|
Ebaaluwa eri Teefiro |
| 1 |
Bwe baali abangi abaatandika okuwandiika amakulu g'ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe, |
| 2 |
nga bwe baabitubuulira, abo abaasooka okuva ku lubereberye okuba abajulirwa era abaweereza b'ekigambo, |
| 3 |
awo bwe nnaliraanyiza ddala byonna okuva ku lubereberye, era nange nnalaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe, Teefiro omulungi ennyo, nga bwe byaliraana; |
| 4 |
olyoke omanye amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa. |
|
Okuzaalibwa kwa Yokaana kutegeezebwa Zakkaliya |
| 5 |
Awo mu mirembe gya Kerode, kabaka We Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zaakaliya, wa mu lulyo lwa Abiya: era yalina omukazi ow'omu bawala ba Alooni, erinnya lye Erisabesi. |
| 6 |
N'abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonna ne mu by'obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi. |
| 7 |
So tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba, mabo bombi baali bakaddiye mu myaka gyabwe. |
| 8 |
Awo olwatuuka, bwe yali ng'akola omulimu ogw'obwa kabona mu maaso ga Katonda ng'oluwalo lwe bwe lwaliraana, |
| 9 |
awo akalulu ne kamugwako ng'empisa ez'obwa kabona bwe zaali okuyingira mu yeekaalu ya Mukama okwoteza obubaane. |
| 10 |
Awo ekibiina kyonna eky'abantu kyali nga kisabira bweru mu kiseera eky'okwoterezaamu. |
| 11 |
Awo malayika wa Mukama n'amulabikira ng'ayimiridde ku luuyi olwa ddyo olw'ekyoto eky'okwoterezaako. |
| 12 |
Awo Zaakaliya bwe yamulaba ne yeeraliikirira, n'atya. |
| 13 |
Naye malayika n'amugamba nti Totya, Zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, mukazi wo Erisabesi alikuzaalira omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yokaana. |
| 14 |
Olisanyuka, era olijaguza, era bangi abalisanyukira, okuzaalibwa kwe. |
| 15 |
Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama, so talinywa mwenge newakubadde ekitamiiza; era alijjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, okuva mu lubuto lwa nnyina. |
| 16 |
Era bangi mu baana ba Isiraeri alibakomyawo eri Mukama Katonda waabwe. |
| 17 |
Alikulembera mu maaso ge: mu mwoyo n'amaanyi ga Eriya okukomyawo emitima gya bajjajja eri abaana, n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu abateekebwateekebwa. |
| 18 |
Awo Zaakaliya n'agamba malayika nti Nnaakimanya ntya ekyo? kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange akaddiye mu myaka gye. |
| 19 |
Awo malayika n'addamu n'amugamba nti Nze Gabulyeri, ayimirira mu maaso ga Katonda; era nnatumibwa okwogera naawe n'okukubuulira ebigambo ebyo ebirungi. |
| 20 |
Kale, laba, olisirika era nga toyinza kwogera, okutuusa ku lunaku lwe biribaawo ebyo, kubanga tokkirizza bigambo byange, ebirituukirizibwa muntuuko zaabyo. |
| 21 |
Awo abantu baali balindirira Zaakaliya, ne beewuunya bw'aludde mu yeekaalu. |
| 22 |
Awo bwe yafuluma n'atayinza kwogera nabo: ne bategeera nti alabye okwolesebwa mu yeekaalu: n'alwawo ng'abawenya n'omukono ng'akyasiruwadde. |
| 23 |
Awo olwatuuka, ennaku ez'okuweereza kwe bwe zaggwaayo, n'addayo eka ewuwe. |
| 24 |
Awo ennaku ezo bwe zaayitawo mukazi we Erisabesi n'aba olubuto: ne yeekwekera emyezi etaano, ng'agamba nti |
| 25 |
Bw'atyo Mukama bw'ankoze mu nnaku ze yantunuuliriramu okunziyako ensonyi mu bantu. |
| 26 |
Awo mu mwezi ogw'omukaaga malayika Gabulyeri n'atumibwa Katonda mu kibuga eky'e Ggaliraaya erinnya lyakyo Nazaaleesi, |
| 27 |
eri omuwala atamanyi musajja eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu ow'omu nnyumba ya Dawudi; n'erinnya ly'omuwala Malyamu. |
| 28 |
Awo n'ayingira omumwe, n'agamba nti Mirembe ggwe aweereddwa ennyo ekisa, Mukama ali naawe. |
| 29 |
Naye ye ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n'alowooza okulamusa okwo bwe kuli. |
| 30 |
Awo malayika n'amugamba nti Totya, Malyamu; kubanga olabye ekisa eri Katonda. |
| 31 |
Era, laba, oliba olubuto, olizaala omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu. |
| 32 |
Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w'Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe: |
| 33 |
era anaafuganga ennyumba ya Yakobo emirembe, n'emirembe, so obwakabaka bwe tebuliggwaawo. |
| 34 |
Awo Malyamu n'agamba malayika. nti Kiriba kitya ekyo, kubanga simanyi musajja? |
| 35 |
Ne malayika n'addamu n'amugamba nti Omwoyo Omutukuvu alikujjira, namaanyi g'Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kiyitibwa ekitukuvu, omwana wa Katonda. |
| 36 |
