| |
|
Olukwe lw'okutta Yesu |
| 1 |
Awo embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali enaatera okutuuka. |
| 2 |
Bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamutta; kubanga baali batya abantu. |
| 3 |
Awo Setaani n'ayingira mu Yuda ayitibwa Isukalyoti eyali ku muwendo gw'abo ekkumi n'ababiri. |
| 4 |
N'agenda, n'ateesa ne bakabona abakulu n'abaami ba sserikale bw'anaamuwaayo gye bali. |
| 5 |
Ne basanyuka ne balagaana okumuwa effeeza. |
| 6 |
N'akkiriza n'anoonya ebbanga mw'anaamuweerayo gye bali awatali kibiina. |
| 7 |
Awo olunaku olw'emigaati egitazimbulukuswa ne lutuuka, olugwanidde okusalirwako Okuyitako. |
| 8 |
N'atuma Peetero ne Yokaana ng'agamba nti Mugende mututegekere Okuyitako tugirye. |
| 9 |
Ne bamugamba nti Oyagala tugitegekere wa?
|
| 10 |
N'abagamba nti Laba, bwe munaaba muyingidde mu kibuga munaasisinkana omuntu anaasisinkana nammwe eyeetisse ensuwa y'amazzi; mumugoberere mu nnyumba mw'anaayingira. |
| 11 |
Munaagamba nnyini nnyumba nti Omuyigiriza akugambye nti Ennyumba y'abagenyi eruwa, mwe nnaaliira Okuyitako awamu n'abayigirizwa bange?
|
| 12 |
Era oyo anaabalaga ennyumba ennene eya waggulu etimbiddwa: mutegekere omwo.
|
| 13 |
Ne bagenda, ne balaba nga bw'abagambye: ne bategeka Okuyitako. |
| 14 |
Awo ekiseera bwe kyatuuka, n'atuula ku mmere, n'abatume awamu naye. |
| 15 |
N'abagamba nti Nneegombye nnyo okuliira awamu we Okuyitako kuno nga sinnabonyaabonyezebwa: |
| 16 |
kubanga mbagamba nti Sirikulya n'akatono, okutuusa lwe kulituukirira mu bwakabaka bwa Katonda. |
| 17 |
N'addira ekikompe, ne yeebaza n'agamba nti Mutoole kino mugabane mwekka na mwekka: |
| 18 |
kubanga mbaga ba nti Sirinywa okusooka kaakano bibala ku muzabbibu, okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja. |
| 19 |
N'addira omugaati ne yeebaza, n'agumenyamu, n'abawa ng'agamba nti Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku Iwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze. |
| 20 |
Era n'ekikompe bw'atyo bwe baamala okulya; ng'agamba nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe. |
| 21 |
Naye, laba, omukono gw'oyo andyamu olukwe guli wamu nange ku mmeeza. |
| 22 |
Kubanga Omwana w'omuntu okugenda genda, nga bwe kyalagirwa: naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe! |
| 23 |
Ne batanula okwebuuzaganya bokka na bokka nti anaaba ani ku bo agenda okukola ekyo. |
| 24 |
Ne wabaawo n'empaka mu bo, nti ani ku bo alowoozebwa okuba omukulu. |
| 25 |
N'abagamba nti Bakabaka b'ab'amawanga babafuga; n'abo abalina obuyinza ku bo bayitibwa abakola obultmgi. |
| 26 |
Naye mmwe si bwe mutyo; naye omukulu mu mmwe abeere ng'omuto; n'oyo akulembera, abe ng'aweereza. |
| 27 |
Kubanga omukulu ani, atuula ku mmere, oba aweereza? si oyo atuula ku mmere? Naye nze wakati mu mmwe nninga aweereza. |
| 28 |
Naye mmwe muumuno abaagumiikirizanga awamu nange mu kukemebwa kwange; |
| 29 |
nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze, |
| 30 |
mulyoke mulye era munywere ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange; era mulituula ku ntebe ez'ekitiibwa, nga musalira emisango ebika ekkumi n'ebibiri eby'Abaisiraeri. |
| 31 |
Simooni, Simooni, laba, Setaani yeegayiridde okubawewa mmwe ng'eŋŋaano: |
| 32 |
naye nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme okuddirira: naawe bw'omalanga okukyuka, onywezanga baganda bo. |
| 33 |
N'amugamba nti Mukama wange, nneeteeseteese okugenda naawe ne mu kkomera ne mu kufa. |
| 34 |
N'agamba nti Nkubuulira ggwe, Peetero, enkoko leero tejja kukookolima, nga tonnanneegaana emirundi esatu nti tommanyi. |
| 35 |
N'abagamba nti Bwe nnabatuma nga temulina nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto, mwaliko kye mwetaaga? Ne bagamba nti Nedda. |
| 36 |
N'abagamba nti Naye kaakano, alina ensawo, agitwale, n'ow'olukoba bw'atyo: naye atalina kitala atunde olugoye Iwe akigule. |
| 37 |
Kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa kigwanidde okutuukirizibwa ku nze nti Yabalirwa wamu n'abasobya: kubanga ekiŋŋwanira kirina okutuukirira. |
| 38 |
Ne bagamba nti Mukama waffe, laba, ebitala bibiri biibino. N'abagamba nti Binaamala. |
| 39 |
N'afultuna n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni, ng'empisa ye bwe yali; n'abayigirizwa be nabo ne bamugoberera. |
| 40 |
Awo bwe yatuuka mu kifo awo, n'abagamba nti Musabe muleme okuyingira mu kukemebwa. |
| 41 |
Ye n'abaawukanako ebbanga ng'awakasukibwa ejjinja; n'afukamira n'asaba, |
| 42 |
ng'agamba nti Kitange, bw'oyagala, nziyaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky'oyagala ggwe kikolebwe. |
| 43 |
Malayika n'amulabikira ng'ava mu ggulu ng'a mussaamu amaanyi. |
| 44 |
N'afuba ng'alumwa ne yeeyongera okusaba ennyo: entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi, nga gatonnya wansi. |
| 45 |
Bwe yagolokoka mu kusaba, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'ennaku, |
| 46 |
n'abagamba nti Ekibeebasizza ki? mugolokoke musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa. |
| 47 |
Yali akyayogera, laba, ekibiina n'oyo ayitibwa Yuda; omu ku abo ekkumi n'ababiri, ng'abakulembedde; n’asemberera Yesu okumunywegera. |
| 48 |
Naye Yesu n'amugamba nti Yuda, Omwana w'omuntu omulyamu olukwe. ng'omunywegera? |
| 49 |
N'abo be yali nabo bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti Mukama waffe, tuteme n'ebitala? |
| 50 |
N'omu ku abo n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu kwe okwa ddyo. |
| 51 |
Naye Yesu n'addamu n'agamba nti Koma ku ekyo kyokka. N'akoma ku kutu kwe n'amuwonya. |
| 52 |
Yesu n'agamba bakabona abakulu, n'abaami b'omu yeekaalu, n'abakadde, abaamujjirira nti Munjijiridde ng'omunyazi, n'ebitala n'emiggo? |
| 53 |
Bwe nnabanga nammwe bulijjo mu yeekaalu, temwangololerangako mikono gyammwe: naye kino kye kiseera kyammwe, n'obuyinza bw'ekizikiza. |
| 54 |
Ne bamukwata, ne bamutwala, ne bamuyingiza mu nnyumba ya kabona asinga obukulu. Naye Peetero n'agoberera ng'ava wala. |
| 55 |
Awo bwe baali nga bamaze okukuma omuliro wakati mu luggya, nga batudde wamu, Peetero n'atuula wakati mu bo. |
| 56 |
Awo omuwala omu bwe yamulaba ng'attudde awalaba, n'amwekaliriza, n'agamba nti N'ono yabadde naye. |
| 57 |
Ne yeegaana ng'agamba nti Omikazi, simumanyi. |
| 58 |
Ekiseera bwe kyayitawo, omulala n'amulaba n'agamba nti Naawe oli ku bo. Naye Peetero n'agamba nti Omuntu, si nze. |
| 59 |
Waali wayiseewo ekiseera ng'essaawa emu, omulala n'akaliriza ng'agamba nti Mazima n'ono yabadde wamu naye; kubanga Mugaliraaya: |
| 60 |
Naye Peetero n'agamba nti Omuntu, simanyi ky'oyogera. Awo amangu ago, bwe yali ng'akyayogera, enkoko n'ekookolima. |
| 61 |
Awo Mukama waffe n'akyuka, n'atunuulira Peetero. Peetero n'ajjukira ekigambo kya Mukama waffe, bwe yamugambye nti Leero enkoko eneeba tennakookolima, ono nneegaana emirundi esatu. |
| 62 |
N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga, |
| 63 |
N'abantu abaali bakutte Yesu ne bamuduulira nga bamukuba. |
| 64 |
Ne bamubikka mu maaso, ne bamubuuza, nga bagamba nti Lagula: ani akukubye? |
| 65 |
N'ebirala bingi ne babimwogerako nga bamuvuma. |
| 66 |
Awo obudde bwe bwakya, abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana, bakabona abakulu era n'abawandiisi; ne bamutwala mu lukiiko lwabwe, nga bagamba nti |
| 67 |
Oba nga ggwe Kristo, tubuulire. Naye n'abagamba nti Ne bwe nnaababuulira, temukkirize n'akatono; |
| 68 |
ne bwe nnaababuuza, temuddemu n'akatono. |
| 69 |
Naye okusooka kaakano Omwana w'omuntu agenda kutuula ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi ga Katonda. |
| 70 |
Bonna ne bagamba nti Kale ggwe oli Mwana wa Katonda? N'abagamba nti Nga bwe mwogedde nze nzuuno. |
| 71 |
Ne bagamba nti Twetaagira ki ate abajulirwa? Kubanga ffe twewuliridde okuva mu kamwa ke ye. |
| |
|