| |
|
Yesu bamwesittalako mu Nazaleesi |
| 1 |
N'avaayo; n'ajja mu nsi y'ewaabwe; abayigirizwa be ne bagenda naye. |
| 2 |
Awo ssabbiiti bwe yatuuka, n'atanula okuyigiriza mu kkunnaaniro: abaagi bwe baamuwulira ne bawuniikirira, nga bagamba nti Ono ebyo yabiggya wa? era nti Magezi ki gano ga yaweebwa ono, era eby'amagero ebyenkanidde wano ebikolebwa mu mikono gye? |
| 3 |
Si ye wuuno omubazzi, omwana wa Malyamu, muganda wa Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetuli nabo wano ewaffe? Ne bamwesittalako. |
| 4 |
Yesu n'abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa wabula mu nsi yaabo, ne mu kika kye, ne mu nnyumba ye. |
| 5 |
So teyayinza kukolerayo kya magero kyonna, naye yassa emikono gye ku balwadde batono, n'abawonya. |
| 6 |
Ne yeewuunya olw'obutakkiriza bwabwe. Ne yeetooloola mu mbuga enjuyi zonna ng'ayigiriza. |
| 7 |
N'ayita gy'ali ekkumi n'ababiri, n'atanula okubatuma kinnababirye; n'abawa obuyinza ku dayimooni; |
| 8 |
n'abalagira obutatwala kintu kya mu kkubo wabula omuggo gwokka; si mmere, newakubadde ensawo, newakubadde ebikomo mu nkoba zaabwe, |
| 9 |
naye nga banaanise engatto; era temwambalanga kkanzu bbiri. |
| 10 |
N'abagamba nti Buli nju yonna mwe muyingiranga mubeeranga omwo okutuusa lwe mulivaayo. |
| 11 |
Na buli kifo kyonna ekitalibakkiriza, obutabawulira, bwe muvangayo, mukunkumulanga enfuufu eri mu bigere byammwe okuba omujulirwa gye bali. |
| 12 |
Ne bagenda ne babuulira abantu okwenenya. |
| 13 |
Ne bagoba dayimooni mungi; ne basiiga amafuta ku balwadde bangi ne babawonya. |
| 14 |
Awo Kerode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lye lyatiikiridde; n'agamba nti Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, amaanyi gano kyegava gakolera mu ye. |
| 15 |
Naye abalala ne bagamba nti Ye Eriya. Abalala ne bagamba nti Nnabbi, ng'omu ku bannabbi. |
| 16 |
Naye Kerode, bwe yawulira n'agamba nti Yokaana gwe nnatemako omutwe nze, ye azuukidde. |
| 17 |
Kubanga Kerode yennyini yatuma, n'akwata Yokaana, n'amusiba n'amussa mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa muganda we Firipo: kubanga yamuwasa. |
| 18 |
Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti Kya muzizo ggwe okubeera ne mukazi wa muganda wo. |
| 19 |
Ne Kerodiya kyeyava amuwerera n'ayagala okumutta, n'atayinza; |
| 20 |
kubanga Kerode yatya Yokaana, ng'amumanyi nga mutuukirivu mutukuvu, n'amwerinda. Yayagalanga nnyo okuwulira by'ayogera; naye ate byamule kanga nga tamanyi kya kukola. |
| 21 |
Awo olunaku olulungi bwe lwatuuka, Kerode lwe yafumbira abakungu be embaga ku lunaku olw'okuzaalibwa kwe, n'abakulu ba sserikale, n'abaami ab'e Ggaliraaya: |
| 22 |
awo muwala wa Kerodiya yennyini bwe yajja n'azina, Kerode n'abo abaali batudde naye nga balya ne bamusiima; awo kabaka n'agamba omuwala nti Nsaba ky'oyagala kyonna, nnaakikuwa. |
| 23 |
N'amulayirira nti Kyonna kyonna ky'ononsaba, nnaakikuwa, newakubadde ekitundu eky'obwakabaka bwange. |
| 24 |
Awo n'afuluma, n'agamba nnyina nti Nnaasaba ki? N'agamba nti Omutwe gwa Yokaana Omubatiza. |
| 25 |
Amangu ago n'ayanguwako n'ajja eri kabaka, n'asaba, ng'agamba nti Njagala ompeere kaakano mu lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza. |
| 26 |
Awo kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'abo abaali batudde naye nga balya, n’atayagala kumumma. |
| 27 |
