| |
|
|
| 1 |
Mwana wange, oba nga weeyimirira muliraanwa wo, N'okubira omugenyi mungalo, |
| 2 |
Ebigambo eby'omu kamwa ko bikukwasizza, Ebigambo eby'omu kamwa ko bikuteze. |
| 3 |
Kale nno, mwana wange, kola kino weerokole, Kubanga ogudde mu mukono gwa muliraanwa wo; Genda weetoowaze otayirire muliraanwa wo. |
| 4 |
Toganyanga maaso go kwebaka Newakubadde ebikowe byo okubongoota. |
| 5 |
Weerokole ng'empeewo bw'eva mu mukono gw'omuyizzi, Era ng'ennyonyi bw'eva mu mukono gw'omutezi. |
| 6 |
Genda eri enkolooto, ggwe omugayaavu; Lowooza empisa zaayo obeerenga n'amagezi: |
| 7 |
Eyo terina mwami, Newakubadde omulabirizi newakubadde afuga, |
| 8 |
Naye ne yeeterekera ebyayo ebyokulya mu biro eby'okukunguliramu, N'ekuŋŋaanya emmere yaayo mu mwaka. |
| 9 |
Naye ne yeeterekera ebyayo ebyokulya mu biro eby'okukunguliramu, N'ekuŋŋaanya emmere yaayo mu mwaka. |
| 10 |
Wakyaliwo okwebaka okutono n'okubongoota okutono, N'okufunya emikono okutono okwebaka: |
| 11 |
Bwe kityo obwavu bwo bulijja ng'omunyazi, N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa. |
| 12 |
Omuntu ataliiko ky'agasa, omusajja ow'obutali butuukirivu; Atambula ng'alina akamwa akabambaavu; |
| 13 |
Atemya amaaso, ayogeza bigere bye, Abagula n'engalo ze; |
| 14 |
Obubambaavu buli mu mutima gwe, asala obubi olutata; Asiga okukyawagana nga tamanyiridde; |
| 15 |
Ennaku z'aliraba kyeziriva zijja nga tamanyiridde; Amangu ago alimenyeka, awatali kuwonyezebwa. |
| 16 |
Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by'akyawa; Weewaawo, musanvu bya mu zizo gy'ali: |
| 17 |
Amaaso ag'amalala, olulimi olulimba, N'engalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango; |
| 18 |
Omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, Ebigere ebyanguwa embiro okugoberera ettima; |
| 19 |
Omujulirwa w'obulimba ayogera eby'obulimba, N'oyo asiga okukyawagana mu b'oluganda. |
| 20 |
Mwana wange, okwatanga ekiragiro kya kitaawo, So tolekanga tteeka lya nnyoko: |
| 21 |
Bisibenga ennaku zonna ku mutima gwo, Binywenga mu bulago bwo. |
| 22 |
Bw'onootambulanga, linaakukulemberanga; Bw'oneebakanga, linaakukuumanga: Era bw'onoozuukukanga, linaayogeranga naawe. |
| 23 |
Kubanga areeka ttabaaza; ekiragiro musana; N'okunenya kw'oyo akuyigiriza lye kkubo ery'obulamu: |
| 24 |
Okukuumanga eri omukazi omubi, Eri onyumiriza kw'olulimi lw'omugenyi. |
| 25 |
Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo; So n'ebikowe bye biremenga okukukwasa. |
| 26 |
Kubanga olw'omukazi omwenzi omuntu afuuka mmere bumere: N'omukazi omwenzi ayigga obulamu obw'omuwendo omungi. |
| 27 |
Omuntu ayima okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, Ebyambalo bye ne bitaggya? |
| 28 |
Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya, Ebigere bye ne bitasiriira? |
| 29 |
Bw'atyo bw'abeera ayingira eri omukazi wa munne; Buli amukomako talirema kubonerezebwa. |
| 30 |
Abantu tebanyooma mubbi oba ng'abba Okukkusa emmeeme ye ng'alumiddwa enjala: |
| 31 |
Naye bw'anaalabikanga, anaagattanga emirundi musanvu; Anaawangayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye. |
| 32 |
Ayenda ku mukazi talina kutegeera: Ayagala okuzikiriza obulamu bwe ye ye akola bw'atyo. |
| 33 |
Alifuna ebiwundu a'okunyoomebwa; N'ekivume kye tekirisaagulibwa. |
| 34 |
Kubanga obuggya kye kiruyi ky'omusajja; So talisaasira ku lunaku olw'okuwalanirako eggwanga. |
| 35 |
Talissaayo mwoyo eri ekinunulo kyoana; So tslinyiigulukuka newakubadde ng'owa ebirabo ebingi. |
| |
|