| |
| 1 |
Awo olunaatuukanga, bw'oo noonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okubikolanga, Mukama Katonda wo anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi: |
| 2 |
n'emikisa gino gyonna ginaakujjiranga ginaakutuukangako, bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo. |
| 3 |
Onoobanga n'omukisa mu kibuga, era onoobanga n'omukisa mu kyalo. |
| 4 |
Ekibala ky'omubiri gwo kinaabanga n'omukisa, n'ekibala ky'ettaka lyo, n'ekibala ky'ekisibo kyo, ezzadde ly'ente: zo n'abaana b'embuzi zo. |
| 5 |
Ekibbo kyo kinaabanga n'omukisa n'olutiba lwo olw'okugoyeramu. |
| 6 |
Onoobanga n'omukisa bw'onooyingiranga, era onoobanga n'omukisa bw'onoofulumanga: |
| 7 |
Mukama anaakubiranga mu maaso go abalabe bo abakugolokokerako: banaafulumanga okukutabaala mu kkubo limu, ne baddukanga mu maaso go mu makubo musanvu. |
| 8 |
Mukama anaalagiranga omukisa okuba ku ggwe mu mawanika go, ne mu byonna by'oteekako omukono gwo; era anaakuweeranga omukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa. |
| 9 |
Mukama anaakunywezanga okuba eggwanga ettukuvu eri ye, nga bwe yakulayirira; bw'onookwatanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo n'otambuliraaga mu makubo ge. |
| 10 |
Awo amawanga gonna ag'oku nsi ganaalabanga ag'otuumiddwa erinnya lya Mukama; ne gakutyanga: |
| 11 |
Era Mukama anaakugaggawazanga olw'ebirungi, mu bibala by'omubiri gwo ne mu bibala by'ensolo zo ne mu bibala by'ettaka lyo; mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo okukuwa. |
| 12 |
Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi eggulu okugaba enkuba y'ensi yo mu budde bwayo, n'okuwa omukisa omulimu gwonna ogw'omukono gwo: era onoowolanga amawanga mangi; so teweewalanga. |
| 13 |
Era Mukama anaakufuulanga omutwe so si mukira; era onoobanga wagguln wokka so si wansi; bw'otioowuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wo; bye nkukuutira leero, okubikwatanga n'okubikolanga; |
| 14 |
n'olema okukyamanga; okuva mu kigambo kyonna ku ebyo bye mbalagira leero, okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono, okugoberera bakatonda abalala okubaweereza: |
| 15 |
Naye olulituuka, bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n'amateeka ge bye nkulagira leero okubikola; ebikolimo bino byonna birikujjira, birikutuukako. |
| 16 |
Olikolimirwa mu kibuga, era olikolimirwa mu kyalo. |
| 17 |
Ekibbo kyo kirikolimirwa n'olutiba lwo olw'okugoyeramu. |
| 18 |
Ebibala by'omubiri gwo birikolimirwa, n'ebibala by'ettaka lyo, ezzadde ly'ente zo, n'abaana b'embuzi zo. |
| 19 |
Onookolimirwanga bw'onooyingiranga era onookolimirwanga bw'onoofulumanga. |
| 20 |
Mukama anaakusindikangako okukolimirwa n'okulemwa n'okunenyezebwa; mu byonna by'oteekako omukono gwo okukola, okutuusa lw'olizikirizibwa, n'okutuusa lw'olifaafaagana amangu; olw'obubi bw'ebikolwa byo ebyakunsengusa. |
| 21 |
Mukama anaakulwazanga kawumpuli yeegattenga naawe okutuusa lw'alikumalawo. okuva ku nsi, gy'oyingiramu okugirya |
| 22 |
Mukama anaakukubanga akakono, n'omusujja, n'okuzimba, n'okwokya okungi, n'ekitala, n'okwonooneka, n'okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw'olizikirira. |
| 23 |
N'eggulu lyo eriri waggulu ku mutwe gwo linaabanga kikomo, n'ettaka eriri wansi wo linaabanga kyuma. |
| 24 |
Mukama anaafuulanga enkuba ey'ensi yo okuba effufugge n'enfuufu: mu ggulu mwe nnaavanga okukka ku ggwe, okutuusa lw'olizikirizibwa. |
| 25 |
Mukama anaakukubanga mu maaso g'abalabe bo: onoofulumanga okubatabaala mu kkubo limu, era onoddukanga mu makubo musanvu mu maaso gaabwe: era onooyuuganyizibwanga eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi: |
