| |
|
Suteefano ayogera eri ekibiina |
| 1 |
Kabona asinga obukulu n'ayogera nti Ebyo bwe biri bwe bityo? |
| 2 |
Suteefano n'agamba nti Abasajja ab'oluganda era bassebo, muwulire. Katonda ow'ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng'ali e Mesopotamiya, nga tannabeera Kalani, |
| 3 |
n'amugamba nti Va mu nsi yannyo ne mu kika kyo, ogende mu nsi gye ndikulaga. |
| 4 |
Awo n'ava mu nsi y'Abakaludaaya, n'abeera mu Kalani: oluvannyuma kitaawe bwe yamala okufa, n'amuggyayo n'amuleeta mu nsi eno mwe mutudde mmwe kaakano; |
| 5 |
so teyamuwa butaka muno newakubadde awalinnyibwa ekigere: n'asuubiza okugimuwa okugirya, ye n'ezzadde lye oluvannyuma lwe, nga tannaba na mwana. |
| 6 |
Katonda n'ayogera bw'ati ng'ezzadde lye baliba bagenyi mu nsi y'abalala; balibafuula abaddu, balibakolera obubi emyaka bikumi bina. |
| 7 |
N'eggwanga eriribafuula abaddu nze ndisala omusango gwalyo, bwe yayogera Katonda: n'oluvannyuma balivaayo balinsinziza mu kifo kino. |
| 8 |
N'amuwa endagaano ey'okukomola: awo Ibulayimu n'azaala Isaaka, n'amukomolera ku lunaku olw'omunaana: ne Isaaka n'azaala Yakobo: ne Yakobo n'azaala bajjajja abakulu ekkumi n'ababiri. |
| 9 |
Bajjajja abakulu bwe baakwatirwa Yusufu obuggya ne bamutunda mu Misiri. Katonda n'abeeranga naye,
|
| 10 |
n'amulokola mu nnaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi mu maaso ga Falaawo kabaka w’e Misiri, n'amufuula omufuzi mu Misiri ne mu nnyumba ye yonna. |
| 11 |
Enjala n'egwa ku nsi yotlna ey'e Misiri n'eya Kanani, n'ellnaku nnyingi, so ne batalaba mmere bajjajjaffe.
|
| 12 |
Naye Yakobo bwe yawulira ng'emmere enkalu eri Misiri, n'atuma bajjajjaffe omulundi ogw'olubereberye:
|
| 13 |
n'omulundi ogw'okubiri Yusufu baganda be ne bamutegeera: ekika kya Yusufu ne kimanyibwa Falaawo. |
| 14 |
Yusufu n'atuma n'ayita Yakobo kitaawe ne baganda be bonna, abantu nsanvu mu bataano. |
| 15 |
Yakobo n'akkirira e Misiri, n'afiirayo, ye ne bajjajjaffe; |
| 16 |
ne batwalibwa e Sekemu; ne baziikibwa mu ntaana Ibulayimu gye yagula omuwendo gw'effeeza ku baana ba Kamoli mu Sekemu. |
| 17 |
Naye ng'ebiro eby'okusuubiza bwe byali okumpi, Katonda kwe yayatulira Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri, |
| 18 |
okutuusa kabaka omulala lwe yabaawo ku Misiri ataamanya Yusufu. |
| 19 |
Oyo bwe yasalira amagezi eggwanga lyaffe, n'akola obubi bajjajjaffe, ng'abasuuzanga abaana baabwe abawere baleme okubeera abalamu. |
| 20 |
Mu biro ebyo Musa n'azaalibwa, n'abeera mulungi eri Katonda, ne bamuliisiza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe. |
| 21 |
Bwe yasuulibwa, muwala wa Falaawo n'amutwala n'amulera ng'omwana we. |
| 22 |
Musa n'ayigirizibwa mu magezi gonna ag'e Misiri; n'abeera wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye. |
| 23 |
Naye obukulu bwe yali alitera okutuusa emyaka amakumi ana, n'alowooza mu mutima gwe okulaba baganda be, abaana ba Isiraeri. |
| 24 |
Bwe yalaba omuntu akolwa obubi, n'amutaasa, n'amuwoolera eggwanga omuntu eyali akolwa obubi, n'akuba Omumisiri. |
| 25 |
N'alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda agenda okubawa obulokozi mu mikono gye: naye tebaategeera. |
| 26 |
Nate ku lunaku olw'okubiri n'abasanga nga balwana, n'agezaako okubatabaganya, ng'agamba nti Abasajja, mmwe muli ba luganda: kiki ekibakoza obubi mwekka na mwekka? |
| 27 |
Naye oli eyali akola munne obubi n'amusindika eri, ng'agamba nti Ani eyakufuula ggwe omukulu n'omulamuzi waffe? |
| 28 |
Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri jjo? |
| 29 |
Musa n'adduka olw'ekigambo ekyo, n'abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, gye yazaalira abaana babiri ab'obulenzi. |
| 30 |
Awo emyaka amakumi ana bwe gyatuuka, malayika wa Mukama n'amulabikira mu nnimi z'omuliro nga gwaka mu kisaka, bwe yali mu ddungu ku lusozi Sinaayi. |
| 31 |
Musa bwe yalaba ne yeewuunya ky'alabye. Bwe yasembera okwetegereza, ne wabaawo eddoboozi lya Mukama nti |
