| |
|
|
| 1 |
Nze ndi muntu oyo eyalaba ennaku olw'omuggo ogw'obusungu bwe. |
| 2 |
Yantwala n'antambuliza mu kizikiza so si mu musana. |
| 3 |
Mazima tata kundeetako mukono gwe okuzibya obudde. |
| 4 |
Omubiri gwange n'eddiba lyange abikadiyizza; amenye amagumba gange. |
| 5 |
Anzimbiddeko n'anneetoolooza omususa n'okulumwa. |
| 6 |
Antuuzizza mu bifo eby'ekizikiza ng'abo abaafa edda. |
| 7 |
Ankomedde n'okuyinza ne siyinza kufuluma; azitoyezza olujegere lwange. |
| 8 |
Weewaawo, bwe nkaaba ne nkuba enduulu okubeerwa, aggalira okusaba kwange. |
| 9 |
Akomedde amakubo gange n'amayinja amateme, akyamizza empitiro zange. |
| 10 |
Ali gye ndi ng'eddubu eteega, ng'empologoma eri mu bifo eby'ekyama. |
| 11 |
Akyamizza olugendo lwange, n'antaagulataagula; ansamaalirizza. |
| 12 |
Anaanudde omutego gwe, n'anteekawo okuba sabbaawa w'akasaale. |
| 13 |
Ayingizizza mu mmeeme yange ebiri mu mufuko gwe. |
| 14 |
Nfuuse eky'okusekererwa eri abantu bange bonna; n'oluyimba lwabwe okuzibya obudde. |
| 15 |
Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza abusinso, |
| 16 |
Era amenye amannyo gange n'oluyinjayinja, ambisseeko evvu. |
| 17 |
Era wayawula emmeeme yange okuba ewala n'emirembe; nneerabira omukisa bwe gufaanana. |
| 18 |
Ne njogera nti Amaanyi gabuze, n'okusuubira kwange okuva eri Mukama. |
| 19 |
Jjukira ennaku zange n'obuyinike bwange, abusinso n'omususa. |
| 20 |
Emmeeme yange ekyabijjukira, era ekutamye mu nda yange. |
| 21 |
Nkijjukira ekyo, kyenvudde mbeera n'okusuubira. |
| 22 |
Kwe kusaasira kwa Mukama ffe obutamalwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. |
| 23 |
Kiba kiggya buli nkya; obwesigwa bwo bungi. |
| 24 |
Mukama gwe mugabo gwange, emmeeme yange bw'eyogera; kyennaava mmusuubira. |
| 25 |
Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya. |
| 26 |
Kirungi omuntu okusuubiranga n'okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng'ateredde. |
| 27 |
Kirungi omuntu okusitula ekikoligo mu buto bwe. |
| 28 |
Atuule yekka asirike, kubanga akimutaddeko. |
| 29 |
Ateeke akamwa ke mu nfuufu oba nga mpozzi wanaabaawo okusuubira. |
| 30 |
Awe ettama lye eri oyo amukuba; akkute okuvumibwa. |
| 31 |
Kubanga Mukama talisuula annaku zonna. |
| 32 |
Kuba newakubadde ng'aleeta obuyinike, naye alikwatibwa ekisa ng'olufulube lw'okusaasira kwe bwe luli. |
| 33 |
Kubanga tagenderera kubonyaabonya newakubadde okuluma abaana b'abantu. |
| 34 |
Okulinnyirira n'ekigere abasibe bonna ab'omu nsi, |
| 35 |
Okukyamya ensonga y'amuntu mu maaso g'oyo ali waggulu ennyo, |
| 36 |
N'okulya ensonga, ebyo Mukama tabisiima. |
| 37 |
Ani oyo ayogera ne kituukirira, Mukama nga takiragidde? |
| 38 |
Mu kamwa k'oyo ali waggulu ennyo temuvaamu ebibi n'ebirungi? |
| 39 |
Omuntu omulamu yeemulugunyiza ki, omuntu olw'okubonerezebwa olw'ebibi bye? |
| 40 |
Tukebere tukeme emitima gyaffe, tulryukire nate eri Mukama. |
| 41 |
Tuyimuse emitima gyaffe wamu n'engalo zaffe eri Katonda mu gulu. |
| 42 |
Tusobezza era tujeemye; tosonyiye. |
| 43 |
Otubisseeko obusungu, n'otuyigganya; osse so tosaasidde. |
| 44 |
Weebisseeko ekire, okusaba kwafe kuleme okugguka okutuukayo. |
| 45 |
Otufudde ng'empitambi n'ebisasiro wakati mu mawanga. |
| 46 |
Abalabe baffe bonna batwasamidde nnyo akamwa kaabwe. |
| 47 |
Entiisa n'obunnya bitutuuseeko, okunyagibwa n'okuzikirira. |
| 48 |
Eriiso lyange likulukuta emigga egy'amazzi olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange. |
| 49 |
Eriiso lyange litonnya, terirekaayo, terita n'akatono, |
| 50 |
Okutuusa Mukama lw'anaatunula wansi n'alaba ng'ayima mu ggulu. |
| 51 |
Eriiso lyange linakuwaza emmeeme yange olw'abawala bonna ab'ekibuga kyange. |
| 52 |
Bancoccedde ddala nnyo ng'ennyonyi, ababa abalabe bange awatali nsonga. |
| 53 |
Bamazeewo obw’amu bwange mu nju ey'ebunnya, era bansuddeko ejjinja. |
| 54 |
Amazzi gaakulukuta ku mutwe gwange; ne njogera nti Mmaliddwawo. |
| 55 |
Nakaabira erinnya lyo, ai Mukama, nga nnyima mu nju ey'obunnya eya wansi ennyo. |
| 56 |
N'owulira eddoboozi lyange; tokisa kutu kwo kussa mukka kwange, okukaaba kwange. |
| 57 |
Wasembera ku lunaku kwe nnakukaabirira: n'oyogera nti Totya. |
| 58 |
Ai Mukama, wawoaa ensonga ez'emmeeme yange; wanunula obulamu bwange. |
| 59 |
Ai Mukama, olabye okujoogebwa kwange; nsalira omusango. |
| 60 |
Olabye eggwanga lyonna lye bawalana, n'enkwe zonna ze bansalira. |
| 61 |
Owulidde okuvuma kwabwe, ai Mukama, n'enkwe zonna ze bansalira; |
| 62 |
Emimwa gy'abo abangolokokerako n'ebyo bye bandowoolezaako okuzibya obudde. |
| 63 |
Tunuulira okutuula kwabwe n'okuyimuka kwabwe; nze ndi luyimba lwabwe, |
| 64 |
Olibasasula empeera, ai Mukama, ng'omulimu bwe guli ogw'emikono gyabwe. |
| 65 |
Olibawa omutima ogukakanyadde, ekikolimo kyo eri bo. |
| 66 |
Olibayigganya n'obusungu, n'obazikiriza okuva wansi w'eggulu lya Mukama. |
| |
|