| 26 |
N'omulambo gwo gunaabanga kya kulya kya nnyonyi zonna ez'omu bbanga, era kya nsolo ez'oku nsi, so tewaabengawo aliziguŋŋumula. |
| 27 |
Mukama anaskuleetangako ejjute ery'e Misiri, n'amabwa, n'olukonvuba n'obuwere ebitakuwonyezekako: |
| 28 |
Mukama anaakuleetangako eddalu n'obuzibe bw'amsaso n'okusamaalirira kw'omutima: |
| 29 |
era onoowammaatanga mu ttuntu, ng'omuzibe w'amaaso bw'awammantira mu kizikiza; so toolabenga mukisa mu makubo go: era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoonyagibwanga ennaku zonna, so tewaabengawo anaakulokola. |
| 30 |
Onooyogerezanga omukazi, n'omulala anaasulanga naye: onoozimbanga ennyumba, so toobeerenga omwo: onoosimbanga olusuku lw'emizabbibu, so toolyenga bibala byalwo. |
| 31 |
Ente yo enettirwanga mu maaso go, so toogiryengako: endogoyi yo eneenyagibwanga lwa maanyi mu maaso go, so teekuddizibwenga: endiga zo zinaagabirwanga abalabe bo, so toobengako anaakulokolanga. |
| 32 |
Batabani bo ne bawala bo banaagabirwanga eggwanga eddala, era amaaso go ganaatunuIanga ganaazibanga olw'okubeegomba okuzibya obudde: so tewaabengawo kiatu ekinaabanga mu buyinza bw'omukono gwo. |
| 33 |
Ebibala by'ettaka lyo, n'emirimu gyo gyonna, eggwanga ly'otomanyi liribirya; era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoobetentebwanga ennaku zonna: |
| 34 |
n'okulaluka n'olaluka olw'okulaba kw'amaaso go kw'onoolabanga. |
| 35 |
Mukama anaakulwazanga amaviivi n'amagulu ejjute ebbi, ly'otowonyezeka, okuva munda w'ekigere kyo okutuusa ku bwezinge bw'omutwe gwo. |
| 36 |
Mukama anaakuleetanga ggwe ne kabaka gw'oliyimusa okukufuga, eri eggwanga ly'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala, emiti n'amayinja. |
| 37 |
Era onoofuukanga ekyewuunyo, olugero, n'ekigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna Mukama gy’anaakutwalanga. |
| 38 |
Onoofulumyanga mu animiro ensigo nnyingi, onooyingizanga ntono; kubanga enzige eneegiryanga: |
| 39 |
Onoosimbanga ensuku z'emizabbibu n'ozirima, naye toonyweaga ku nvinnyo, yaamu newakubadde okukungula; kubanga akawuka kanaagiryanga. |
| 40 |
Onoobanga n'emizeyituuni mu nsalo zo zonna, naye toosaabenga mafuta Saag9o; kubaaga omuzeyituuni gwo gunaaku akumulanga ebibala byagwo. |
| 41 |
Olizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye tebaabenga babo; kubanga balitwalibwa mu busibe: |
| 42 |
Emiti gyo gyonna n'ebibala by'ettaka lyo eazige eneebiryanga. |
| 43 |
Munnaggwanga ali wakati mu ggwe aneeyongetayongeranga okulinnya waggulu okukusinga; naawe oneeyongerayongeranga okukka wansi. |
| 44 |
Anaakuwolanga; naawe toomuwolenga: anaabanga mutwe, naawe onoobanga mukira. |
| 45 |
Era ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga binaakugobereranga binaakutuukangako okutuusa lw'olizikirizibwa; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye n'amateeka ge bye yakulagira: |
| 46 |
era binaabanga lru ggwe okuba akabonero n'ekyewuunyo, ne ku zzadde lyo ennaku zonna: |
| 47 |
kubanga tewaweereza Mukama Katonda wo n'essanyu era n'omutima ogujaguza, olw'ebintu byonna okuba ebingi: |
| 48 |
kyonoovanga oweereza abalabe bo Mukama b'anaasindikanga okukulumba, ng'olumwa enjala n'ennyonta, era ng'oli bwereere, era ng'obulwa ebintu byonna: era anaateekaaga ekikoligo eky'ekyuma ku nkoto yo, okutuusa lw'alimala okukuzikiriza. |
| 49 |
Mukama alikuleetako eggwanga ng'ahggya wala mu nkomerero y'ensi, ng'empungu bw'ebuuka; eggwanga ly'otolitegeera lulimi lwalyo; |
| 50 |
eggwanga ery'obwenyi obukambwe, eritalitya maaso ga bakadde, so teririsaasira bato: |
