| |
|
Olugendo lw'e Ruumi |
| 1 |
Awo bwe kyalagirwa ffe okuwanika amatanga okugenda Italiya, ne bawaayo Pawulo n'abasibe abalala abamu eri omwami, erinnya lye Yuliyo, ow'ekitongole kya Augusito. |
| 2 |
Ne tusaabala mu kyombo eky'e Adulamutiyo ekyali kigenda ku njuyi z'e Asiya, ne tuvaayo, Alisutaluuko ow'e Makedoni ow'omu Ssessaloniika naye ng'ali naffe. |
| 3 |
Ku lunaku olw'okubiri ne tugoba e Sidoni: Yuliyo n'akola bulungi Pawulo n'amukkiriza okugenda eri mikwano gye okumulabirira. |
| 4 |
Ne tuvaayo ne tuyita ku mabbali ga Kupulo kubanga omuyaga gwali gutuva mu bwengula. |
| 5 |
Bwe twayita mu nnyanja ey'e Kirukiya n'e Panfuliya; tutuuka e Mula eky’e Lukiya. |
| 6 |
Omwami n'alabayo ekyombo eky'e Alegezanderiya nga kigenda Italiya; n'atusaabaza mu ekyo. |
| 7 |
Bwe twagenda empola ennaku nnyingi ne tutuuka lwa mpaka ku Kunido, omuyaga bwe gwatulobera, ne tuyita ku mabbali ga Kuleete mu maaso ga Salumone; |
| 8 |
ne tukiyitako lwa mpaka ne tutuuka mu kifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi; awaliraanye ekibuga Lasaya. |
| 9 |
Bwe waayitawo ebiro bingi, obubi bwali bumaze okubaawo okugenda mu nnyanja kubanga ennaku ez'Okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula |
| 10 |
ng'abagamba nti Abasajja, ndaba nti olugendo luno lulibaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi si kwa bintu byokka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaffe. |
| 11 |
Naye omwami n'akkiriza omugoba ne nnannyini kyombo okusinga Pawulo by'ayogedde. |
| 12 |
Kubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu omuyaga, abamu bangi ne bateesa okuvaayo, mpozzi balyoke batuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; gwe mwalo ogw'e Kuleete ogutunuulira wakati w'obukiika n'ebuvanjuba, ne wakati w'obukiika obulala n'ebuvanjuba. |
| 13 |
Empewo ez'omuggundu bwe zaakunta empola, ne balowooza nti bafunye kye babadde baagala, ne basimbula essiika ne bayita kumpi nnyo ne Kuleete. |
| 14 |
Naye oluvannyuma lw'ebiro si bingi omuyaga ogulimu kibuyaga ogwavaayo oguyitibwa Ewulakulo ne gukunta: |
| 15 |
ekyombo bwe kyakwatibwa ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tukireka ne tutwalibwa omuyaga. |
| 16 |
Ne tweyuna mu mabbali g'akazinga akayitibwa Kawuda, ne tutegana okukwata eryato: |
| 17 |
bwe baamala okulirinnyisa, ne baddira emigwa egy'okunyweza ekyombo ne bakisiba wansi. Bwe baatya okusuulibwa mu Suluti, ne bassa ebyali waggulu, ne batwalibwa omuyaga. |
| 18 |
Bwe twategana ennyo n'omuyaga, ku lunaku olw'okubiri ne basiikulula ebintu, |
| 19 |
era ku lw'okusatu ne basuula n'emikono gyabwe ebitwala ekyombo. |
| 20 |
Era enjuba newakubadde emmunyeenye mu nnaku nnyingi nga tebyaka, era n'omuyaga si mutono ogwatukwata, oluvannyuma essuubi lyonna ery'okulokoka ne lituggwaamu. |
| 21 |
Enjala bwe yali ennyingi, awo Pawulo n'alyoka ayimirira wakati waabwe n'agamba nti Kyabagwanira, abasajja, okumpulira obutava mu Kuleete, obu talaba kwonoonekerwa kuno n'okufiirwa. |
