| |
|
|
| 1 |
Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza engoye ze n'ayambala ebibukutu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama. |
| 2 |
N'atuma Eriyakimu eyali omukulu w'enayumba ne Sebuna omuwandiisi n'abakadde ab'oku bakabona, nga bambadde ebibukutu, eri Isaaya nabbi mutabani wa Amozi. |
| 3 |
Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kunenyezebwamu era lwa kuvumirwamu: kubanga abaana batuuse okuzaalwa, so tewali maanyi ga kuzaala. |
| 4 |
Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake, kabaka w'e Bwasuli mukama we gw'atumye okuvuma Katonda omulamu, n'anenya ebigambo Mukama Katonda wo by'awulidde: kale yimusiza okusaba kwo ekitundu ekifisseewo. |
| 5 |
Awo abaddu ba kabaka Keezeekiya ne bajja eri Isaaya. |
| 6 |
Isaaya n'abagamba nti Bwe mutyo bwe munaagamba mukama wammwe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye. |
| 7 |
Laba, ndimuteekako omuzimu, naye aliwulira olugambo n'addayo mu nsi ye; era ndimusuula n'ekitala mu nsi ye ye. |
| 8 |
Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde nga yasitula e Lakisi. |
| 9 |
N'awulira nga boogera ebya Tiraka kabaka w'e Kuusi, nti Atabadde okulwana naawe. Awo bwe yakiwulira n'atuma ababaka eri Keezeekiya ng'ayogera nti |
| 10 |
Bwe mutyo bwe muligamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nga mwogera nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli. |
| 11 |
Laba, owulidde bakabaka w'e Bwasuli bye baakolanga ensi zonna, nga bazizikiririza ddala: naawe oliwonyezebwa? |
| 12 |
Bakatonda ab'amawanga baagawdnya, bakitange ge baazikiriza, Gozani ne Kalani ne Lezefu n'abaana ba Edeni abaabanga mu Terasali? |
| 13 |
Ali ludda wa kabaka w'e Kamasi ne kabaka w'e Alupadi ne kabaka w'ekibuga Sefavayimu ow'e Keena ne Yiva? |
| 14 |
Keezeekiya n'atoola ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: Keezeeluya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama n'agyanjululiza mu maaso ga Mukama. |
| 15 |
Keezeekiya ne yeegayirira Mukama ng'ayoge nti |
| 16 |
Ai Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, wa bwakabaka bwonna obw'omu nsi; ggwe wakola eggulu n'ensi. |
| 17 |
Tega okutu kwo, ai Mukama, owulire; zibula amaaso go, ai Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu, by'atumye okuvuma Katonda omulamu. |
| 18 |
Mazima, Mukama, bakabaka w’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n'ensi yaabwe, |
| 19 |
ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo za bantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. |
| 20 |
Kale nno kaakano, ai Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwe, obwakabaka bwonna obw'omu nsi butegeere nga ggwe Mukama, ggwe wekka. |
| 21 |
Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga onneegayiridde ebya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, |
| 22 |
kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye: Omuwala wa Sayuuni atamaayi musajja akunyoomye era akugadizza; omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe. |
| 23 |
Ani gw'ovumye gw'ovodde? era ani gw'oyimusirizzaako eddoboozilyo n'olalama amaaso go waggulu? ku Mutukuvu wa Isiraeri. |
| 24 |
Oyimye mu baddu bo okuvuma Mukama n'oyogera nti N'amagaali gange amangi nnyambuse ku ntikko y'olusozi, ntuuse mu njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditemera ddala emivule gyako emiwanvu, n'enfugo zaako ezisinga obulungi: era ndituuka ku lusozi lwako olukomererayo, ekibira eky'ennimiro ye eŋŋimu. |
| 25 |
Nsimye era nnywedde amazzi, era ndikaliza emigga gyonna egy'e Misiri n'ebigere byange: |
| 26 |
Towuliranga bwe nnakikola edda ennyo ne nkibumba okuva ebiro eby'edda? kaakano nkituukirizza ggwe okubeera omuzikiriza w'ebibuga ebiriko enkomera obifuule ebifunvu eby'e byagwa: |
| 27 |
Abaabituulangamu kyebaava babeera ab'amaanyi amatono, baatekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng'essubi ery'omu nnimiro era ng'omuddo omubisi, ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba, era ag'omusiri gw'eŋŋaano nga tennakula. |
| 28 |
Naye mmanyi bw'otuula era bw'ofuluma era bw'oyingira era bw'onneesalirako akajegere. |
| 29 |
Kubanga onneesalirako akajegere era kubanga ettitimbuli lyo lirinnye mu matu gange, kyeadiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, era ndikuzzaayo mu kkubo lye wajjiramu. |
| 30 |
Era kano ke kaliba. akabonero gy'oli: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogw'okubiri ekyo kye gumera; ne mu mwaka ogw'okusatu musiganga mukungulanga musimbanga ensuku z'emizabbibu mulyanga ebibala byamu. |
| 31 |
N'ekitundu ekifisseewo ekiwonye ku nayumba ya Yuda balisimba emmizi wansi ne babala ebibala waggulu. |
| 32 |
Kubanga mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo, ne ku lusozi Sayuuni abo abaliwona: obuggya bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo. |
| 33 |
Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti Talituuka ku kibuga kino, so talirasaayo kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumako kifunvu. |
| 34 |
Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka ku kibuga kino, bw'ayogera Mukama. |
| 35 |
Kubanga ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze era ne ku bw'omuddu wange Dawudi. |
| 36 |
Awo malayika wa Mukama n'afuluma n'atta mu lusiisira olw'Abaasuli kasiriivu mu obukumi munaana mu enkumi ttaano: abantu bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, bonna baali mirambo gya bafu. |
| 37 |
Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n'avaayo n'agenda n'addayo, n'abeera e Nineeve. |
| 38 |
Awo olwatuuka bwe yali ng'asinziza mu kiggwa kya Nisuloki katonda we, Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n'ekitala: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n'amuddira mu bigere. |
| |
|