| |
|
Isiraeri teyeeganira ddala Kristo |
| 1 |
Naye eri Isiraeri ayogera ati Obudde okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana. |
| 2 |
Katonda teyagoba bantu be, be yamanya edda. Oba temumanyi ebya Eriya ebyawandiikibwa bwe byogera? bwe yasaba Katonda ng'ayogera ku Baisiraeri nti |
| 3 |
Mukama, batta bannabbi bo, ne basuula ebyoto byo: nange nfisseewo nzekka, era banoonya obulamu bwange. |
| 4 |
Naye okuddamu kwa Katonda kumugamba kutya? Nti Nze nneefissirizzaawo abasajja kasanvu, abatafikaamiriranga Baali. |
| 5 |
Kale bwe kityo era ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyafikkawo mu kulonda okw'ekisa. |
| 6 |
Naye oba nga lwa kisa, si lwa bikolwa nate: oba nga si bwe kityo, ekisa si kisa nate. |
| 7 |
Kale tukole tutya? Isiraeri kye yanoonya, teyakiraba; naye abaalondebwa baakiraba, abalala ne bakakanyazibwa: |
| 8 |
nga bwe kyawandiikibwa nti Katonda yabawa omwoyo ogw'okubongoota, amaaso ag'obutalaba, n'amatu ag'obutawulira, okutuusa ku lunaku lwa leero. |
| 9 |
Era Dawudi ayogera nti Emmeeza yaabwe ebafuukire akakunizo n'ekigu, N'enkonge, n'empeera gye bali: |
| 10 |
Amaaso gaabwe gasiikirizibwe obutalaba, Era obakutamyenga omugongo gwabwe bulijjo. |
| 11 |
Kale njogera nti Kyebaava beesittala balyoke bagwe? Kitalo: naye olw'okwonoona kwabwe obulokozi kyebwava bujja eri ab'amawanga, okubakwasa obuggya. |
| 12 |
Naye oba ng'okwonoona kwabwe bwe bugagga bw'ensi, n'okuweebuuka kwabwe bwe bugagga bw'ab'amawanga; okutuukirira kwabwe tekusinga nnyo? |
| 13 |
Naye mbagamba mmwe ab'amawanga. Kale kubanga nze ndi mutume wa b'amawanga, ngulumiza okuweereza kwange: |
| 14 |
bwe ndiraba ekigambo kyonna kye ndikwasisa obuggya ab'omubiri gwange, ne ndokola abamu mu bo. |
| 15 |
Kuba oba ng'okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kiki, wabula obulamu mu bafu? |
| 16 |
Era ebibala ebibereberye bwe biba ebitukuvu, era n'ekitole kitukuvu: era ekikolo bwe kiba ekitukuvu, era n'amatabi matukuvu. |
| 17 |
Naye oba ng'amatabi agamu gaawogolebwa, naawe, eyali omuzeyituuni ogw'omu nsiko, wasimbibwa mu go, n'ogatta wamu nago ekikolo eky'obugevvu obw'omuzeyituuni; |
| 18 |
teweenyumiririzanga ku matabi: naye bwe weenyumirizanga, si ggwe weetisse ekikolo, naye ekikolo kye kyetisse ggwe. |
| 19 |
Kale onooyogera nti Amatabi kyegaava gawogolwa Me nsimbibweko. |
| 20 |
Weewaawo; gaawogolwa lwa butakkiriza, naawe onywedde lwa kukkiriza. Teweegulumizanga, naye tyanga: |
| 21 |
kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, era naawe talikusaasira. |
| 22 |
Kale laba obulungi n'obukambwe bwa Katonda: eri abaagwa, bukambwe; naye eri ggwe bulungi bwa Katonda, bw'onoobeereranga mu bulungi bwe: bw'otoobeererenga, naawe oliwogolwa. |
| 23 |
Era nabo, bwe bataabeererenga mu butakkiriza bwabwe balisimbwawo: kubanga Katonda ayinza okubasimbawo nate. |
| 24 |
Kuba oba nga ggwe wawogolwa ku muzeyituuni ogwali ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omulungi obutagoberera buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa; tebalisinga nnyo kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe bo? |
| 25 |
Kubanga ssaagala mmwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, mulemenga okubeera ab'amagezi mu maaso gammwe mwekka, ng'obukakanyavu bwabeera ku Baisiraeri mu kitundu, okutuusa okutuukirira kw'ab'amawanga lwe kulituuka; |
| 26 |
era bwe kityo Abaisiraeri bonna balirokoka: nga bwe kyawandiikibwa nti Muliva mu Sayuuni Awonya; Aliggyawo obutatya Katonda mu Yakobo: |
| 27 |
Era eno ye ndagaano yange eri bo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe. |
| 28 |
Mu njiri, be balabe ku lwammwe: naye mu kulondebwa, baagalwa ku lwa bajjajja. |
| 29 |
Kubanga ebirabo n'okuyita kwa Katonda tebyejjusibwa. |
| 30 |
Kuba nga mmwe edda bwe mutaawulira Katonda, naye kaakati musaasiddwa olw'obutawulira bw'abo, |
| 31 |
bwe kityo nabo kaakati tebawulidde, olw'okusaasirwa kwammwe kaakati nabo balyoke basaasirwe. |
| 32 |
Kubanga Katonda yasiba bonna mu butawulira, alyoke asaasire bonna. |
| 33 |
Obuziba bw'obugagga obw'amagezi a'obw'okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n'amakubo ge nga tegekkaanyizika! |
| 34 |
Kubanga ani eyali amanye ebirowoozo bya Mukama? oba ani eyali amuwadde amagezi? |
| 35 |
oba ani eyali asoose okumuwa ekintu, era eliddizibwa nate? |
| 36 |
Kubanga byonna biva gy'ali, era biyita gy'ali, era bituuka gy'ali. Ekitiibwa kibeerenga gy'ali emirembe gyonna Amiina. |
| |
|