Laba, Erisabesi muganda wo, era ye ali lubuto lwa mwana wa bulenzi mu bukadde bwe; guno gwe mwezi gwe ogw'omukaaga eyayitibwanga omugumba. |
| 37 |
Kubanga tewali kigambo ekiva eri Katonda kiribulwa maanyi. |
| 38 |
MaIyamu n'agamba nti Laba, nze ndi muzaana wa Mukama; kibe ku nze nga bw'ogambye. Awo malayika n'ava gy'ali. |
| 39 |
Awo mu nnaku ezo Malyamu n'ayimuka n'agenda mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga kya Yuda; |
| 40 |
n'ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n'alamusa Erisabesi. |
| 41 |
Awo olwatuuka Erisabesi bwe yawulira okulamusa kwa Malyamu, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwe; Erisabesi n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu; |
| 42 |
n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'agamba nti Oweereddwa omukisa ggwe mu bakazi, n'ekibala eky'omu lubuto lwo kiweereddwa omukisa. |
| 43 |
Nange nno, ekigambo kino kivudde wa, nnyina Mukama wange okujja gye ndi? |
| 44 |
Kubanga laba, eddoboozi ly'okulamusa kwo bwe liyingidde mu matu gange, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwange, olw'essanyu. |
| 45 |
Aweereddwa omukisa eyakkiriza; kubanga birituukirizibwa ebyo bye wagambibwa Mukama. |
| 46 |
Malyamu n'agamba nti Emmeeme yange etendereza Mukama, |
| 47 |
N'omwoyo gwange gusanyukidde Katonda Omulokozi wange. |
| 48 |
Kubanga alabye obunaku bw’omuzaana we: Kubanga, laba, okusooka leero ab’emirembe gyonna banampitanga aweeredawa omukisa. |
| 49 |
Kubanga Omuyinza ankoledde ebikulu; N'erinnya ly'ettukuvu. |
| 50 |
N'ekisa kye kiri mu bamutya; Emirembe n'emirembe. |
| 51 |
Alaze amaanyi n'omukono gwe; Asaasasaanyizza abalina amalala mu kuuerera kw'omu mitima ggabwe. |
| 52 |
Agobye abafuzi abeekulumbaza ku ntebe zaabwe, Agulumizizza abeetoowaze. |
| 53 |
Abalina enjala abakkusizza ebirungi; N'abagagga abagobye nga tebalina kintu. |
| 54 |
Abedde Isiraeri omuddu we Ajjukire ekisa kye. |
| 55 |
(Nga bwe yagamba bajjajjaffe) Eri Ibulayimu n'ezzadde lye, emirembe gyonna. |
| 56 |
Awo Malyamu n'amalayo emyezi ng'esatu, n'akomawo ewuwe. |
| 57 |
Awo ebiro bya Erisabesi ne bituuka okuzaala: n'azaala omwana wa bulenzi. |
| 58 |
Baliraanwa be n'ab'ekika kye ne bawulira nga Mukama amugulumiririzza ekisa kye, ne basanyukira wamu naye |
| 59 |
Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana; baali baagala okumutuuma erinnya lya kitaawe Zaakaliya. |
| 60 |
Nnyina n'addamu nagamba nti Nedda, naye anaatuumibwa Yokaana. |
| 61 |
Ne bamugamba nti Tewali wa mu kika kyo ayitibwa linaya eryo. |
| 62 |
Ne bawenya kitaawe, bw'ayagala okumutuuma. |
| 63 |
N'ayagala ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika, n'agamba nti Erinnya lye Yokaana. Ne beewuunya bonna. |
| 64 |
Amangu ago akamwa ke ne kazibu.ya, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera nga yeebaza Katonda. |
| 65 |
Bonna abaali baliraanyeewo ne batya. N'ebigambo ebyo byonna ne bibuna mu nsi yonna ey'ensozi ey'e Buyudaaya. |
| 66 |
Ne bonna abaabiwulira ne babissa mu mitima gyabwe, ne bagamba nti Kale omwana oyo aliba ki? kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu naye. |
| 67 |
Kitaawe Zaakaliya n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, n'alagula, ng'agamba nti |
| 68 |
Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri; Kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde, |
| 69 |
Era atuyimusirizza ejjembe ery'obulokozi Mu nnyumba y'omuddu we Dawudi. |
| 70 |
(Nga bwe yayogerera mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu, abaaliwo kasookedde ensi ebaawo), |
| 71 |
Okulokolebwa mu balabe baffe; ne mu mikono gy'abo bonna abatukyawa; |
| 72 |
Okutuukiriza ekisa kye yasuubiza bajjajjaffe, N'okujjukira endagaano ye entukuvu. |
| 73 |
Okutuukiriza ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu, |
| 74 |
Okukituwa ffe; ffe bwe tulokolebwa mu mikono gy'abalabe baffe, Tulyoke tumuweereze nga tetuliko kye tutya, |
| 75 |
Mu butukuvu ne mu butuukirivu mu maaso ge ennaku zaffe zonna. |
| 76 |
Naawe, omwana, oliyitibwa naabbi w'Oyo Ali waggulu ennyo: Kubanga olikulembera Mukama okulongoosa amakubo ge; |
| 77 |
Okumanyisa abantu be obulokozi, Ebibi byabwe bibaggibweko, |
| 78 |
Olw'ekisa kya Katonda waffe ekirungi, Emmambya kyevudde etusalira eva mu ggulu, |
| 79 |
Okwakira abatuula mu nzikiza, ne mu kisiikirize ky'olumbe, Okulunnamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe. |
| 80 |
Omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi mu mwoyo; n'abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isiraeri. |
| |
|