| |
| 1 |
Awo Koola, mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu, ne Oni, mutabani wa Peresi, batabani ba Lewubeeni, ne batwala abantu: |
| 2 |
ne bagolokoka mu maaso ga Musa, wamu n'abalala ab'oku baana ba Isiraeri, abakulu b'ekibiina bibiri mu ataano, abaayitibwa mu kkuŋŋaaniro, abasajja abaayatiikirira: |
| 3 |
ne beekuŋŋaanyiza ku Musa ne ku Alooni ne babagamba nti Muyinga okwekuza, kubanga ekibiina kyonna kitukuvu, buli muntu ku bo, era Mukama ali mu bo: kale mwegulumiriza ki okusinga ekibiina kya Mukama? |
| 4 |
Awo Musa bwe yakiwulira n'avuunama amaaso ge |
| 5 |
n'agamba Koola ne banne bonna nti Enkya Mukama anaalaga ababe bwe bali, n'omutukuvu bw'ali, era anaamusembeza gy'ali: oyo gw'anaalonda anaamusembeza gy'ali. |
| 6 |
Mukole bwe muti; muddire ebyoterezo, Koola ne banne bonna; |
| 7 |
muteeke omwo omuliro, mubiteekeko obubaane mu maaso ga Mukama enkya: kale olunaatuuka omvntu Mukama gw'anaalonda ye anaaba omutukuvu: muyinga okwekuza, mmwe batabani ba Leevi. |
| 8 |
Musa n'agamba Koola nti Muwulire nno, mmwe batabani ba Leevi: |
| 9 |
kyali kitono gye muli Katonda wa Isiraeri okubaawula mu kibiina kya Isiraeri, okubasembeza gy'ali; okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso g'ekibiina okubaweereza: |
| 10 |
n'okusembeza ggwe ne bagandabo bonna batabani ba Leevi wamu naawe? era munoonya n'obwakabona? |
| 11 |
Kyemuvudde mukuŋŋaanira ku Mukama ggwe ne banno bonna: ne Alooni ye ani mmwe okumwemulugunyiza? |
| 12 |
Musa n'atuma okuyita Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu: ne bagamba nti Tetujja kwambuka: |
| 13 |
kyali kitono ggwe okutuggya mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki n'otulinnyisa, okututtira mu ddungu, era naye n'okugwanira ne kikugwanira okwefuula omulangira ku ffe? |
| 14 |
Era nate totuleese mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki, so totuwadde busika bwa animiro n'ensuku ez'emizabbibu: oyagala okuggyamu amaaso abantu abo? tetujja kwambuka. |
| 15 |
Awo Musa n'asunguwala nnyo, n'agamba Mukama nti Tossaayo; mwoyo eri ekyabwe ekiweebwayo: sibaggyangako na ndogoyi emu, so sikolaaga bubi n'omu ku bo. |
| 16 |
Musa n'agamba Koola nti Ggwe n'ekibiina kyo, kyonna mubeere mu maaso ga Mukama, ggwe nabo ne Alooni, enkya: |
| 17 |
muddire buli muntu ekyoterezo kye, mubiteekeko obubaane, muleete mu maaso ga Mukama buli muntu ekyoterezo kye, ebyoterezo ebikunu bibiri mu ataano; naawe ne Alooni, buli muntu ekyoterezo kye. |
| 18 |
Ne baddira buli muntu ekyoterezo kye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaakol obubaane, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu wamu ne Musa ne Alooni. |
| 19 |
Koola n'akuŋŋaanyiza ku bo ekibiina kyonna ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira ekibiina kyonna. |
| 20 |
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti |
| 21 |
Mweyawule wakati mu kibiina kino ndyoke mbazikirize mangu ago. |
| 22 |
Ne bavuunama amaaso gaabwe ne bagamba nti Ai Katonda, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, omuntu omu ng'ayonoonye onoosunguwalira ekibiina kyonna? |
| 23 |
Mukama n'agamba Musa nti |
| 24 |
Gamba ekibiina nti Mugolokoke muve ku weema ya Koola, Dasani, ne Abiraamu. |
| 25 |
Musa n'agolokoka n'agenda eri Dasani ne Abiraamu; abakadde ba Isiraeri ne bamugoberera. |
| 26 |
N'agamba eki,biina nti Mbeegayiridde, muve ku weema ez'abantu bano ababi, so temukoma ku kintu kyonna ku byabwe, muleme okuzikirizibwa mu bibi byabwe byonna. |
