| |
|
Abantu abaali mu busibe abaddayo mu Yerusaalemi |
| 1 |
Era bano be baana ab'omu ssaza, abaayambuka okuva mu busibe bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yatwala e Babulooni, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe; |
| 2 |
abajja ne Zerubbaberi, Yesuwa, Nekkemiya, Seraya, Leeraya, MoluddeIkaayi, Birusani, Misupaali, Biguvayi Lekumu, Baana. Omuwendo gw'abasajja b'abantu ba Isiraeri: |
| 3 |
abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri. |
| 4 |
Abaana ba Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri. |
| 5 |
Abaana ba Ala, lusanvu mu nsanvu mu bataano. |
| 6 |
Abaana ba Pakasumowaabu, ab'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi mu babiri. |
| 7 |
Abaana ba Eramu, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana. |
| 8 |
Abaana ba Zattu, lwenda mu ana mu bataano. |
| 9 |
Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga. |
| 10 |
Abaana ba Bani, lukaaga mu ana mu babiri. |
| 11 |
Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu basatu. |
| 12 |
Abaana ba Azugaadi, lukumi mu ebikumi bibiri mu abiri mu babiri. |
| 13 |
Abaana ba Adonikamu, lukaaga mu nltaaga mu mukaaga. |
| 14 |
Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu ataano mu mukaaga. |
| 15 |
Abaana ba Adini, ebikumi bina mu ataano mu bana. |
| 16 |
Abaana ba Ateri, aba Keezeekiya, kyenda mu munaana. |
| 17 |
Abaana ba Bezayi, ebikumi bisatu mu abiri mu basatu. |
| 18 |
Abaana ba Yola, kikumi mu kkumi mu babiri. |
| 19 |
Abaana ba Kasumu, ebikumi bibiri mu abiri mu basatu. |
| 20 |
Abaana ba Gibbali, kyenda mu bataano. |
| 21 |
Abaana ba Besirekemu, kikumi mu abiri mu basatu. |
| 22 |
Abasajja w’e Netofa, amakumi ataano mu mukaaga. |
| 23 |
Abasajja b'e Anasosi, kikumi mu abiri mu munaana. |
| 24 |
Abaana ba Azumavesi, amakumi ana mu babiri. |
| 25 |
Abaana ba Kiriaswalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu. |
| 26 |
Abaana ba Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu. |
| 27 |
Abasajja w'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri. |
| 28 |
Abasajja b'e Beseri ne Ayi, ebikumi bibiri mu abiri mu basatu. |
| 29 |
Abaana ba Nebo, amakumi ataano mu babiri. |
| 30 |
Abaana ba Magubisi, kikumi mu ataano mu mukaaga. |
| 31 |
Abaana ba Eramu omulala, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana. |
| 32 |
Abaana ba Kalimu, ebikumi bisatu mu abiri. |
| 33 |
Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu bataano. |
| 34 |
Abaana w'e Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano. |
| 35 |
Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lukaaga mu asatu. |
| 36 |
Bakabona: abaana ba Yedaya, ab'omu nnyumba ya Yesuwa, lwenda mu nsanvu mu basatu. |
| 37 |
Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri. |
| 38 |
Abaana ba Pasukuli, lukumi mu ebikumi bibiri mu ana mu musanvu. |
| 39 |
Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi mu musanvu. |
| 40 |
Abaleevi: abaana ba Yesuwa ne Kadumyeri, ab'oku baana ba Kodaviya, nsanvu mu bana. |
| 41 |
Abayimbi: abaana ba Asafu, kikumi mu abiri mu munaana. |
| 42 |
Abaana b'abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, bonna kikumi mu asatu mu mwenda. |
| 43 |
Abanesinimu: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi: |
| 44 |
abaana ba Kerosi, abaana ba Siyaka, abaana ba Padoni: |
| 45 |
abaana ba Lebana,abaana ba Kagaba, abaana ba Akkabu; |
| 46 |
abaana ba Kagabu, abaana ba Samulaayi, abaana ba Kanani; |
| 47 |
abaana ba Gidderi, abaana ba Gakali,abaana ba Leyaya; |
| 48 |
abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda, abaana ba Gazzamu; |
| 49 |
abaana ba Uzza, abaana ba Paseya, abaana ba Besayi; |
| 50 |
abaana ba Asuna,abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefisimu; |
| 51 |
abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli; |
| 52 |
abaana ba Bazulusi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa |
| 53 |
abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema; |
| 54 |
abaana ba Neziya, abaana ba Katifa. |
| 55 |
Abaana b'abaddu ba Sulemaani: abaana ba Sotayi, abaana ba Kassoferesi, abaana ba Peruda; |
| 56 |
abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi; |
| 57 |
abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Ami. |
| 58 |
Abanesinimu bonna n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri. |
| 59 |
Era bano be, baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddani n'e Immeri: naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe n'okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri: |
| 60 |
abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, abaana ba Nekoda, lukaaga mu ataano mu babiri. |
| 61 |
Ne ku baana ba bakabona: abaana ba Kabaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi eyawasa omukazi ku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa ng'erinnya lyabwe bwe lyali. |
| 62 |
Abo ne banoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne batalabika: kyebaava bababoola ne babagoba mu bwakabona. |
| 63 |
Tirusaasa n'abagamba balemenga okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa lwe walibaawo kabona alina Ulimu ne Sumimu. |
| 64 |
Ekibiina kyonna okugatta kyali obukumi buna mu enkumi bbiri mu ebikumi bisatu mu nkaaga, |
| 65 |
obutassaako baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe kasanvu mu ebikumi bisatu mu asatu mu musanvu: era baalina abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi ebikumi bibiri. |
| 66 |
Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga; ennyumbu zaabwe ebikumi bibiri mu ana mu ttaano; |
| 67 |
eŋŋamira zaabwe ebikumi bina mu asatu mu ttaano; endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri. |
| 68 |
Awo abamu ku mitwe gy'ennyuniba za bakitaabwe bwe bajja mu nnyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi ne bawaayo ku bwabwe olw'ennyumba ya Katonda okugisimba mu kifo kyayo: |
| 69 |
ne bawa ng'obuyinza bwabwe bwe bwali mu ggwanika ery'omulimu daliki obukumi mukaaga mu lukumi eza zaabu, ne laateri eza ffeeza enkumi ttaano, n'ebyambalo bya bakabona kikumi. |
70 |
Awo bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu n'abayimbi n'abaggazi n'Abanesinimu ne babeeranga mu bibuga byabwe ne Isiraeri yenna mu bibuga byabwe. |
| |
|