| |
|
|
| 1 |
Bw'otuulanga ku mmere wamu n'omukungu, Olowoolezanga ddala oyo ali mu maaso go; |
| 2 |
Era weeteekenga akambe ku bulago bwo, Oba nga oli muntu muluvu. |
| 3 |
Teweegombanga nva ze ennungi; Kubanga bye byokulya eby'obulimba. |
| 4 |
Teweekooyanga okuba omugagga; Vanga ku magezi go ggwe. |
| 5 |
Oneekalirizanga amaaso ku ekyo ekitaliiwo? Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro, Ng'empungu ebuuka mu bbanga. |
| 6 |
Tolyanga mmere y'oyo alina eriiso ebbi, So teweegombanga nva ze nnungi: |
| 7 |
Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye, bw'ali bw'atyo: Lya, nywa, bw'akugamba; Naye omutima gwe teguli wamu naawe. |
| 8 |
Ennoga gy'olidde onoogisesema, N'ofiirwa ebigambo byo ebirungi. |
| 9 |
Toyogeranga omusirusiru ng'awulira; Kubanga anaanyooma amagezi ag'ebigambo byo. |
| 10 |
Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda; So toyingiranga mu nnimiro ez'abatalina bakitaabwe: |
| 11 |
Kubanga omununuzi waabwe wa maanyi; Anaawozanga ensonga yaabwe naawe. |
| 12 |
Ssangayo omutima gwo eri okuyigirizibwa, N'amatu go eri ebigambo eby'okumanya. |
| 13 |
Tolekanga kubuulirira omwana: Kubanga bw'onoomukubanga n'omuggo, talifa. |
| 14 |
Omukubanga n'omuggo, N'owonya emmeeme ye mu magombe. |
| 15 |
Mwana wange, omutima gwo oba nga gwa magezi, Omutima gwange gunaasanyuka, ogwange: |
| 16 |
Weewaawo, emmeeme yange eneesanyuka, Emimwa gyo bwe gyogera eby'ensonga. |
| 17 |
Omutima gwo gulemenga okukwatirwa obuggya abalina ebibi: Naye obeerenga mu kutya Mukama okuzibya obudde: |
| 18 |
Kubanga mazima empeera weeri; N'essuubi lyo teririmalibwawo. |
| 19 |
Mwana wange, wulira obeerenga n'amagezi, Oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo. |
| 20 |
Tobanga ku muwendo gw'abo abeekamirira omwenge; Mu abo abeevuubiika ennyama: |
| 21 |
Kubanga omutamiivu n'omuluvu balituuka mu bwavu N'okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina. |
| 22 |
Owuliranga kitaawo eyakuzaala, So tonyoomanga nnyoko ng'akaddiye. |
| 23 |
Gulanga amazima, so togatundanga; Weewaawo, amagezi n'okuyigirizibwa n'okutegeera. |
| 24 |
Kitaawe w'omutuukirivu anaasanyukanga nnyo: N'oyo azaala omwana ow'amagezi anaabanga n'essanyu. |
| 25 |
Kitaawo ne nnyoko basanyukenga, N'omukazi eyakuzaala ajaguzenga. |
| 26 |
Mwana wange, mpa omutima gwo, N'amaaso go gasanyukirenga amakubo gange. |
| 27 |
Kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu; N'omukazi omugenyi bunnya bwa kanyigo. |
| 28 |
Weewaawo; ateega ng'omunyazi, Era ayaza abasala enkwe mu bantu. |
| 29 |
Ani alaba obuyinike? ani alaba ennaku? ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? ani alina ebiwundu eby'obwereere? Ani amyusa amaaso? |
| 30 |
Abo abalwawo ku mwenge; Abo abagenda okunoonya omwenge omutabule. |
| 31 |
Totunuuliranga mwenge nga gumyuse, Bwe gwolesanga ebbala lyagwo mu kikompe, Bwe gukka empola: |
| 32 |
Enkomerero guluma ng'omusota, Gusonsomola ng'embalasaasa. |
| 33 |
Amaaso go galiraba eby'ekitalo, N'omutima gwo gulyogera ebigambo eby'obubambaavu. |
| 34 |
Weewaawo, oliba ng'oyo agalamira wakati mu nnyanja, Oba ng'oyo agalamira waggulu ku mulongooti. |
| 35 |
Bankubye, bw'olyogera bw'otyo, ne ssirumwa; Bankubye, ne ssiwulira: Ndyebaka ddi? naagunoonya nate omulundi ogw'okubiri. |
| |
|