu mmwe, omubiri nga gufudde olw'ekibi; naye omwoyo bwe bulamu olw'obutuukirivu. |
| 11 |
Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atuula mu mmwe. |
| 12 |
Kale nno, ab'oluganda, tulina ebbanja: omubiri si gwe gutubanja; okugobereranga omubiri: |
| 13 |
kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa; naye bwe munaafiisanga ebikolwa by'omubiri olw'Omwoyo, muliba balamu. |
| 14 |
Kubanga bonna abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda, abo be baana ba Katonda. |
| 15 |
Kubanga temwaweebwa nate mwoyo gwa buddu okutya, naye mwaweebwa Omwoyo ow'okufuuka abaana, atukaabya nti Abba, Kitaffe. |
| 16 |
Omwoyo yennyini wamu n'omwoyo gwaffe ategeeza nga tuli baana ba Katonda: |
| 17 |
naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa. |
| 18 |
Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe. |
| 19 |
Kubanga okutunuulira ennyo okw'ebitonde kulindirira okubikkulirwa kw'abaana ba Katonda. |
| 20 |
Kubanga ebitonde byateekebwa okufugibwa obutaliimu, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw'oyo eyabifugisa, mu kusuubira nti |
| 21 |
era n'ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda. |
| 22 |
Kubanga tumanyi ng'ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano. |
| 23 |
Era si ekyo kyokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusiada munda yaffe, nga tuliadirira okufuuka abaana, kwe kunuaulibwa kw'omubiri gwaffe. |
| 24 |
Kubanga twalokoka lwa kusuubira: naye ekisuubirwa ekirabika si kusuubira: kubanga ani asuubira ky'alabako? |
| 25 |
Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n'okugumiikiriza. |
| 26 |
Era bwe kityo Omwoyo atubeera obunafu bwaffe: kubaaga tetutnanyi kusaba nga bwe kitugwanira: naye Omwoyo yennyini atuwolereza n'okusinda okutayogerekeka; |
| 27 |
naye akebera emitima amanyi okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awolereza abatukuvu nga Katonda bw'ayagala. |
| 28 |
Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi. |
| 29 |
Kubanga bwe yamanya edda, era yabaawula dda okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi: |
| 30 |
era be yayawula edda, abo era yabayita: era be yayita, yabawa abo era obutuukirivu: era be yawa obutuukirivu, yabawa abo era ekitiibwa. |
| 31 |
Kale tunaayogera tutya ku ebyo? Katonda bw'abeera ku lwaffe, omulabe waffe ani? |
| 32 |
Ataagaana Mwana we ye, naye n'amuwaayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye? |
| 33 |
Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda abawa obutuukirivu: |
| 34 |
ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza. |
| 35 |
Ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala? |
| 36 |
Nga bwe kyawandiikibwa nti Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe: Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa. |
| 37 |
Naye mu ebyo byonna tuwangudde n'okukirawo ku bw'oyo eyatwagala. |
| 38 |
Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, |
| 39 |
newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe. |
| |
|