| |
|
|
| 1 |
Mugambe baganda bammwe nti Ami; era mugambe bannyammwe nti Lukama. |
| 2 |
Muwoze ne nnyammwe, muwoze: kubanga si mukazi wange, so nange siri bba: era aggyewo obwenzi bwe okuva mu maaso ge, n'obukaba bwe okuva wakati w'amabeere ge; |
| 3 |
nneme okumwambulira ddala, ne mmuteekawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalirwa, ne mmufuula ng'eddungu, ne mmuteekawo ng'ensi enkalu, ne mmussa ennyonta; |
| 4 |
weewaawo, abaana be siribasaasira; kubanga baana ba bwenzi. |
| 5 |
Kubanga nnyaabwe yeefuula omwenzi: eyabazaala yawemuka: kubanga yayogera nti Ndigoberera baganzi bange abampa emmere yange n'amazzi gange, ebyoya byange n'obugoogwa bwange, amafuta gange n'ebyange ebyokunywa. |
| 6 |
Kale, laba, ndiziba ekkubo lyo n'amaggwa, era ndimukomera olukomera aleme okulaba empitiro ze. |
| 7 |
Era aligoberera baganzi be, naye talibatuukako; era alibanoonya, naye talibalaba; kale n'alyoka ayogera nti Naagenda ne nzirayo eri baze eyasooka; kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi okusinga kaakano. |
| 8 |
Kubanga teyamanya nga nze namuwanga eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, ne mmwongerako ffeeza ne zaabu bye baaweerezesa Baali. |
| 9 |
Kyendiva nkomyawo entlaano yange mu ntuuko zaayo, n'omwenge gwange mu kiseera kyagwo, ne nziyawo ebyoya byange n'obugoogwa bwange, ebyandibisse ku nsonyi ze. |
| 10 |
Awo kaakano naayolesa obukaba bwe baganzi be nga balaba, so tewaliba alimuwonya mu mukono gwange. |
| 11 |
Era ndikomya ebinyumu bye byonna, embaga ze, emyezi gye egyakaboneka, ne ssabbiiti ze, n'okukuŋŋaana kwe kwonna okutukuvu. |
| 12 |
Era ndizisa emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti Gino ye mpeera yange baganzi bange gye bampadde: era ndigifuula ekibira, n'ensolo ez'omu nsiko zirigirya. |
| 13 |
Era ndimubonereza olw'ennaku za Babaali be yayoterezanga obubaane; bwe yeeyonja n'empeta ze ez'omu matu n'eby'obuyonjo bwe n'agoberera baganzi be, ne yeerabira nze, bw'ayo gera Mukama. |
| 14 |
Kale, laba, ndimusendasenda, ne mmuleeta mu ddungu, ne mmugamba ebigambo ebisanyusa. |
| 15 |
Era ndimuwa ensuku ze ez'emizabbibu nga nnyima eyo, n'ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw'okusuubira: era aliyima eyo okuddamu nga mu nnaku ez'obuto bwe, era nga mu nnaku lwe yalinnya okuva mu nsi y'e Misiri. |
| 16 |
Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, olimpita Isi; so tokyampita Baali. |
| 17 |
Kubanga ndiggya mu kamwa ke amannya ga Babaali, era nga tebakyayatulwa amannya gaabwe. |
| 18 |
Awo ku lunaku olwo ndibalagaanira, endagaano n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga n'ebintu eby'ettaka ebyewalula: era ndimenya omutego n'ekitala n'olutalo okuva mu nsi, era ndibagalamiza mirembe. |
| 19 |
Era ndikwogerereza ennaku zonna; weewaawo, ndikwogereza mu butuukirivu ne mu musango ne mu kisa ne mu kusaasira. |
| 20 |
Ndikwogereza mu bwesigwa: era olimanya Mukama. |
| 21 |
Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiyitaba, bw'ayogera Mukama, ndiyitaba eggulu, nalyo liriyitaba ensi; |
| 22 |
n'ensi eriyitaba entpano n'omwenge n'amafuta; nabyo biriyitaba Yezuleeri. |
| 23 |
Era ndimusiga gye ndi mu nsi; era ndisaasira oyo ataasaasirwa; era ndigamba abo abataali bantu bange nti Mmwe muli bantu bange; nabo balyogera nti Ggwe oli Katonda wange. |
| |
|