| |
|
|
| 1 |
Awo olwatuuka bbugwe bwe yaggwa okuzimba, era nga mmaze okusimba enzigi, n'abaggazi n'abayimbi n'Abaleevi nga balondeddwa, |
| 2 |
awo muganda wange Kanani ne Kananiya omukulu w'ekigo ne mbakwasa Yerusaalemi: kubanga yali musajja mwesigwa, era yatyanga Katonda okusinga bangi. |
| 3 |
Ne mbagamba nti Enzigi za Yerusaalemi teziggalwangawa ng'omusana tegunnakangaalukuka; era bwe bayimirira nga bakuuma baggalengawo enzigi, era muzinywe zenga n'ebisiba: era mussengawo abakuumi ku abo abali mu Yerusaalemi, buli muntu mu luwalo lwe, era buli muntu ng'ayolekera ennyu mba ye. |
| 4 |
Era ekibuga kyali kigazi era kinene: naye abantu abaali omwo baali batono, n'ennyumba nga tezizimbiddwa. |
| 5 |
Katonda wange n'akiteeka mu mutima gwange okukuŋŋaanya abakungu n'abakulu n'abantu babalibwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Ne ndaba ekitabo eky'okuzaalibwa kw'abo abaasooka okwambuka, ne ndaba, nga kiwandiikiddwamu nti |
| 6 |
Bano be baana b'essaza abaayambuka okuva mu bunyage bw'abo abaatwaiibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yatwala, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe; |
| 7 |
abajja ne Zerubbaberi, Yesuwa, Nekkemiya, Azaliya, Laamiya, Nakamani, Moluddekaayi, Birusani, Misuperesi, Biguvayi, Nekumu, Baana. Gmuwendo gw'abasajja ab'oku bantu ba Isiraeri: |
| 8 |
abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri. |
| 9 |
Abaana ba Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri. |
| 10 |
Abaana ba Ala, lukaaga mu ataano mu babiri. |
| 11 |
Abaana ba Pakasumowaabu, ow'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi mu munaana |
| 12 |
Abaana ba Eramu, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana. |
| 13 |
Abaana ba Zattu, lunaana mu ana mu bataano. |
| 14 |
Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga. |
| 15 |
Abaana ba Binnuyi, lukaaga mu ana mu munaana. |
| 16 |
Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu munaana. |
| 17 |
Abaana ba Azugaadi, enkumi bbiri mu ebikumi bisatu mu abiri mu babiri. |
| 18 |
Abaana ba Adotukamu, lukaaga mu nkaaga mu musanvu. |
| 19 |
Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu. |
| 20 |
Abaana ba Adini, lukaaga mu ataano mu bataano. |
| 21 |
Abaana ba Ateri, owa Keezeekiya, kyenda mu munaana. |
| 22 |
Abaana ba Kasumu, ebikumi bisatu mu abiri mu munaana. |
| 23 |
Abaana ba Bezayi, ebikumi bisatu mu abiri mu bana. |
| 24 |
Abaana ba Kalifu, kikumi mu kkumi mu babiri. |
| 25 |
Abaana ba Gibyoni, kyenda mu bataano. |
| 26 |
Abasajja ab'e Besirekemu ne Netofa, kikumi mu kinaana mu munaana. |
| 27 |
Abasajja We Anasosi; kikumi mu abiri mu munaana. |
| 28 |
Abasajja ab'e Besuwazumavesi, amakumi ana mu babiri. |
| 29 |
Abasajja ab'e Kiriyasuyalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu. |
| 30 |
Abasajja ab'e Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu. |
| 31 |
Abasajja ab'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri. |
| 32 |
Abasajja ab'e Beseri ne Ayi, kikumi mu abiri mu basatu. |
| 33 |
Abasajja ab'e Nebo eky'okubiri, amakumi ataano mu babiri. |
| 34 |
Abaana ba Eramu ow'okubiri, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana. |
| 35 |
Abaana ba Kalimu, ebikumi bisatu mu abiri. |
| 36 |
Abaana ba Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano. |
| 37 |
Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu omu. |
| 38 |
Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lwenda mu asatu. |
| 39 |
Bakabona: abaana ba Yedaya, ow'oku nnyumba ya Yesuwa; lwenda mu nsanvu mu basatu. |
| 40 |
Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri. |
| 41 |
Abaana ba Pasukuli, lukumi mu ebikumi bibiri mu ana mu musanvu. |
| 42 |
Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi mu musanvu. |
| 43 |
Abaleevi: abaana ba Yesuva ow'e Kadumyeri, ow'oku baana ba Kodeva, nsanvu mu bana. |
| 44 |
Abayimbi: abaana ba Asafu, kukumi mu ana mu munaana |
| 45 |
Abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana. |
| 46 |
Abanesinimu: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi; |
| 47 |
abaana ba Keriso, abaana ba Siya, abaana ba Padoni; |
| 48 |
abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Salumayi; |
| 49 |
abaana ba Kanani, abaana ba Gidderu, abaana ba Gakali; |
| 50 |
abaana ba Leyaya, abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda; |
| 51 |
abaana ba Gazzamu, abaana ba Uzza, abaana ba Paseya; |
| 52 |
abaana ba Besayi abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefusesimu; |
| 53 |
abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli; |
| 54 |
abaana ba Bazulisi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa; |
| 55 |
abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema; |
| 56 |
abaana ba Neziya, abaana ba Katifa. |
| 57 |
Abaana b'abaddu ba Sulemaani; abaana ba Sotayi, abaana ba Soferesi, abaana ba Perida; |
| 58 |
abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi; |
| 59 |
abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Amoni. |
| 60 |
Abanesinimu bonna n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri. |
| 61 |
Era bano be baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddoni, ne Immeri: naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe newakubadde okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri: |
| 62 |
abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, abaana ba Nekoda, lukaaga mu ana mu babiri. |
| 63 |
Ne ku bakabona: abaana ba Kobaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ow'oku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya lyabwe. |
| 64 |
Abo ne banoonya okuwandiikibwa kwabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne kutalabika: kyebaava babawoola ne babagoba mu bwakabona. |
| 65 |
Tirusaasa n'abagamba baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa kabona lw'aliyimirira alina Ulimu ne Sumimu. |
| 66 |
Ekibiina kyonna wamu yali obukumi buna mu enkumi bbiri mu bikumi bisatu mu nkaaga, |
| 67 |
obutassaako baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe asanvu mu ebikumi bisatu mu asatu mu musanvu: era baalina abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi ebikumi bibiri mu ana mu ataano. |
| 68 |
Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga nnyumbu zaabwe ebikumi bibiri mu ana mu ttaano; |
| 69 |
eŋŋamira zaabwe ebikumi bina mu asatu mu ttaano; endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri. |
| 70 |
Era abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo eri omulimu. Tirusaasa n'awaayo mu ggwanika daliki eza zaabu lukumi, ebibya amakumi ataano, ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu. |
| 71 |
Era abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo mu ggwanika ery'omulimu daliki eza zaabu obukumi bubiri, ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri mu bikumi bibiri. |
| 72 |
N'ebyo abantu abalala bye baawa byali daliki ezaabu obukumi bubiri ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri, n'ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu. |
| 73 |
Awo bakabona n'Abaleevi n'abaggazi n'abayimbi n'abamu ku bantu n'Abanesinimu ne Isiraeri yenna ne babeeranga mu Bibuga byabwe. Awo omwezi gw'omusanvu bwe gwatuuka, abaana ba Isiraeri nga bali mu bibuga byabwe. |
|
|