1 |
Mukama n'abagamba Musa ne Alooni mu nsi ey'e Misiri, ng'ayogera nti Omwezi guno gulibabeerera ogw'olubereberye mu myezi: gulibabeerera omwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka. |
|
| 2 |
Omwezi guno gulibabeerera ogw'olubereberye mu myezi: gulibabeerera omwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka. |
|
| 3 |
Mugambe ekibiina kyonna ekya Isiraeri, nga mwogera nti Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno balyetwalira buli muntu omwana gw'endiga, ng'ennyumba za bajjajja baabwe bwe ziri, omwana gw'endiga buli nnyumba: |
|
| 4 |
era ennyumba bw'ebanga entono nga teemaleewo mwana gw'endiga, kale abeere ne muliraanwa we ali okumpi n'ennyumba ye bamutwale ng'omuwendo gw'emyoyo gy'abantu bwe guli; buli muntu nga bw'alya, mulibalibwa ku mwana gw'endiga. |
|
| 5 |
Omwana gw'endiga gwammwe tegulibaako bulema, omusajja ogwakamala omwaka: muliguggya mu ndiga oba mu mbuzi: |
|
| 6 |
muligutereka okutuusa olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno: ekkurŋŋaaniro lyonna ery'ekibiina kya Isiraeri baligutta lwaggulo. |
|
| 7 |
Era balitwala ku musaayi, baguteeke kumifuubeeto gyombi ne ku kabuno, mu nnyumba mwe baliguliira. |
|
| 8 |
Awo balirya ennyama mu kiro kiri, ng'eyokebwa n'omuliro, n'emigaati egitali mizimbulukuse; baligiriira ku nva ezi,kaawa. |
|
| 9 |
Temugiryangako mbisi, newakubadde enfumbe n'amazzi waIbula enjokye n'omuliro; omutwe gwayo n'ebigere byayo n'eby'omunda byayo. |
|
| 10 |
Nammwe temugiirekangawo okutuusa enkya; naye erekebwako okutuusa enkya muligyokya n'omuliro. Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n'engatto nga ziri mu bigere byammwe, n'omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama. |
|
| 11 |
Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n'engatto nga ziri mu bigere byammwe, n'omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama. |
|
| 12 |
Kubanga ndiyita mu nsi ey'e Misiri mu kiro kiri, ndikuba ababereberye bonna mu nsi ey'e Misiri, omuntu era n'ensolo; era ku bakatonda bonna ab'e Misiri ndisala emisango: nze Mukama. |
|
| 13 |
Awo omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu: nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe ku mmwe okubazikiriza, bwe ndikuba ensi ey'e Misiri. |
|
| 14 |
Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, na mmwe munaalwekuumanga embaga ya Mukama: mu mirembe gyammwe gyonna munaalwekuumanga embaga mu tteeka eritaggwaawo. |
|
| 15 |
Ennaku musanvu mulirya emigaati egitazimbulukuswa; era ne ku lunaku olw'olubereberye munaggyangamu ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya emigaati egizimbulukuswa okuva ku lunaku olw'olubereberye okutuusa olunaku olw'omusanvu, omwoyo ogwo gulisalibwa ku Isiraeri. |
|
| 16 |
Era ku lunaku olw'olubereberye walibabeerera okukuŋŋaana okutukuvu, era ku lunaku olw'omusanvu okukuŋŋaana okutukuvu; emirimu gyonna gyonna gireme ol:ukolebwa mu nnaku ezo, wabula gye yeetaaga buli muntu okulya, egg'o gyokka kye kirungi okukolebwa mmwe. |
|
| 17 |
Mulyekuuma embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa; kubanga ku lunaku luno lwennyini lwe nziyiddemu eggye lyammwe mu nsi ey'e Misiri: kye munaavanga mulwekuuma olunaku luno mu mirembe gyammwe gyonna mu tteeka eritaggwaawo. |
|
| 18 |
Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi olweggulo, mulirya emigaati egitazimbulul:uswa, okutuusa olunaku olw'amakumi abiri mu lumu olweggulo. |
|
| 19 |
Ennaku musanvu ekizimbulukusa tekirirabika mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya ekizimbulukuse, omwoyo ogwo gulisalibwa ku kibiina kya Isiraeri, bw'aliba munnaggwanga oba nga nzaalwa. |
|
| 20 |
Temulyanga ekizimbulukuse; mu bifo byaminwe byonna mulyanga emigaati egitazimbulukuswa. |
|
| 21 |
Musa n'alyoka abayita abakadde bonna aba Isiraeri, n'abagamba nti Mulonde mwetwalire abaana b'endiga ng'ennyumba zammwe bwe ziri, mutte okuyitako. |
|
| 22 |
Nammwe mulitwala omuvumbo gwa ezobu ne munnyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mumansulira ku kabuno n'emifuubeeto gyombi n'omusaayi ogw'omu kibya; temufuluma omuntu yenna mu mulyango ogw'ennyumba ye okutuusa enkya. |