| 51 |
anaalyanga ebibala by'ensolo zo, n'ebibala by'ettaka lyo, okutuusa lw'olizikirizibwa: era eritalikulekera Onaaw no, newakubadde envinnyo, newakubadde amafuta, ezzadde ly'ente zo, newakubadde abaana b'embuzi zo, okutuusa lw'alikuzikiriza: |
| 52 |
Era anaakuzingizanga mu miryango gyo gyonna, okutuusa enkomera zo empaavu eziriko ebigo ze weesiga lwe zirigwa mu nsi yo yonna: era alikuzingiza mu miryango gyo gyonaa wmu nsi yo yonna, Mukama Katonda wo gy'akuwadde: |
| 53 |
Era onoolyanga ebibala: by'omubiri gwo ggwe, ennyama y'abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala Mukama Katonda wo b'akuwadde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa abalabe bo kwe banaakuziyizanga; |
| 54 |
Omusajja omugonvu mu mmwe era omwenaanyi ennyo, eriiso lye linaabanga bbi eri mugaada we n'eri omukazi ow'omu kifuba kye, n'eri abaana be abasigadde abakyaliwo: |
| 55 |
n'obutawa n'atawa muntu yenna ku bo ku nnyama y'abaana be b'anaalyanga nga taliiko ekimusigalidde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa. omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo gyonna. |
| 56 |
Omukazi omugoavu mu mmwe era omwenaanyi, ataganya kulinnyisa. ku ttaka kigere kye olw'okwenaanya n'obugoavu, eriiso lye linaabanga bbi eri bba ow'omu kifuba kye, n'eri mutabani we, n'eri muwala we; |
| 57 |
n'eri omwana we omuto afuluma wakati w'ebigere bye, n'eri abaana be b'alizaala; kubanga anaabalyanga nkiso olw'okubulwa ebintu byonna: mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo. |
| 58 |
Bw'otookwatenga bigambo byonna eby'omu mateeka gano ebiwaiidiikiddwa mu kitabo kino okubikolanga, olyoke otyenga erinnya lino ery'ekitiibwa era ery'entiisa, Mukama Katonda wo; |
| 59 |
awo Mukama anaafuulanga ebibonyoobonyo eby'ekitalo, n'ebiboayoobonyo by'ezzadde lyo, ebibonyoobonyo ebinene era ebirwawo ennyo, era: endwadde enkambwe era ezirwawo ennyo. |
| 60 |
Era anaakuleetangako nate endwadde zonna ez'e Misiri ze watyanga; era zineegattanga naawe. |
| 61 |
Era na buli ndwadde na buli kibonyoobonyo ekitawandiikiddwa mu kitabo eky'amateeka gano, ebyo Mukama anaabikuleetangako, okutuusa lw'olizi kirizibwa. |
| 62 |
Era mulisigalawo omuwendo gwammwe nga mutono, newakubadde nga mwali ng'emmunyeenye ez'omu ggulu olw'obungi; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo. |
| 63 |
Awo olunaatuukanga Mukama nga bwe yabasanyukirako okubakola obulungi n'okubaaza; bw'atyo Mukama anaabasanyukirangako okubazikiriza n’okubafaafaaganya; era munaggibwangako okuva ku nsi gy'oyingira okugirya. |
| 64 |
Era Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna; okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'ensi; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala b'otomanyaaga ggwe newakubadde bajjajja bo, emiti n’amayinja. |
| 65 |
Era mu mawanga ago toliraba kwesiima kwonna, so n'ekigere kyo tekiibengako we kirinnya okuwummula: naye Mukama anaakuwanga omutima ogukankana, n'amaaso agaziba, n'emmeeme ekoozimba, |
| 66 |
n'obulamu bwo bunaabuusibwabuusibwanga mu maaso go; era onootyanga emisana n'ekiro, so toobengako kw'otegeerera obulamu bwo bwe bunaaba: |
| 67 |
enkya onooyogeranga nti Singa buwungedde! era akawungeezi onooyogeranga nti Singa bukedde! olw'okutya kw'omutima gwo kw'onootyanga, n'olw'okulaba kw'amaaso go kw'onoolabanga. |
| 68 |
Era Mukama alikuzza mu Misiri nate n'amaato, mu kkubo lye nnakugambako nti Toliriraba nate mulundi gwa kubiri: era eyo mulyetunda eri abalabe bammwe okuba abaddu n'abazaana, so tewaabengawo muntu anaabagulanga. |
| |
|