| 22 |
Era kaakano mbabuulirira okuguma emyoyo; kubanga tewaabe mu mmwe anaafiirwa obulamu n'akatono wabula ekyombo. |
| 23 |
Kubanga we ndi waayimiridde ekiro kino malayika wa Katonda, nze owuwe, gwe mpeereza, |
| 24 |
ng'agamba nti Totya, Pawulo; kikugwaInidde okuyimirira awali Kayisaali; era, laba, Katonda akuwadde bonna abagenda awamu naawe. |
| 25 |
Kale mugume emyoyo, abasajja; kubanga nzikiriza Katonda nga kiriba nga bwe yaŋŋambye. |
| 26 |
Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga. |
| 27 |
Naye ekim eky'ekkumi n'ebina bwe kyatuuka, nga tusuukundirwa eruuyi n'eruuyi mu Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne baieebereza nti banaatera okusemberera olukalu; |
| 28 |
ne bagera ne balaba ebifuba amakumi abiri: bwe twagendako katono, ne bagera nate, ne balaba ebifuba kkumi na bitaano. |
| 29 |
Bwe baatya okuseerera awali amayinja, I ne basuula amasiika ana ku kiwenda ine balindirira bukye. |
| 30 |
Abalui nnyanja bwe baali baagala okudduka mu kyombo ne bamala okussa eryato mu nnyanja ng'abagenda okusuula lamasiika ku nsanda, |
| 31 |
Pawulo n'agamba omwami n'abaserikale nti Bwe bataabeere bano mu kyombo, mmwe temuuyinze kulokoka. |
| 32 |
Basserikale ne balyoka basala emigwa egy'eryato ne balireka okugenda. |
| 33 |
Awo bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna okulya ku mmere, ng'agamba nti Leero lunaku lwa kkumi na nnya ze mwakalindiririra nga musiiba mutalya kantu. |
| 34 |
Kyenva mbeegayirira okulya ku mmere: kubanga okwo kunaabalokola: kubanga tewaabule luviiri ku mitwe gyammwe n'omu. |
| 35 |
Bwe yamala okwogera bwatyo n'addira omugaati, ne yeebaliza Katonda mu maaso ga bonna n'agumenyamu n'atanula okulyako. |
| 36 |
Bonna ne baguma emyoyo, nabo ne balyako. |
| 37 |
Ne tuba fenna abaali mu kyombo emyoyo bikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga. |
| 38 |
Bwe baamala okukkuta emmere, ekyombo ne bakiwewula nga basuula eŋŋaano mu nnyanja. |
| 39 |
Bwe bwakya enkya, nga tebamanyi gye bali: naye ne balaba ekikono ekiriko omusenyu; ne bateesa, oba nga kiyinzika, okuseeza omwo ekyombo. |
| 40 |
Ne bakutula amasiika, ne bagaIeka mu nnyanja, mu kiseera ekyo bwe baasumulula emigwa egy'enkasi egoba, ne bawanika ettanga eri mu maaso eri empewo ne boolekera ku ttale. |
| 41 |
Naye bwe baatuuka mu kifo amayengo abiri we gaasisinkana, ne baseeza ekyombo; ensanda n'eseera n'enywera n'etanyeenya, naye ekiwenda ne kizibikuka n'amaanyi g'amayengo. |
| 42 |
Basserikale ne bateesa abasibe battibwe baleme okuwugirira okudduka. |
| 43 |
Naye omwami bwe yayagala okuwonya Pawulo, n'abaziyiza okukola kye bateesezza; n'alagira abaayinza okuwuga okwesuulamu basooke okutuuka ku ttale; |
| 44 |
n'abalala abaasigalawo, abamu ku mpero, n'abamu ku bintu by'ekyombo. Awo bwe batyo bonna ne batuuka ku ttale emirembe. |
| |
|