| |
| 1 |
Mukama n'agamba Musa nti |
| 2 |
Twala Alooni n'abaana be awamu naye, n'ebyambalo, n'amafuta ag'okufukako, n'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume zombi, n'ekibbo ekirimu amigaati egitazimbulukuswa; |
| 3 |
okunnaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. |
| 4 |
Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. |
| 5 |
Musa n'agamba ekibiina nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira okukola. |
| 6 |
Musa n'aleeta Alooni n'abaaaa be, n'abanaaza n'amazzi. |
| 7 |
N'amwambaza ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amwambaza omunagiro, n'amussaako ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olwo |
| 8 |
N'amussaako ekyokukifuba: ne mu kyokukifuba yateeka Ulimu ne Sumimu. |
| 9 |
N'amutikkira enkuufiira ku mutwe; ne ku nkuufiira, mu maaso gaayo, n'assaako ekipande ekya zaabu, engule entukuvu; nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 10 |
Musa n'addira amafuta ag'okufukako, n'agafuka ku weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza: |
| 11 |
N'amansirako ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu n'entobo yaakyo, okubitukuza. |
| 12 |
N'afuka ku mafuta ag'okufukako ku mutwe gwa Alooni, n'amufukako amafuta, okumutukuza. |
| 13 |
Musa n'aleeta abaana ba Alooni, n'abambaza ebizibawo, n'abasiba enkoba, n'abasibako ebiremba; nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 14 |
N'aleeta ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi. |
| 15 |
N'agitta: Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna n'engalo ye, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitukuza, okukitangirira. |
| 16 |
N'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekisenge eky'okuki bumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, Musa n'agookera ku kyoto |
| 17 |
Naye ente n'eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'obusa bwayo n'abyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira; nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 18 |
N'aleeta endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. |
| 19 |
N'agitta: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. |
| 20 |
N'asala mu ndiga ebitundu, byayo; Musa n'ayokya omutwe, n'ebitundu, n'amasavu. |
| 21 |
N'anaaza ebyenda n'amagulu n'amazzi Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto: yali kiweebwayo ekyokebwa' olw'evvumbe eddungi: yali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa: |
| 22 |
N'aleeta endiga ennume ey'okubiri, endiga ey'okwawula: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. |
| 23 |
N'agitta; Musa n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo, |
| 24 |
N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga ku musaayi ku nsonda y'okutu kwabwe okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono gwabwe I ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo:' Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. |
| 25 |
N'addira amasavu, n'omukira ogwa ssava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo: |
| 26 |
ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukuswa elryali mu maaso ga Mukama n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukuswa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo: |
| 27 |
n'ateeka byonna mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. |
| 28 |
Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa: byali bya kwawula olw'ewumbe eddungi: yali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. |
| 29 |
Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 30 |
Musa n'atoola ku mafuta ag'akufukako, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be awamu naye; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be awamu naye. |
| 31 |
Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti Mufumbire ennyama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagira nga njogera nti Alooni n'abaana be banaabiryanga. |
| 32 |
Era ekinafikkawo ku nnyama ne ku migaati munaakyokya n'omuliro. So temufulumanga mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe zirituukirira: kubanga alibaawulira ennaku musanvu. |
| 33 |
So temufulumanga mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe zirituukirira: kubanga alibaawulira ennaku musanvu. |
| 34 |
Nga bwe kikoleddwa leero, bw'aryo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira. |
| 35 |
Era ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanw emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa. |
| 36 |
Alooni n'abaana be ne bakola byonna Mukama bye yalagira mu mukono gwa Musa. |
| |
|