| |
|
Olukwe lw'okutta Yesu |
| 1 |
Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti |
| 2 |
Mumanyi nti olw'ebbiri walibaawo Okuyitako, n'Omwana w'omuntu aliweebwayo okukomererwa. |
| 3 |
Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaanira mu kigango kya kabona asinga obukulu, eyayitibwa Kayaafa; |
| 4 |
ne bateeseza wamu Yesu okumukwasa amagezi, bamutte. |
| 5 |
Naye ne bagamba nti Tuleme okumukwatira ku lunaku olukulu, abantu baleme okukaayana. |
| 6 |
Naye Yesu bwe yali mu Bessaniya, mu nju ya Simooni omugenge, |
| 7 |
omukazi n'ajja gy'ali, eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi ennyo, n'agamufuka ku mutwe, ng'atudde alya. |
| 8 |
Naye abayigirizwa bwe baalaba, ne banyiiga ne bagamba nti Gafudde ki gano? |
| 9 |
Kubanga gano singa gatundiddwa gandivuddemu ebintu bingi, okuwa abaavu. |
| 10 |
Naye Yesu bwe yategeera n'abagamba nti Munakuwaliza ki omukazi? kubanga ankoze ekigambo ekirungi. |
| 11 |
Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; naye temuli nange bulijjo. |
| 12 |
Kubanga bw'afuse amafuta gano ku mubiri gwange, anziraze okunziika. |
| 13 |
Mazima mbagamba nti Enjiri eno buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira. |
| 14 |
Awo omu ku abo ekkumi n'ababiri, eyayitibwa Yuda Isukalyoti, n'agenda eri bakabona abakulu, |
| 15 |
n'agamba nti Mukkiriza kumpa ki, nange ndimuwaayo gye muli? Ne bamugerera ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. |
| 16 |
N'asookera awo okunoonya ebbanga bw'anaamuwaayo. |
| 17 |
Naye ku lunaku olusookerwako olw'emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Oyagala tuteekereteekere wa Okuyitako gy'onookuliira? |
| 18 |
N'agamba nti Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti Omuyigiriza agambye nti Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange. |
| 19 |
Abayigirizwa ne bakola nga Yesu bw'abalagidde; ne bateekateeka Okuyitako. |
| 20 |
Awo obudde bwe bwawungeera, n'atuu1a okulya n'abayigirizwa ekkumi n'ababiri; |
| 21 |
era baali balya; n'agamba nti Mazima mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe. |
| 22 |
Ne banakuwala nnyo, ne batanula kinnoomu okumugamba nti Mukama waage, ye nze? |
| 23 |
Naye n'addamu n'agamba nti Oyo akozezza awamu nange mu kibya, ye anandyamu olukwe. |
| 24 |
Omwana w'omuntu agenda, nga bwe yawa ndiikirwa: naye zisanze omuntu oyo anaalyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi eri oyo singa teyazaalibwa omuntu oyo. |
| 25 |
Yuda, eyamulyamu olukwe, n'addamu n'agamba nti Labbi, ye nze? N'amugamba nti Ggwe oyogedde. |
| 26 |
Era baali bakyalya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu; n'awa abayigirizwa, n'agamba nti Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange. |
| 27 |
N'atoola ekikompe, ne yeebaza, n'abawa, ng'agamba nti Munywe ku kino mwenna; |
| 28 |
kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi. |
| 29 |
Naye mbagamba nti Sirinywa n'akatono okusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya awamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange. |
| 30 |
Bwe baamala okuyimba ne bafuluma okugenda ku lusozi olwa Zeyituuni. 31 |
| 31 |
Awo Yesu n'abagamba nti Mmwe mwenna muneesittala ku lwange ekiro kino: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n'endiga ez'omu kisibo zirisaasaanyizibwa. |
| 32 |
Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya. |
| 33 |
Naye Peetero n'addamu n'amugamba nti Bonna bwe baneesittala ku lulwo, nze seesittale n'akatono. |
| 34 |
Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti Mu kiro kino, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu. |
| 35 |
Peetero n'amugamba nti Newakubadde nga kiiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono. N'abayigirizwa bonna ne boogera bwe batyo. |
| 36 |
Awo Yesu n'atuuka nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n'agamba abayigirizwa be nti Mutuule wano, ŋŋende eri nsabe. |
| 37 |
N'atwala Peetero n'abaana ba Zebbedaayo bombi, n'atanula okunakuwala n'okweraliikirira ennyo. |
| 38 |
Awo n'abagamba nti Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi, zigenda kunzita : mubeere wano, mutunule nange. |
| 39 |
N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti Ai Kitange, ekikompe kino kinveeko, oba kiyinzika: naye si nga nze bwe njagala wabula nga ggwe bw’oyagala. |
| 40 |
