| 1 |
Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu ne Timoseewo ow'oluganda, eri Firemooni omwagalwa era mukozi munnaffe, |
| 2 |
ne Apofiya ow'oluganda ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n'ekkanisa eri mu nnyumba yo: |
| 3 |
ekisa n'emirembe ebiwa eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga gye muli. |
| 4 |
Nneebaza Katonda wange ennaku zonna, nga nkwogerako mu kusaba kwange, |
| 5 |
bwe nnawulira okwagala kwo n'okukkiriza kw'olina eri Mukama waffe Yesu n'eri abatukuvu bonna; |
| 6 |
okussa ekimu okw'okukkiriza kwo kulyoke kukolenga omulimu, mu kutegeerera ddala buli kigambo ekirungi ekiri mu mmwe, olwa Kristo. |
| 7 |
Kubanga nnajaguza nnyo ne nsanyuka olw'okwagala kwo, kubanga emyoyo gy'abatukuvu wabiwummuza, ow'oluganda. |
| 8 |
Kale, newakubadde nga nnina obuvumu bwonna mu Kristo okukulagira ekisaana, |
| 9 |
naye olw'okwagala nkwegayirira bwegayirizi, kuba nfaanana nga bwe ndi, Pawulo omukadde, era kaakano omusibe wa Kristo Yesu: |
| 10 |
nkwegayirira olw'omwana wange, gwe nnazaalira mu busibe bwange, Onnessimo, |
| 11 |
ataakugasanga edda, naye kaakano atugasa ggwe nange: |
| 12 |
gwe nkomyawo gy'oli yennyini, ye gwe mwoyo gwange: |
| 13 |
nze gwe mbadde njagala okubeera naye gye ndi, alyoke ampeerezenga mu kifo kyo mu busibe bw'enjiri: |
| 14 |
naye ssaayagala kukola kigambo nga toteesezza, obulungi bwo buleme okubeera mu kuwalirizibwa, wabula mu kwagala. |
| 15 |
Kubanga mpozzi kyeyava ayawukana naawe ekiseera, olyoke obeerenga naye emirembe n'emirembe; nga takyali muddu nate, naye okusinga omuddu, ow'oluganda omwagalwa, okusinga ennyo gye ndi, naye okusingira ddala eri ggwe mu mubiri era ne mu Mukama waffe. |
| 16 |
nga takyali muddu nate, naye okusinga omuddu, ow'oluganda omwagalwa, okusinga ennyo gye ndi, naye okusingira ddala eri ggwe mu mubiri era ne mu Mukama waffe. |
| 17 |
Kale oba ng'ondowooza nze okubeera munno, musembeze oyo nga nze. |
| 18 |
Naye oba nga yakwonoona oba abanjibwa, mbalira nze ekyo; |
| 19 |
nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange, nze ndisasula: nneme okukugamba nga nkubanja era naawe wekka nate. |
| 20 |
Kale, ow'oluganda, onsanyuse mu Mukama waffe: owummuze omwoyo gwange mu Kristo. |
| 21 |
Nkuwandiikidde nga nneesiga obugonvu bwo, nga mmanyi ng'olikola era okusinga bye njogera. |
| 22 |
Naye era nate onnongoosereze aw'okusula: kubanga nsuubira olw'okusaba kwammwe muliweebwa okundaba. |
| 23 |
Eyafula musibe munnange mu Kristo Yesu, akulamusizza; |
| 24 |
ne Makko, Alisutaluuko, Dema, Lukka, bakozi bannange. |
| 25 |
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe. Amiina. |
| |
|