| 27 |
Awo ne bagolokoka okuva ku nnyumba ya Koola, Dasani, ne Abiraamu, enjuyi zonna: Dasani ne Abiraamu ne bafuluma, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema zaabwe, ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n'abaana baabwe abato. |
| 28 |
Musa n'agamba nti Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama yantuma okukola emirimu gino gyonna; kubanga saayima mu magezi gange nze okugikola. |
| 29 |
Abantu bano bwe balifa ng'abantu bonna bwe bafa bulijjo, oba bwe balijjirwa ng'abantu; bonna bwe bajjirwa; kale Mukama nga teyantuma. |
| 30 |
Naye Mukama bw'anaakola ekigambo ekiggya, ettaka ne lyasama akamwa kaalyo, ne libamira, wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka nga balamu mu bunnya; kale munaategeera ng'abaatu bano banyoomye Mukama. |
| 31 |
Awo olwatuvka, bwe yali ng'agenda okumala okwogera ebigambo ebyo byonna, ettaka ne lyatika eryali wansi weabwe: |
| 32 |
ensi n'eyasama akamwa kaayo, n'ebamira, n'ennyumba zaabwe, n’abantu bonna aba Koola, n'ebintu byabwe byonna |
| 33 |
Bwe batyo bo n'ebyabwe byonna ne bakka nga balamu mu bunnya: ensi n'ebasaanikira, ne bazikirira mu kibiina. |
| 34 |
Isiraeri yonna abaali babeetoolodde ne badduka olw'okulira kwabwe: kubanga baagamba nti Ensi ereme okurumira ffe. |
| 35 |
Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokya abasajja ebibiri mu ataano abaawaayo obubaane. |
| 36 |
Mukama n'agamba Musa nti |
| 37 |
Gamba Eriyazaali mutabaani wa Alooni kabona, aggye ebyoterezo mu muliro, naawe ofuke eyo omuliro; kubaaga bitukuvu; |
| 38 |
ebyoterezo bya baao abaayonoona ku bulamu bwabwe bo, babifuule essowaani eziweesebwa okubikka ku kyoto: kubanga babiwaddeyo mu maaso ga Mukama, kye bibeeredde ebitukuvu: era binaabanga kabonero eri abaana ba Isiraeri. |
| 39 |
Eriyazaal; kabona n'atwala ebyoterezo eby'ebikomo, abo abookeddwa bye bawaddeyo; ne babiweesa okuba ekibikka ku kyoto: |
| 40 |
okuba ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri, munnaggwanga yenna, atali wa zzadde lya Alooni, alemenga okusembera okunyookeza obubaane mu maaso ga Mukama; alemenga okuba nga Koola, era nga banae: Mukama nga bwe yamugamba n'omukono gwa Musa. |
| 41 |
Naye ku lw'enkya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemiilugunyiza Musa ne Alooni nga boogera nti Mwasse abantu ba Mukama. |
| 42 |
Awo olwatuuka, ekibiina bwe kyali kikuŋŋaanidde ku Musa ne ku Alooni, ne batunuulira eweema ey'okusisinkanirangamu: era, laba, ekire nga kigibisseeko, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika. |
| 43 |
Musa ne Alooni ne bajja mu bwenyi bw'eweema ey'okusisinkanirangamu. |
| 44 |
Mukama n'agamba Musa nti |
| 45 |
Mugolokoke muve wakati mu kibiina kino, mbazikirize mangu ago. Ne bavuunama amaaso gaabwe. |
| 46 |
Musa n'agamba Alooni nti Ddira ekyoterezo kyo, oggye omuliro ku kyoto oguteeke omwo, osseeko obubaane, okitwale mangu eri ekibiina, obatangirire: kubanga obusungu bufulumye eri Mukama: kawumpuli atanudde. |
| 47 |
Alooni n'addira nga Musa bwe yayogera, n'adduka n'agenda wakati mu kibiina; era, laba, kawumpuli ng'atanudde mu bantu. |
| 48 |
N'ayimirira wakati w'abafu n'abalamu; kawumpuli n'aziyizibwa. |
| 49 |
N'abo abaafa kawumpuli baali kakumi mu enkumi nnya mu lusanvu, obutassaako abo abaafa olw'ebigambo bya Koola. |
| 50 |
Alooni n'addayo eri Musa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: kawumpuli n'aziyizibwa. |
| |
|