| |
|
|
| 1 |
Laba, ntuma omubaka wange; naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka w'endagaano gwe musanyukira, laba, ajja; bw'ayogera Mukama w'eggye. |
| 2 |
Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? era ani aliyimirira ye bw'alirabika? kubanga aliŋŋanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi: |
| 3 |
era alituula ng'oyo alongoosa effeeza n'agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng'ezaabu n'effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu. |
| 4 |
Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez'edda era nga mu myaka egyayitawo. |
| 5 |
Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu era abalogo n'eri abenzi n'eri abalayira eby'obulimba; n'eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; nnamwandu n'atalina kitaawe, en abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'ayogera Mukama w'eggye. |
| 6 |
Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva muleme okumalibwawo. |
| 7 |
Okuva ku nnaku za bajjajja. mmwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga: Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nt Tunadda tutya? |
| 8 |
Omuntu alinyaga Katonda? naye mmwe mu nnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwannyagako: ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo. |
| 9 |
Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze; eggwanga lino lyonna. |
| 10 |
Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bwayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga weguligya. |
| 11 |
Era ndinenya omuli ku lwanmwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n'omuzabbibu gwanmwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye. |
| 12 |
Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye. |
| 13 |
Ebigambo byammwe byabanga biwaganyavu eri nze, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti Twakwogerako tutya? |
| 14 |
Mwayogera nti Okuweereza Katonda kwa bwereere: era kugasa ki nga tukutte ebyo bye yakuutira, era nga tutambulidde mu maaso ga Mukama w'eggye nga tutokooteedde? |
| 15 |
Era kaakano ab'amalala betuyita ab'omukisa: weewaawo, bo abakola obubi bazimbibwa; weewaawo, bakema Katonda ne bawonyezebwa. |
| 16 |
Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n'awuliriza n'awulira, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo baatya Mukama ne balowooza erinya lye. |
| 17 |
Era baliba bange, bw’ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we ye amuweereza. |
| 18 |
Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n'omubi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza. |
| |
|