| |
| 1 |
Zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga butuukirivu, n'abawandiisi abawandiika obukyamu: |
| 2 |
okugoba abanaku baleme okusalirwa omusango, n'okubanyagako ebyabwe abaavu ab'omu bantu bange, bannamwandu babeere munyago gwabwe, era abafiiriddwa bakitaabwe babafuule omuyiggo gwabwe. |
| 3 |
Era mulikola mutya ku nnaku olw'okujjirwa, ne mu kuziirizibwa okuliva ewala? mulidduira eri ani okubeerwa? era mulireka wa ekitiibwa kyammwe? |
| 4 |
Balikutama bukutami wansi w'abasibe, era baligwa wansi w'abattiddwa. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa. |
| 5 |
Ggwe Omwasuli, oluga olw'ousungu bwange, omuggo oguli mu igalo zo kye kiruyi kyange! |
| 6 |
Ndinutuma okulumba eggwanga erivoola, era ndimulagira ku bantu baliko obusungu bwange, okunyaga omunyago, n'okunyaga omuyiggo, n’okubalinnyirira wansi ng'ebitoomi by'omu nguudo. |
| 7 |
Naye tagenderera kukola bw'atyo, so n'omutima gwe tegulowooza bwe gutyo; naye kiri mu mutima gwe okuzikiiza, n'okumalawo amawanga si matono. |
| 8 |
Kubanga ayogera nti Abakulu bange bonna si bakabaka? |
| 9 |
Kalino tekifaanana Kalukemisi? Kamasi tekifaanana Alupadi? Saaaliya tekifaanana Ddamasiko? |
| 10 |
Ng'omukono gwange bwe gwatuuka ku nsi za bakabaka ezisinza ebifaananyi, ezaalina ebifaananyi ebibajje ebyasinga ebyo ebiri mu Yerusaalemi ne mu Samaliya; |
| 11 |
nga bwe nnakola Samaliya ne sanamu zaakyo, sirikola bwe ntyo Yerusaalemi ne sanamu zaakyo? |
| 12 |
Kyekiriva kituuka, Mukama bw'aliba ng'amalidde ddala omulimu gwe gwonna ku lusozi Sayuuni ne ku Yerusaalemi, me ndyoka mbonereza ebibala by'omutima omukakanyavu ogwa kabaka w’e Bwasuli, n'amalala g'amaaso ge amagulumivu. |
| 13 |
Kubanga yayogera nti Olw'amaanyi g'omukono gwange nakikola, n'olw'amagezi gange; kubanga ndi mukabakaba: era najjulula ensalo ez'amawanga, ne nnyaga obugagga bwabwe, ne ntoowaza ng'omusajja omuzira abo abatuula ku ntebe: |
| 14 |
era omukono gwange guvumbudde obugagga obw'amawanga ng'ekisu; era ng'omuntu bw'akuŋŋaanya amagi amazire, bwe ntyo bwe naakuŋŋaanyanga ensi zonna: so tewali eyayanjuluza ekiwaawaatiro, newakubadde eyayasamya akamwa, newakubadde eyakaaba. |
| 15 |
Embazzi eryenyumiriza eri oyo agitemya? omusumeeno gulyekuza eri oyo agunyeenya? kwenkana oluga nga lunyeenyezza abo abalulonda, oba omuggo nga gusitudde atali muti. |
| 16 |
Mukama, Mukama ow'eggye, kyaliva aweereza obukovvu mu basajja be abagevvu; era wansi w'ekitiibwa kye we alikolera okwokya ng'okwokya kw'omuliro. |
| 17 |
N'omusana gwa Isiraeri guliba mu kifo ky'omuliro, n'Omutukuvu we aliba mu kifo ky'okwaka: kale gulyokya gulimalawo amaggwa ge n'emyeramannyo gye ku lunaku lumu. |
| 18 |
Era alimalawo ekitiibwa ky'ekibira kye, n'eky'ennimiro ye engimu, obulamu era n'omubiri: kale kiriba ng'omukwasi w'ebendera bw'azirika. |
| 19 |
N'emiti egy'omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono, omwana omuto n'okuyinza n'ayinza okugiwandiika. |
| 20 |
Awo olulituuka ku Iunaku luli, abaliba nga bafisseewo ku Isiraeri, n'abo abaliba nga bawonye ku nnyumba ya Yakobo, nga tebakyesigama nate ku oyo eyabakuba: naye balyesigama ku Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri, mu mazima. |
| 21 |
Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekirifikkawo ku Yakobo, eri Katonda ow'amaanyi. |
| 22 |
Kubanga abantu bo Isiraeri newakubadde nga baliba ng'omusenyu ogw'ennyanja, kitundu butundu ekirifikkawo ku bo kye kirikomawo: okutuukiriza kwateesebwa, okusukkirira n'omusango ogw'ensonga. |
| 23 |
Kubanga okukomekkereza, era okwateesebwa, Mukama, Mukama ow'eggye kw'alikola wakati mu nsi yonna. |
| 24 |
Kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye nti Mmwe abantu bange abatuula mu Sayuuni, temutyanga Asuli: newakubadde ng'akukuba n'oluga, n'akugalulira omuggo gwe, ng'empisa y'e Misiri bw'eri. |
| 25 |
Kubanga akaseera kakyali katono nnyo, okunyiiga kulyoke kutuukirizibwe n'obusungu bwange mu kuzikirisa kwabwe. |
| 26 |
Awo Mukama ow'eggye alimuleetako ekibonoobono, nga bwe byali Midiyaani bwe yattirwa awali olwazi lwa Olebu: n'oluga lwe luliba ku nnyanja, era alirugalula ng'empisa y'e Misiri bw'eri. |
| 27 |
Awo olulituuka ku lunaku luli, omugugu gwe guliva ku kibegabega kyo, n'ekikoligo kye mu bulago bwo, n'ekikoligo kirizikirizibwa olw'okufukibwako amafuta. |
| 28 |
Atuuse e Yayasi, ayise mu Miguloni; e Mikumasi gy'aterekera emigugu gye: |
| 29 |
bavvuunuse awavvuunukirwa; basuze e Geba: Laama akankana; Gibeya wa Sawulo adduse. |
| 30 |
Yogerera waggulu n'eddoboozi lyo, ggwe muwala wa Gallimu! wulira, ggwe Layisa! Ggwe Anasosi asaasirwa! |
| 31 |
Madumena mudduse; abatuula mu Gebimu beekuŋŋaanya okudduka. |
| 32 |
Ku lunaku luno olwa leero anaasula Enobu: omukono gwe agugalulira olusozi lwa muwala wa Sayuuni, olusozi lwa Yerusaalemi. |
| 33 |
Laba, Mukama, Mukama ow'eggye, alitema amatabi n'entiisa n'abawanvu abawagguufu balitemerwa ddala, n'abagulumivu balikka kkanyizibwa. |
| 34 |
Era alimalawo n'ekyuma ebisaka eby'omu kibira, ne Lebanooni aligwa olw'ow'amaanyi. |
| |
|