| 32 |
Nze Katonda wa bajjajja bo, Kazonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n'akankana, so teyaguma kutunuulira. |
| 33 |
Mukama n'amugamba nti Sumulula engatto eziri mu bigere byo: kubanga mu kifo wano w'oyimiridde watukuvu. |
| 34 |
Okulaba ndabye okukolwa obubi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale kaakano jjangu, nnaakutuma mu Misiri. |
| 35 |
Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi? oyo Katonda gwe yatuma okuba omukulu era omununuzi mu mukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka. |
| 36 |
Oyo n'abaggyayo bwe yamala okukola amagero n'obubonero mu Misiri, ne mu Nnyanja Emmyufu, ne mu ddungu emyaka amakumi ana. |
| 37 |
Oyo ye Musa oli eyagamba abaana ba Isiraeri nti Katonda alibaleetera nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze. |
| 38 |
Oyo ye yali mu kkanisa mu ddungu, wamu ne malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu ne bajjajjaffe; eyaweebwa ebigambo eby'obulamu okutuwa ffe: |
| 39 |
bajjajjaffe gwe bataayagala kuwulira, naye baamusindika eri, ne baddayo e Misiri mu mitima gyabwe, |
| 40 |
nga bagamba Alooni nti Tukolere bakatonda abalitukulembera: kubanga Musa oyo, eyatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde. |
| 41 |
Ne bakola ennyana mu nnaku ziri, ekifaananyi ne bakireetera ssaddaaka, ne basanyukira emirimu gy'emikono gyabwe. |
| 42 |
Naye Katonda n'akyuka, n'abawaayo okusinzanga eggye ery'omu ggulu; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti Mwampeeranga nze ensolo ezattibwanga ne ssaddaaka Emyaka amakumi ana mu ddungu, ennyumba ya Isiraeri? |
| 43 |
Ne musitula eweema ya Moloki, N'emmunyeenye ya katonda Lefani, Ebifaananyi bye mwakola okubisinzanga: Nange ndibatwala ennyuma w’e Babbulooni. |
| 44 |
N'eweema ey'obujulirwa yali ne bajjajjaffe mu ddungu, nga bwe yalagira eyagamba Musa okugikola ing'engeri gye yalaba bwe yali: |
| 45 |
bajjajjaffe bwe baagiweebwa ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baalya amatwale g'ab'amawanga, Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe okutuusa mu nnaku za Dawudi; |
| 46 |
eyasiimibwa mu maaso ga Katonda, n'asaba okumunoonyeza aw'okutuuza Katonda wa Yakobo. |
| 47 |
Naye Sulemaani n'amuzimbira ennyumba. |
| 48 |
Naye Ali waggulu ennyo tatuula mu nnyumba ezaakolebwa n'emikono; nga nnabbi bw'ayogera nti |
| 49 |
Eggulu ye ntebe yange, N'ensi ye ntebe y'ebigere byange: Nnyumba ki gye mulinzimbira? bw'ayogera Mukama: Oba kifo ki mwe ndiwummulira? |
| 50 |
Omukono gwange si gwe gwabikola ebyo byonna? |
| 51 |
Mmwe abalina ensingo enkaIkanyavu, abatakomolebwa mu mitima ne mu matu, mmwe muziyiza bulijjo Omwoyo Omutukuvu; nga bajjajja bammwe, nammwe bwe mutyo. |
| 52 |
Nnabbi ki gwe bataayigganya bajjajjammwe? Battanga abaasooka okubuulira ebigambo eby'okujja kwe Omutuukirivu, gwe mumaze okuwaayo kaakano okumutta; |
| 53 |
mmwe abaaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika, so temwagakwata. |
| 54 |
Awo bwe baawulira ebyo ne balumwa mu mitima gyabwe, ne bamulumira obujiji. |
| 55 |
Naye bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n'akaliriza amaaso mu ggulu, n'eleba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda; |
| 56 |
n'agamba nti Laba, ntunuulidde eggulu nga libikkuse n'Omwana w'Omuntu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. |
| 57 |
Ne baleekaana n'eddubuozi ddene, ne baziba amatu gaabwe, ne bamweyiwako n'omwoyo gumu, |
| 58 |
ne bamusindiikiriza ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abajulirwa ne bateeka engoye zaabwe ku bigere by'omulenzi, erinnya lye Sawulo. |
| 59 |
Ne bakuba amayinja Suteefano bwe yasaba n'agamba nti Mukama wange Yesu, twola omwoyo gwaage. |
| 60 |
N'afukamira n'akaaba n'eddoboozi ddene nti Mukama wange, tobabalira kibi kino. Bwe yamala okwogera ebyo ne yeebaka. |
| |
|