Nadda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti Kazzi temuyinzizza kutunula nange n'essaawa emu? |
| 41 |
Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala naye omubiri gwe munafu. |
| 42 |
Nate n'agenda omulundi ogw'okubiri, n'asaba, ng'agamba nti Ai Kitange, oba nga kino tekiyinza kunvaako, wabula nze okukinywa, ky'ayagala kikolebwe. |
| 43 |
N'ajja nate n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambagga. |
| 44 |
N'abaleka nate, n'agenda, n'asaba omulundl ogw'okusatu, n'ayogera nate ebigambo bimu na biri. |
| 45 |
Awo n'ajja eri abayigirizwa, n'abagamba nti Mwebakire ddala kaakano, muwummule: laba, ekiseera kinaatera okutuuka, n'Omwana w'omuntu aweereddwayo mu mikono gy'abalina ebibi. |
| 46 |
Muyimuke tugende: laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka. |
| 47 |
Yali akyayogera, laba, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri, n'ajja, ng'alina ebibiina bingi ebirina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu n'abakadde b'abantu. |
| 48 |
Naye oyo amulyamu olukwe yabawa akabonero, ng'agamba nti Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo: mumukwate. |
| 49 |
Amangu ago n'ajja awali Yesu, n'agamba nti Mirembe, Labbi; n'amunywegera nnyo. |
| 50 |
Yesu n'amugamba nti Munnange, kola ky'ojjiridde. Awo ne bajja, Yesu ne bamussaako emikono, ne bamukwata. |
| 51 |
Laba, omu ku abo abaali ne Yesu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu. |
| 52 |
Awo Yesu n'amugamba nti Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala. |
| 53 |
Oba olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n'ampeereza kaakano bamalayika okusinga liigyoni ekkumi n'ebbiri? |
| 54 |
Kale binaatuukirira bitya ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe bityo? |
| 55 |
Mu luseera ekyo Yesu n'agamba ebibiina nti Muli ng'abajjiridde omunyazi n'ebitala n'emiggo okunkwata? Nnatuulanga buli lunaku mu yeekaalu nga njigiriza, ne mutankwata. |
| 56 |
Naye kino kyonna kituuse, bannabbi bye baawandiika era bituu kirizibwe. Awo abayigirizwa bonna ne bamwabulira, ne badduka. |
| 57 |
Ne bali abaakwata Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiisi n'abakadde gye baakuOnaanira. |
| 58 |
Naye Peetero n'amuvaako ennyuma wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira. |
| 59 |
Naye bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulirwa obw'obulimba ku Yesu, balyoke bamutte; |
| 60 |
ne batabulaba, newakubadde ng'abajulirwa ab'obulimba bangi abajja. Naye oluvannyuma ne bajja babiri, |
| 61 |
ne bagamba nti Ono yagamba nti Nnyinza okumenya yeekaalu ya Katonda, n'okugizimbira ennaku ssatu. |
| 62 |
Kabona asinga obukulu n'ayimirira, n'amugamba nti Toyanukula n'akatono? kigambo ki bano kye bakulumiriza? |
| 63 |
Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amugamba nti Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda. |
| 64 |
Yesu n'amugamba nti Oyogedde: naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukrr.o ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajjira ku bire eby'eggulu. |
| 65 |
Awo kabona asinga obukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti Awodde Katonda: twagalira ki nate abajulirwa? laba, muwulidde kaakano obuwoozi bwe: |
| 66 |
mulowooza mutya? Ne baddamu ne bagamba nti Agwanidde kufa. |
| 67 |
Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso ge, ne bamukuba ebikonde: abalala ne bamukuba empi |
| 68 |
nga bagamba nti Tulagule Kristo: ani akukubye? |
| 69 |
Naye Peetero yali atudde bweru mu kigango: omuwala n'ajja gy'ali, n'agamba nti Naawe wali wamu ne Yesu Omugaliraaya. |
| 70 |
Naye ne yeegaanira mu maaso ga bonaa ng'agamba nti Ky'ogamba sikima nyi. |
| 71 |
Naye bwe yafuluma okutuuka mu kisasi, omuwala omulal n'amulaba n'agamba aba abaal awo nti N'ono yali wamu ne Yesi Omunazaaleesi. |
| 72 |
Ne yeegaana nate, n'alayira nti Omuntu oyo simumanyi. |
| 73 |
Ne wayitawo ebba nga ttono, abaali bayimiridde awo ne bajja ne bagamba Peetero nti Mazima naawe oli munnaabwe; ku banga enjogera yo ekutegeezezza |
| 74 |
Awo n'atanula okukolima n'okulayira nti Omuntu oyo simumanyi Amangu ago enkoko n'ekookolima. |
| 75 |
Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu kye yagamba nti Enkoko eneeba tennaba kukookolima ononneegaanira emirundi esatu. N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga. |
| |
|