|
| 23 |
Kubanga Mukama aliyita okukuba Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku kabuno ne ku mifuu beeto gyombi, Mukama aliyita ku mulyango, so talireka muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubakuba. |
|
| 24 |
Era mulyekuuma ekigambo ekyo ng'etteeka eri ggwe n'eri abaana bo eritaggwaawo. |
|
| 25 |
Awo bwe muliba mutuuse mu nsi Mukama gy'alibawa, nga bwe yasuubiza, muneekuumanga okuweereza kuna. |
|
| 26 |
Awo olulituuka abaana bammwe bwe balibagamba nti Okuweereza kwammwe kuno amakulu ki? |
|
| 27 |
mulyogera nti Ye ssaddaaka ey'okuyitako kwa Mukama eyayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri bwe yakuba Abamisiri n'awonya ennyumba zaffe. Abantu ne bahutama ne basinza. |
|
| 28 |
Abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola. |
|
| 29 |
Awo olwatuuka mu ttumbi Mukama n'akuba abaana ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo eyatuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow'omusibe eyali mu kkomera; n'embereberye zonna ez'ebisibo. |
|
| 30 |
Falaawo n'agolokoka ekiro, ye n'abaddu be bonna n'Abamisiri bonna; ne waba okukaaba okunene mu Misiri; kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu. |
|
| 31 |
N'abayita Musa ne Alooni ekiro, n'ayogera nti Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera |
|
| 32 |
Mutwale endiga era n'ente zammwe, nga bwe mwayogera, mugende; mumpe omukisa nange. |
|
| 33 |
N'Abamisiri ne babakubiriza abantu, okubanguyiriza okuva mu nsi; kubanga baayogera nti Tufudde fenna. |
|
| 34 |
Abantu ne batwala obutta bwabwe nga tebunnaba kuzimbulukusibwa, ebibbo byabwe eby'okugoyeramu nga bisibiddwa mu ngoye zaabwe ku bibegabega byabwe. |
|
| 35 |
Abaana ba Isiraeri ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ne basaba Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, n'engoye: |
|
| 36 |
Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa bye baasaba. Ne banyaga Abamisiri. |
|
| 37 |
Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu Lameseesi okutuuka mu Sukkosi, ng'obusiriivu mukaaga abaatambula n'ebigere abasajja, era n'abaana. |
|
| 38 |
Era n'ekibiina ekya bannaggwanga ne balinnya wamu nabo; n'endiga n'ente, ebisibo bingi nnyo. |
|
| 39 |
Ne bookya emigaati egitazimbulukuswa n'obutta bwe baggya mu Misiri, kubanga bwali nga tebunnassibwamu ekizimbulukusa; kubanga baagobebwa mu Misiri nga tebayinza kulwa, so baali tebannaba kwefumbira mmere yonna: |
|
| 40 |
N'okutuula kw'abaana ba Isiraeri, kwe baatuula mu Misiri, gyali emyaka ebikumi bina . mu asatu. 41 Awo olwatuuka emyaka ebikumi ebina mu asatu nga giyise, ku lunaku luli eggye lyonna erya Mukama ne liryoka liva mu Misiri. |
|
| 41 |
Awo olwatuuka emyaka ebikumi ebina mu asatu nga giyise, ku lunaku luli eggye lyonna erya Mukama ne liryoka liva mu Misiri. |
|
| 42 |
Kye kiro ekisaanira okukyekuuma ennyo eri Mukama okubafulumya mu nsi ey'e Misiri: ekyo kye kiro kiri ekya Mukaxna ekisaanira abaana bonna aba Isiraeri okukyekuumanga ennyo mu mirembe gyabwe gyonna. |
|
| 43 |
Mukama n'abagamba Musa ne Alooni nti Lino lye tteeka ery'okuyitako: munnaggwanga yenna talyangako: |
|
| 44 |
naye buli muddu w'omuntu agulibwa n'ebintu, bw'anaamalanga okumukomola, n'alyoka alyako. |
|
| 45 |
Omugenyi n'omuwereeza aweebwa empeera tebalyangako. |
|
| 46 |
Mu nnyumba emu mw'eneeriirwanga; totwalanga bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo; so temumenyanga ggumba lyayo. |
|
| 47 |
Ekibiina kyonna ekya Isiraeri balikukwata. |
|
| 48 |
Era munnaggwanga bw'anaasulanga ewuwo, ng'ayagala okwekuuma okuyitako eri Mukama, abasajja be bonna bakomolebwenga, alyoke asembere akwekuume; anaabeeranga ng'enzaalwa: naye ataakomolebwenga yenna talyangako. |
|
| 49 |
Walimubeerera etteeka limu enzaalwa n'omugenyi asula omumwe. |
|
| 50 |
Bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri bonna; nga Mukama bwe yabalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola. |
|
| 51 |
Awo ku lunaku luli Mukama n'alyoka aggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri mu ggye lyabwe. |
|
| |
|
|