| |
|
|
| 1 |
Tosanyuka, ai Isiraeri, n'essanyu ng'amawanga; kubanga ogenze ng'oyenda okuva ku Katonda wo, weegomba empeera ku buli gguuliro. |
| 2 |
Egguuliro n'essogolero tebiribaliisa, n'omwenge omusu gulimuggwaako. |
| 3 |
Tebalibeera mu nsi ya Mukama; naye Efulayimu aliddayo mu Misiri, era baliriira mu Bwasuli emmere eteri nnongoofu. |
| 4 |
Tebalifuka ebiweebwayo eby'omwenge eri Mukama, so talibasanyukira: ssaddaaka zaabwe ziriba gye bali ng'emmere y'abakungubazi; bonna abanaagiryangako baliba boonoonese: kubanga emmere yaabwe eriba ya kukkutibwa bukkutibwa; teriyingira mu nnyumba ya Mukama. |
| 5 |
Mulikola ki ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu, ne ku lunaku olw'embaga ya Mukama? |
| 6 |
Kubanga, laba, bagenze okuva awali okuzikirira, era naye Misiri alibakuŋŋaanya, Menfisi alibaziika: ebintu byabwe ebya ffeeza ebisanyusa emyennyango giribyemala: amaggwa galiba mu weema zaabwe. |
| 7 |
Ennaku ez'okubonererezaamu zituuse, ennaku ez'okusasuliramu zituuse; Isiraeri alikimanya: nnabbi musirusiru, omusajja alina omwoyo alaluse, olw'olufulube lw'obutali butuukirivu bwo, era okubanga obulabe bungi. |
| 8 |
Efulayimu yabanga mukuumi eri Katonda wange: nnabbi, ekyambika eky'omutezi w'ennyonyi kiri mu makubo ge gonna, n'obulabe mu nnyumba ya Katonda we. |
| 9 |
Beeyonoonye nnyo nnyini nga mu nnaku ez'e Gibeya: alijjukira obutali butuukirivu bwabwe, alibabonereza olw'ebibi byabwe. |
| 10 |
Nasanga Isiraeri ng'ezabbibu mu ddungu; nalaba bajjajjammwe ng'esooka okwengera ku mutiini mu mwaka gwagwo ogw'olubereberye: naye ne bajja e Baalipyoli, ne beeyawulira ekyo ekikwasa ensonyi, ne bafuuka ab'emizizo ng'ekyo kye bayagala. |
| 11 |
Efulayimu ekitiibwa kyabwe kiribuuka; kirigenda ng'ennyonyi: tewaliba kuzaala newakubadde ali olubuto newakubadde eggwako. |
| 12 |
Newakubadde nga balera abaana baabwe; era naye ndibafiisiza, ne wataba muntu asigaddewo: weewaawo, era ziribasanga bwe ndibavaako. |
| 13 |
Efulayimu asimbibwa mu kifo eky'okwesiima, nga bwe nnalaba Ttuulo: naye Efulayimu alifulumya abaana be eri omussi. |
| 14 |
Bawe, ai Mukama: oliwa ki? bawe olubuto olutaasa n'amabeere amakalu. |
| 15 |
Obubi bwabwe bwonna buli mi Girugaali; kubanga eyo gye nnaba. kyayira: olw'obubi obw'ebikolwa byabwe ndibagoba mu nnyumba yange: siribaagala nate; abakungu baabwe bonna bajeemu. |
| 16 |
Efulayimu afumitiddwa, ekikolo kyabwe kikaze, tebalibala bibala: weewaawo newakubadde nga bazaala, era naye nditta ekibala eky'olubuto lwabwe ekyagalwa. |
| 17 |
Katonda wange ali basuula kubanga tebaamuwulira: en baliba mmomboze mu mawanga. |
| |
|