Soma ku butabo bwe tulinawo

Obwandiikibwa Luganda Christian Services More Inf.

Omanyi ng'okusoma Engero ez'omu Baibuli ng'ogoberera ebijulizibwa mu Baibuli kikuyamba nnyo okwongera okutegeera Baibuli era n'ofunamu ekyokuyiga mu bwangu?

Kyangu nnyo okusoma Baibuli yo singa oba weewaddeyo buli lunaku, nkikakasa nga buli muntu asobola okusoma esuula emu oba ebbiri buli lunaku mu Baibuli, oba okusingawo ng'ate tekikutwalidde bbanga ddene. Kati kola bw'oti, taandika n'akatabo kamu ng'osoma olugero lumu, soma ebijuliza mu Baibuli, oluvannyuma obabuuze bye bawulidde era ne kye bayize, mukubaganye ebirowoozo mu bye basomye. Longosa olugendo lwo ng'okyali mulamu, kuba nga bwe tusoma mu Zabuli ya Dawudi 6:5, tewali atendereza Mukama ng'ali mu magombe. Soma ku bulamu bwa Ibulaayimu jjajja w'abakkiriza eyaleka byonna n'agenda mu nsi gye yali tamanyi n'aleka abantu be n'agondera eddoboozi lya Mukama. Tukimanyi ffena ng'abakiriza, nga tewali kkubo ddala liritutuusa mu bwakabaka bwa mu ggulu, wabula nga tukola ebyo Mukama by'ayagala. Ate nga tewali wetuyinza kufuna bulokozi wabula mu kunyikira okusoma Baibuli, tewali kitabo kirala kitubuulira ngeri gye tuyinza kukola Mukama by'ayagala wabula Ekitabo Ekisinga byonna. Ebitabo by'engero z'omu Baibuli birungi okuyigiriza abaana abato okubisoma era n'okubayigiriza okunyikiranga okusaba buli lunaku enkya n'eggulo, era ne mu buli kifo kyonna, Matayo ........

Kati kiki kyewetaaga okukola? kuηaanya ab'omu maka go, osookere ku katabo k'Engero ez'omu Baibuli ekitundu ekistooka, ozeeko ekitundu ekyokubiri n'ekyokusatu.

Soma ne ku butabo bwaffe obulala anti nabwo ekigendererwa kye kimu. Soma ku katabo k'Olugendo lw'Omutambuze-Mukristaayo. Laba engeri gye yayita mu bizibu ebingi ennyo, naye ng'amaliridde mu lugendo lwe era oluvannyuma yatuuka mu nsi gye yali ayagala. Ekikulwisa ki? Tandika leero. Tewali kiseera kisinga leero, weweeyo eri Mukama soma ku bulamu bw'abantu abali mu nsi muno era, ababonabona mu bulamu nga ggwe, kyokka ne batazirika mu mwoyo, baaguma era ne bawangula Tewali kitasoboka, weweeyo olwa leero mmanyi nga Setaani ajja kukuteganya nnyo n'okusinga ne bwewali nga tonaba kwewaayo naye gumiikiriza era agumikiriza atuuka kubuwanguzi II Tim. 2:11. Anti mu kwesiga Mukama mwe mwokka omuli obuwanguzi obusinga byonna. Obulamu bw'omu nsi bwa kiseera kitono, buggwaawo, naye tulinayo ensi empya, oluvanyuma lw'okutegana n'obulamu buno, mu nsi omuli okuwummula era n'emirembe.

Kaakati kiki ky'otegese okusobola okuweereza Mukama nga Abatume abaaleka byonna ne bewaayo okumuweereza awamu n'Omutukuvu Pawulo eyakkiriza okusibibwa era n'aguma wakiri okuttibwa, naye nga teyegaanyi Oyo gwe yakkiriza. nyikira okusoma Baibuli n'ebitabo ebiringa ebyo. Laba Omwana Yesu bwe yaleka ekitiibwa kye n'ajja okutununula! Mwesige empeerayo teri mu nsi eno, wabula mw'eyo egenda okujja.

Kirowoozeko, Abatume baasibibwa, baakubibwa, era n'abamu ne battibwa, naye ddala singa kye baali bagoberera tekyali kyabwesigwa lwaki tebamwegaana? Mu bitabo bino mulimu ebifaananyi ebijja okusikiriza abaana abato okubayigiriza engero zino - ggwe beera eky'okulabirako gye bali, nabo bakule nga bamanyi Omulokozi kye yatukolera. Tewali mwonoonyi alema Mukama kumulongoosa kuba era atugamba nti, ebibi byaffe ne bwe binabeera ng'omusaayi binatukula ng'omuzira Isaaya 1:18. Weweeyo n'abomu makago leero mulabe Mukama by'anabakolera, empeera eyaffe teri wano mu nsi, naye eterekeddwa mu ggulu.

KATI KOLA BW'OTI, BULI LUNAKU AKAWUNGEEZI NGA MUMAZE OKUNYWA KACAAYI K'AKAWUNGEEZI, AWO NGA TEMUNALYA KYAGGULO, TUUZA AB'OMU MAKAGO MUSOME EKIMU KU BITABO BINO, NAYE TEMWERABIRA OKUSOMA EBIJULIZA MU BAIBULI AWAMU N'EBIBUUZO KU NKOMERERO Y'EKITABO.

Ebitabo bino bya wandiikibwa okusobola okubunya Ekigambo kya Katonda mu buli maka gabuli muntu yenna, anaaba akwatiddwako Omwoyo Omutukuvu.

Kyalira ne ku bifo byaffe ebirala.

BACK TO TOP

Next
PROCEED TO....   Bible Quiz Vault
BACK....   Home Page