| |
|
|
| 1 |
Okutegeka omutima kugwanira muntu: Naye okwanukula kw'olulimi kuva eri Mukama. |
| 2 |
Amakubo gonna ag'omuntu gaba malongoofu mu maaso ge ye: Naye Mukama apima emyoyo. |
| 3 |
Emirimu gyo giterese Mukama, N'ebirowoozo byo binaanywezebwanga. |
| 4 |
Mukama yakolera buli kintu omulimu gwakyo: Weewaawo, era n'ababi yabakolera olunaku olw'okulabirako ennaku. |
| 5 |
Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, taliwona kubonerezebwa. |
| 6 |
Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu: Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi. |
| 7 |
Amakubo ag'omuntu bwe gasanyusa Mukama, Atabaganya naye era n'abalabe be. |
| 8 |
Akatono akaliko obutuukirivu Kakira amagoba mangi wamu n'ebitali bya nsonga. |
| 9 |
Omutima gw'omuntu guteesa ekkubo lye: Naye Mukama ye aluŋŋamya ebigere bye. |
| 10 |
Obulaguzi buba mu mimwa gya kabaka: Akamwa ke tekalisobya mu kusala omusango. |
| 11 |
Ebigera n'eminzaani ebituufu biba bya Mukama: Ebipima byonna eby'omu nsawo mulimu gwe. |
| 12 |
Okukola obubi kwa muzizo eri bakabaka: Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza entebe. |
| 13 |
Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyulura; Era baagala oyo ayogera eby'ensonga. |
| 14 |
Obusungu bwa kabaka babaka ba kufa: Naye omuntu ow'amagezi alibukkakkanya. |
| 15 |
Mu musana ogw'amaaso ga kabaka mwe muli obulamu; N'okuganza kwe kire kya mu ttoggo. |
| 16 |
Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu! Weewaawo, okufuna okutegeera kulondebwa okukira ffeeza. |
| 17 |
Olugendo olw'abagolokofu kuleka bubi: Akuuma ekkubo lye awonya emmeeme ye. |
| 18 |
Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo. |
| 19 |
Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agereka omunyago wamu n'ab'amalala. |
| 20 |
Assaayo omwoyo eri ekigambo anaalabanga ebiruagi: Era buli eyeesiga Mukama alina omukisa. |
| 21 |
Alina omutima ogw'amagezi banaamuyitanga mutegeevu: N'obuwoomerevu bw'emimwa bwongera okuyiga. |
| 22 |
Okutegeera luzzi lwa bulamu eri nnyini kwo: Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe bwe bubabuulirira. |
| 23 |
Omutima gw'ow'amagezi guyigiriza akamwa ke, Ne gwongera okuyiga ku mimwa gye. |
| 24 |
Ebigambo ebisanyusa bisenge bya njuki, Biwoomera emmeeme, era bwe bulamu eri amagumba. |
| 25 |
Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa. |
| 26 |
Omululu gw'omukozi gumukolera emirimu. Kubanga akamwa ke kamwegayirira. |
| 27 |
Omuntu ataliiko ky'agasa agunja ettima: Era mu mimwa gye mubaamu omuliro ogusonsomola. |
| 28 |
Omuntu omubambaavu asiga empaka: Era omulyolyomi akyayisa ab'omukwano ennyo. |
| 29 |
Omuntu ow'ekyejo asendasenda munne, N'amutwala mu kkubo eritali ddungi. |
| 30 |
Aziba amaaso, kwe kuteesa ebigambo eby'obubambaavu: Aluma emimwa atuuluriza obubi. |
| 31 |
Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa, Gunaalabikanga mu kkubo ery'obutuukirivu. |
| 32 |
Alwawo okusunguwala asinga ab'amaanyi; N'afuga omwoyo gwe akira amenya ekibuga. |
| 33 |
Akalulu kasuulibwa mu lugoye olw'omu kifuba; Naye okulagira kwako kwonna kuva eri Mukama. |
| |
|