| |
|
Abagezigezi abaava ebuvanjuba |
| 1 |
Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi, |
| 2 |
nga bagamba nti Ali ludda wa oyo eyazaalibwa Kabaka w'Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ebuvanjuba, ne tujja okumusinza. |
| 3 |
Kerode kabaka bwe yawulira ne yeeraliikirira, era n'ab'e Yerusaalemi bonna. |
| 4 |
N'akuŋŋanya bakabona abakulu bonna, n'abawandiisi ab'abantu, n'ababuuza nti Kristo alizaalibwa wa? |
| 5 |
Nabo ne bamugamba nti Mu Besirekemu eky'e Buyudaaya: kubanga bwe kyawandiikibwa nnabbi bwe kityo nti |
| 6 |
Naawe Besirekemu, ensi y Yuda, Toli mutono mu balangira ba Yuda: Kubanga afuga aliva mu ggwe, Alirunda abantu bange Isiraeri. |
| 7 |
Awo Kerode n'ayita abagezigezi kyama, n'ababuuliriza nnyo ebiri emmunyeenye bye yaakamala okulabika. |
| 8 |
N'abasindika e Besirekemu, n'abagamba nti Mugende munoonye nayo, mulabe omwan bw'afaanana; naye bwe mumula banga, ne mujja mumbuulira nang ndyoke njije mmusinze. |
| 9 |
Bwe baawulira kabaka, ne bagenda; laba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba, n'ebakulembera, n'ejja n'eyimirira waggulu omwana w'ali. |
| 10 |
Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka essaayu lingi nnyo. |
| 11 |
Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu. |
| 12 |
Katonda bwe yabalabulira mi kirooto baleme okuddayo eri Kerode ne baddayo ewaabwe mu kkubo eddala. |
| 13 |
Laba, bwe baamala okugenda malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, ng'amugamba nti Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba; ku banga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta. |
| 14 |
Naye n'azuukuka n'atwala omwana ne nnyina ekiro n'agenda e Misiri; |
| 15 |
n'abeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa; ekigambo kituukirire Mukama kye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti Nnayita omwana wange okuva mu Misiri. |
| 16 |
Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamuduulira n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaakamala emyaka ebiri n'abatannaba kutuusa egyo, ng'ebiro bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi bwe byali. |
| 17 |
Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira, bwe yagamba nti |
| 18 |
Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, Okukaaba n'okukuba ebiwoobe ebingi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; So teyayagala kukubagizibwa, kubanga tewakyali. |
| 19 |
Naye Kerode bwe yamala okufa, laba, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, |
| 20 |
ng'agamba nti Golokoka, otwale omwana ne nnyina, ogende mu nsi ya Isiraeri: kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde. |
| 21 |
N'agolokoka, n'atwala omwana ne nayina, n'ajja mu nsi ya Isiraeri. |
| 22 |
Naye bwe yawulira nti Alukerawo ye kabaka w'e Buyudaaya ng'asikidde kitaawe Kerode, n'atya okuddayo. Naye Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, ne yeekooloobya, n'ayita ku luuyi lwe Ggaliraaya, |
| 23 |
n'ajja n'abeera mu kyalo, erinnya lyakyo Nazaaleesi: ekigambo bannabbi kye baayogera kituukirire, nti Aliyitibwa Munazaalaayo. |
| |
|
| |
|
Aliko ddayimooni awonyezebwa |
| 1 |
Bwe yalaba ebibiina, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja gy'ali. |
| 2 |
n'ayasamya akamwa ke, n'abayigiriza ng'agamba nti |
| 3 |
Balina omukisa abaavu mu mwoyo: kubanga abo obwakabaka abw'omu ggulu bwe bwabwe. |
| 4 |
Balina omukisa abali mu nnaku: kubanga abo balisanyusibwa. |
| 5 |
Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi. |
| 6 |
Balina omukisa abalumwa enjala n'ennyonta olw'obutuukirivu: kubanga abo balikkusibwa. |
| 7 |
Balina omukisa ab'ekisa: kubanga abo balikwatirwa ekisa. |
| 8 |
Balina omukisa abalina omutima omulongoofu: kubanga abo baliraba Katonda. |
| 9 |
Balina omukisa abatabaganya: kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda. |
| 10 |
Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu: kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe. |
| 11 |
Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze. |
| 12 |
Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe. |
| 13 |
Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Tegukyasaana nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu okugulinnyirira. |
| 14 |
Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga bwe kikubibwa ku lusozi, tekiyinzika kukisibwa. |