Amangu ago kabaka n'atuma sserikale omumbowa, n'alagira okuleeta omutwe gwe; n'agenda n'amutemerako omutwe mu kkomera, |
| 28 |
n'aleetera omutwe gwe mu lutiba, n'aguwa omuwala, n'omuwala n'aguwa nnyina. |
| 29 |
Awo abayigirizwa be bwe baawulira, ne bajja ne batwala omulambo gwe, ne baguteeka mu ntaana. |
| 30 |
Abatume ne bakunnaanira awali Yesu; ne bamubuulira ebigambo byonna, bye baakola, ne bye baayigiriza. |
| 31 |
N'abagamba nti Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono. Kubanga waaliwo bangi abajja n'abagenda, so ne bataba na bbanga newakubadde aw'okuliira. |
| 32 |
Ne bagendera mu lyato kyama mu kifo eteri bantu. |
| 33 |
33 Ne babalaba nga bagenda, bangi ne babategeera, n'abo abaava mu bibuga byonna ne baddukana ku lukalu, ne babasookayo. |
| 34 |
Bwe yava mu lyato n'alaba ebibiina bingi, n'abasaasira, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba; n'atanula okubayigiriza ebigambo bingi. |
| 35 |
35 Awo obudde bwe bwali buyise, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti Ekifo kino kya ddungu, ne kaakano obudde buyise: |
| 36 |
basiibule, bagende mu byalo ne mu mbuga eby'oku njuyi zonna beegulire emmere. |
| 37 |
Naye n'addamu, n'abagamba nti Mmwe mubawe emmere. Ne bamugamba nti Tugende tugule emigaati egy'eddinaali ebibiri tugibawe balye? |
| 38 |
N'abagamba nti Mulina emigaati emeka? mugende mulabe. Bwe baategeera ne bagamba nti Etaano, n'ebyennyanja bibiri. |
| 39 |
N'abalagira batuule bonna bibiina bibiina ku muddo. |
| 40 |
Ne batuula anyiriri nnyiriri, ekikumi, n'amakumi ataano. |
| 41 |
N'akwata emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula waggulu, ne, yeebaza, n'amenyamu emigaati, n'awa abayigirizwa be bagisse mu maaso ga bali; n'ebyennyanja bibiri n'abigabira bonna. |
| 42 |
Ne balya bonna ne bakkuta. |
| 43 |
Ne bakunnaanya abukunkumuka, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri, n'ebyennyanja. |
| 44 |
Abo abaalya emigaati baali abasajja enkumi ttaano: |
| 45 |
Amangu ago n'abawaliriza aba yigirizwa be okusaabala mu lyato basookeyo emitala w'eri e Besusa yida, ye amale okusiibula ebibiina. |
| 46 |
Awo bwe yamala okubasiibula n'agenda ku lusozi okusaba |
| 47 |
Awo bwe bwali buwungedde eryato lyali mu nnyanja mu buziba ye yali yekka ku lukalu. |
| 48 |
Awo bwe yalaba nga bategana okuvuga kubanga omuyaga gwali gubafulu mye mu maaso, mu kisisimuka eky'okuna eky'ekiro n'ajja gye baali ng'atambulira ku nnyanja; yali ng'agenda kubayisa: |
| 49 |
naye bo bwe baamulaba ng'atambulira ki nnyanja, ne balowooza nti kifaananyi, ne bakaaba; |
| 50 |
kubanga bonna baamulaba, ne beeraliikirira Naye amangu ago n'ayogera nabo n'abagamba nti Mugume: nze nzuuno, temutya. |
| 51 |
N'alinnya mu lyato mwe baali, omuyaga ne gufa ne bawuniikirira nnyo munda yaabwe; |
| 52 |
kubanga eby'emigaati tebaabitegeera, naye emitima gyabwe gyali mikakanyavu. |
| 53 |
Awo bwe baawunguka, ne bajja mu nsi ey' Genesaleeti, ne bagoba ettale |
| 54 |
Awo bwe baava mu lyate amangu ago ne bamutegeera, |
| 55 |
ne baddukana ne beetooloola mu eyo yonna, ne batanula okusitulira ku bitanda abalwadde okubaleeta we baawulira nga w'ali. |
| 56 |
Ne buli gye yagendanga, mu mbuga, oba mu bibuga, oba mu byalo, bassanga abalwadde mu butale, ne bamwega yirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'olugoye lwe: n'abo abaamu komangako ne bawona. |
| |
|