|
|
| 1 |
Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeeye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ettabaaza omusanvu eza zaabu, nti |
| 2 |
Mmanyi ebikolwa byo, n'okufuba kwo n'okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba; |
| 3 |
era olina okugumiikiriza, era waguma olw'erinnya lyange, so tewakoowa. |
| 4 |
Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw'olubereberye. |
| 5 |
Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okolenga ebikolwa eby'olubereberye; bw'otalikola bw'otyo, njija gy'oli, era ndiggyawo ettabaaza yo mu kifo kyayo, bw'otalyenenya. |
| 6 |
Naye kino ky'olina kubanga okyawa ebikolwa by'Abanikolayiti, nange bye nkyawa. |
| 7 |
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda. |
| 8 |
Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Samuna wandiika nti Bw'ati bw'ayogera ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde n'aba omulamu nti |
| 9 |
Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo (naye oli mugagga), n'okuwoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani. |
| 10 |
Totya by'ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu. |
| 11 |
Alina okutu awutire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono kufa kwa kubiri. |
| 12 |
Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Perugamo wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo alina ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, nti |
| 13 |
Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani: era okwata erinnya lyange, so teweegaana kukkiriza kwange era ne mu nnaku za Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, Setaani w'atuula. |
| 14 |
Naye nnina ensonga ku ggwe si nnyingi, kubanga olina eyo abakwata okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okulya ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda |
| 15 |
Era naawe bw'otyo olina abakwata okuyigiriza kw'Abanikolayiti. |
| 16 |
Kale weenenye; naye bw'otalyenenya, njija gy'oli mangu, era ndirwana nabo n'ekitala eky'omu kamwa kange. |
| 17 |
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa, ejjinja ejjeru era ku jjinja kuwandiikiddwako erinnya eriggya: omuntu yenna ly'atamanyi wabula aweebwa: |
| 18 |
Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule, nti |
| 19 |
Mmanyi ebikolwa byo n'okwagala n'okukkiriza n'okuweereza n'okugumiikiriza kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvannyuma nga bingi okusinga eby'olubereberye. |
| 20 |
Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi oli Yezeberi, eyeeyita nnabbi; n'ayigiriza n'akyamya abaddu bange okwendanga, n'okulyanga ebyaweebwa eri ebifaananyi. |
| 21 |
Era nnamuwa ebbanga okwenenya; n'atayagala kwenenya mu bwenzi bwe. |
| 22 |
Laba mmusuula ku kiriri, n'abo abenda naye mu kubonaabona okungi, bwe bateenenya mu bikolwa bye. |
| 23 |
Era n'abaana be ndibatta n'olumbe; ekkanisa zonna ne zitegeera nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima : era ndiwa buli muntu mu mmwe ng'ebikolwa byammwe bwe biri. |
| 24 |
Naye mmwe mbagamba, abasigalawo ab'omu Suwatira, bonna abatalina kuyigiriza kuno, abatamanyi bya buziba bya Setaani, nga bwe boogera; sibateekako mmwe mugugu mulala. |
| 25 |
Wabula kye mulina mukikwatenga, okutuusa lwe ndijja. |
| 26 |
Era awangula n'akwatanga ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero, oyo ndimuwa amaanyi ku mawanga: |
| 27 |
era alibalunda n'omuggo gw'ekyuma, ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika; era nange nga bwe nnaweebwa Kitange; |
| 28 |
era ndimuwa emmunyeenye ey'enkya. |
| 29 |
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. |
| |
|