| 15 |
So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo; wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo; nayo ebaakira bonna abali mu nju. |
| 16 |
Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g'abantu balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu. |
| 17 |
Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi: sajja kudibya, wabula okutuukiriza. |
| 18 |
Kubanga mbagamba mazima nti Eggulu n’ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakudde akatonnyeze akamu ak’omu Mateeka tekaliggwaawo, Okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira. |
| 19 |
Kale buli anaadibyanga erimu ku mateeka ago wadde erisinga obutono era anaayigirizanga abantu bw'atyo, aliyitibwa mutono mu bwakabaka obw'omu ggulu: naye buli anaagakwatanga era anaagayigirizanga, oyo aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. |
| 20 |
Kubanga mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butaasingenga butuukiruvu bwa bawandiisi n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu. |
| 21 |
Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti Tottanga naye omuntu bw'anattanga, anazzanga omusango: |
| 22 |
naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we, alizza omusango; naye anaagambanga muganda we nti Laka, asaanidde okutwalibwamu lukiiko, naye anaagambanga nti Musirusiru, asaanidde okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro. |
| 23 |
Kale, bw'obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw'oyima eyo n'omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo, |
| 24 |
leka awo ssaddaaka yo mu maaso g'ekyoto, oddeyo, osooke omale okutagabana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo. |
| 25 |
Yagalananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga oku kutwala eri katikkiro, so ne katikkiri alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera. |
| 26 |
Mazima nkugamba nti Tolivaamu, okutuusa lw'olimala okukome kkereza n'eppeesa erimu. |
| 27 |
Mwawulira bwe baagambibwa nti Toyendanga: |
| 28 |
naye nange mbagamba nti buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng'amaze okumwendako mu mutima gwe. |
| 29 |
Oba ng'eriiso lyo eryaddyo likwesittaza liggyeemu lisuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okusuulibwa mu Ggeyeena. |
| 30 |
Era oba ng’omukono gwo ogwa ddyo gu kwesittaza, gutemeko, gusuule wala kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okugenda mu Ggeyeena. |
| 31 |
Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'o kumugoba: |
| 32 |
naye nange mbagamba nti buli muntu agobanga mukazi we, wabula ogw'obwenzi ng'amwenzezza: n'oyo awasanga gwe baagoba, ng'ayenze. |
| 33 |
Mwawulira ate ab'edda bwe baagambibwa nti Tolayiranga bya bulimba, naye otuukiririzanga Mukama by'olayira: |
| 34 |
naye nange mbagamba nti Tolayiranga n'akatono, newakubadde eggulu, kubang ye ntebe ya Katonda; |
| 35 |
newakubadde ensi, kubanga ye gy'ateekaki ebigere bye; newakubadde Yerusaalemi, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu. |
| 36 |
So tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza kufuula luviiri lumu oba lweru oba oluddugavo. |
| 37 |
Naye ebigambo bya mmwe bibeerenga nti Weewaawa weewaawo; si weewaawo, si weewaawo: naye ebisinga ebyo bivamu mubi. |
| 38 |
Mwawulira bwe baagambibwa nti Eriiso ligattwenga eriiso, n’erinnyo ligattwenga erinnyo: |
| 39 |
naye nange mbagamba nti Temuziyiza nga mubi: naye omuntu bw'akukubanga oluba olwa ddyo, omukyukiranga n'olwa kkono. |
| 40 |
Omuntu bw'ayagalanga okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekizibawo kyo. |
| 41 |
Omuntu bw’akuwalirizanga okutambula naye mairo emu, tambulanga naye n'ey'okubiri |
| 42 |
Akusabanga omuwanga omuntu bw’ayagalanga okumuwola, tomukubanga mabega. |
| 43 |
Mwawulira bwe baagambibwa nti Oyagalanga munno okyawanga omulabe wo: |
| 44 |
naye nange mbayamba nti Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya; |
| 45 |
mulyoke mubeerenga abaana Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu. |
| 46 |
Kubanga bwe munaayagalanga ababaagala, mulina mpeera ki? n'abawooza tebakola bwe batyo? |
| 47 |
Bwe naalamusanga baganda bammwe bokka, munaabasinzangawo ki? N’ab'amawanga tebakola bwe batyo? |
| 48 |
Kale mmwe mubeerenga abatuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu. |
| |
|