|
|
| 1 |
Okwolesebwa kwa Obadiya. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku Edomu; nti Tuwulidde ebigambo ebiva eri Mukama n’omubaka atumiddwa eri amawanga nti Muyimuke, tuyimuke ku nsi ye tulwane naye. |
| 2 |
Laba, nkufudde omuto mu mawanga; onyoomebwa nnyo ggwe. |
| 3 |
Amalala ag'omu mutima gwo gakukyamizza, ggwe azimba mu biwuku eby'omu lwazi, ggwe atuula waggulu; ayogera mu mutima gwe nti Ani alinzisa wansi? |
| 4 |
Newakubadde ng'olinnya mu ggulu ng'empungu era ekisu kyo nga kiteekebwa wakati mu munnyeenye, ndikussa wansi ove eyo; bw'ayogera Mukama. |
| 5 |
Oba ababbi bajja gy'oli, oba abanyazi ekiro (so nga ozikirira!) tebandibbye bya kubamala? oba abanozi b'ezabbibu bajja gy'oli, tebandirese zabbibu ezeerebwawo? |
| 6 |
Ebya Esawu nga binoonyezebwa, ebikwekebwa ye nga bivumbuka ! |
| 7 |
Abantu bonna abaalagaana gy'oli bakuwerekedde okutuuka ku nsalo; abantu abaali balina emirembe naawe bakukyamizza era bakulemye; abaalya emmere yo batega omutego wansi wo; so temuli kutegeera mu ye. |
| 8 |
Ku lunaku luli sigenda kuzikiriza abagezigezi bave mu Edomu n'okutegeera kuve mu lusozi lwa Esawu? bw'ayogera Mukama. |
| 9 |
Era abazira bo; ggwe Temani, balyekanga buli muntu alyoke aggibwe mu lusozi lwa Esawu era attibwe. |
| 10 |
Kubanga wagirira amaanyi muganda wo Yakobo, ensonyi zirikukwata era oliggibwawo emirembe gyonna. |
| 11 |
Ku lunaku lwe wayimirira ku mabbali, ku lunaku abayise lwe baanyagaebintu bye n'abagenyi lwe baayingira mu nzigi ze eza wankaaki ne bakuba akalulu ku Yerusaalemi, naawe n'ofaanana ng'omu ku abo. |
| 12 |
Naye totunuulira lunaku lwa muganda wo ku lunaku olw'okugwirwako akabi, so tosanyuka olw'abaana ba Yuda ku lunaku olw'okuzikirira kwabwe; so teweekuza n'akamwa ko ku lunaku olw'akabi. |
| 13 |
Toyingiranga mw luggi olwa wankaaki olw'abantu bange ku lunaku mwe balirabira ennaku; so naawe totunuuliranga kabi kaabwe ku lunaku mwe balirabira ennaku so temukomanga ku bintu byabwe ku lunaku mwe balirabira ennaku. |
| 14 |
So toyimiriranga mu masaŋŋanzira okuzikiriza abantu be abawona; so towangayo bantu be abasigalawo ku lunaku olw'akabi. |
| 15 |
Kubanga olunaku lwa Mukama lusemberedde amawanga gonna: nga bwe wakola bwe kityo bwe kirikukolebwa ggwe; by'okola biridda ku mutwe gwo. |
| 16 |
Kubanga bwe mwanyweranga ku lusozi lwange olutukuvu, bwe kityo amawanga gonna bwe ganaanywanga ennaku zonna; weewaawo, ganaanywanga ganaamiranga galiba ng'agatabangawo. |
| 17 |
Naye ku lusozi Sayuuni kulibaako abawona, era luliba lutukuvu; n'ennyumba ya Yakobo eriba n'ebintu byabwe. |
| 18 |
Era ennyumba ya Yakobo eriba muliro n'ennyumba ya Yusufu eriba lulimi olw'omuliro n'enayumba ya Esawu nsambu, nabo balyaka gye bali, balibazikiriza; so tewaliba muntu wa mu nnyumba ya Esawo alisigalawo; kubanga Mukama ye akyogedde. |
| 19 |
N'olusozi lwa Esawu lulifuuka lw'abo ab'obukiika obwa ddyo; ensi y'Abafirisuuti eriba y'abo ab'ensenyi; era bo balirya ennimiro ya Efulayimu, n'ennimiro ey'e Samaliya: era Gireyaadi eriba ya Benyamini. |
| 20 |
N'abo ab'eggye lino ery'abaana ba Isiraeri abafugibwa obuddu abali mu Bakanani, baliba n'ensi okutuuka ku Zalefaasi; n'abo ab'omu Yerusaalemi abafugibwa obuddu abali mu Sefalaadi baliba n'ebibuga eby'obukiika obwa ddyo. |
| 21 |
Era abalokozi balirinnya ku lusozi Sayuuni basalire olusozi lwa Esawu omusango; n'obwakabaka buliba bwa Mukama. |
| |
|