| |
|
|
| 1 |
Zikisanze ekibuga eky'omusaayi! kyonna kijjudde eby'obulimba n'eby'amaanyi; ekitaagulwataagulwa tekivaamu. |
| 2 |
Okuwuma kw'olukoba n'okuwuma kwa bannamuziga abayiringita; n'embalaasi nga zinyirira n'amagaali nga gabuukabuuka; |
| 3 |
n'abo abeebagala nga balinnya n'okumasamasa kw'ekitala n'okumyansa kw'amafumu; era abafu bangi n'emirambo entuumo nnene; so n'emirambo tegiriiko we gikoma; beesittala ku mirambo gyabwe. |
| 4 |
Kubanga okwenda kw'omwenzi omulungi kungi nnyo nnyini, omukulu w'obulogo, atunda amawanga n'eby'obwenzi bye, era enda n'obulogo bwe. |
| 5 |
Laba, ndi mulabe wo bw'ayogera Mukama w'eggye; nang ndibikkula ebirenge byo ku maaso go; nange ndirabisa amawanga obwereere bwo, n'obwakabaka ndi bulabisa ensonyi zo. |
| 6 |
Era ndikusuulira ebyenyinyalwa, era ndiku ggyako ekitiibwa, era ndikussaawo okuba ekyerolerwa. |
| 7 |
Awo olulituuka bonna abalikutunuulira bali kudduka ne boogera nti Nineeve kyonoonese; ani anaakikubira ebiwoobe? ndinoonyeza wa abo abalikukubagiza? |
| 8 |
Osinga Nowamoni obulungi, ekyakubibwa awali emigga, ekyalina amazzi amangi enjuyi zonna; era olukomera lwakyo nnyanja: n'ennyanja yabeera bbugwe waakyo? |
| 9 |
Obuwesiyopya ne Misiri maanyi gaakyo so tegasingika; aba Puti n'Abalubi be baali ababeezi bo. |
| 10 |
Naye kyatwali bwa, kyagenda mu buddu; n'abaana baakyo abato baatandaggirwa ki masaŋŋanzira g'enguudo zonna n'ab'ekitiibwa baabakubirako akalulu, n'abakulu be bonna baasibibwa mu njegere. |
| 11 |
Era naawe olitamiira, olikwekebwa; era naawe olinoonya ekigo ku lw'abalabe. |
| 12 |
Ebigo byo byonna biriba nga mitiini egibaako ettiini ezisooka okwengera: bwe zikunkumuka, zigwa mu kamwa k'omuli. |
| 13 |
Laba, abantu bo wakati wo bakazi; enzigi eza wankaaki ez'ensi yo ziggulirwa ddala eri abalabe bo; omuliro ne gulya emikiikiro gyo. |
| 14 |
Weesenere amazzi olw'okuzingizibwa, nyweza ebigo byo, linnya ku ttaka, samba ebbumba, nyweza ekyokero ky'amatoffaali. |
| 15 |
Omuliro gulikwokera eyo; ekitala kirikuzikiriza, kirikulya nga kalusejjera; weeyaze nga kalusejjera, weeyaze ng'enzige. |
| 16 |
Wayaza abasuubuzi bo okusinga emmunyeenye ez'omu ggulu obungi; kalusejjera koonoona ne kabuu ka ne kagenda. |
| 17 |
Ababo abatikkiddwa engule baali ng'enzige; abagabe bo ng'ebifuko by'amayanzi agabeera mu bisagazi ku lunaku lw'empewo, naye enjuba bw'evaayo zidduka, n'ekifo we zibeera tekimanyibwa. |
| 18 |
Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w'e Bwasuli; abakulu bo ab'ekitiibwa bawummula; abantu bo basaasaanira ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya. |
| 19 |
Tewali kya kukkakkanya bulumi bwo; ekiwundu kyo kinene; bonna abawulira ebigambo byo bakukubira mu ngalo; kubanga muntu ki obubi bwo gwe butatuukako ennaku zonna? |
| |
|