| 1 |
Era weesembereze gy'oli Alooni muganda wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri, ampeereze mu bwakabona, Alooni, Nadabu, ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali, abaana ba Alooni. |
|
| 2 |
Era olimukolera Alooni muganda wo ebyambalo ebitukuw olw'ekitiibwa n'olw'obulungi. |
|
| 3 |
Era olibagamba bonna abalina omutima ogw'amagezi, be nnajjuza omwoyo ogw'amagezi, bakole ebyambalo ebya Alooni okumutukuza, ampeereze mu bwa kabona. |
|
| 4 |
Bino bye byambalo bye balikola; eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'ekizibawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba: era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo, n'abaana be, ampeereze mu bwakabona. |
|
| 5 |
Era balitwala ezaabu eyo, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu,n'olumyufu,nebafuta. |
|
| 6 |
Era balikola ekkanzu ne zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omukozi ow'amagezi. |
|
| 7 |
Eribeerako eby'oku bibegabega bibiri ebigattiddwa ku nkomerero zaayo ebbiri; egattibwe wamu. |
|
| 8 |
N'olukoba olulangiddwa n'amagezi, oluli ku yo okugisiba, lulyenkanankana n'omulimu gwayo, lwa lugoye lumu; olwa zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa. |
|
| 9 |
Era olitwala amayinja abiri aga onuku, n'oyolako amannya g'abaana ba Isiraeri: |
|
| 10 |
amannya gaabwe mukaaga ku jjinja erimu, n'amannya gaabwe mukaaga abasigaddeyo ku jjinja ery'okubiri, nga bwe bazaaiibwa. |
|
| 11 |
Mu mulimu gw'omusazi w'amayinja, ng'okuyola okw'oku kabonero, bw'olyola amayinja abiri, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri: oligeetoolooza amapeesa aga zaabu. |
|
| 12 |
Era oliteeka amayinja abiri ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukiza eri abaana ba Isiraeri: era Alooni alisitula amannya gaabwe mu maaso ga Mukama ku bibegabega bye ebibiri ng'ekijjukizo. |
|
| 13 |
Era olikola amapeesa aga zaabu: |
|
| 14 |
n'emikuufu ebiri egya zaabu ennungi; ng'emigwa bw'oligikola, mu mulimu ogulangibwa: era olisiba emikuufu egirangiddwa ku mapeesa. |
|
| 15 |
Era olikola eky'omu kifuba eky'omusango, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi: ng'omulimu ogw'ekkanzu bw'olikikola; ekya zaabu, ekya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, bw'olikikola. |
|
| 16 |
Kiryenkanankana enjuyi zonna, ekifunyemu; kiribeera luta obuwanvu bwakyo, n'oluta obugazi bwakyo. |
|
| 17 |
Era olikitonamu amayinja ag'okutona, ennyiriri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, topazi, ne kabunkulo lwe lulibeera olunnyiriri olw'olubereberye; |
|
| 18 |
n'olunnyiriri olw'okubiri lya nawandagala, safiro, ne alimasi; |
|
| 19 |
n'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, ne sebu, ne amesusito; |
|
| 20 |
n'olunnyiriri olw'okuna berulo, ne onuku, ne yasipero: galyetooloozebwa zaabu we gaato nebwa. |
|
| 21 |
N'amayinja galibeera ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; ekkumi n'abiri, ng'amannya gaabwe; ng'okuyola okw'oku kabonero, buli muntu ng'erinnya lye, galibibeerera ebika ekkumi n'ebibiri. |
|
| 22 |
Era olikola ku kyomukifuba emikuufu ng'emigwa, egy'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi. |
|
| 23 |
Era olikola ku kyomukifuba empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka empeeta ebbiri ku nsonda ebbiri ez'ekyomukifuba. |
|
| 24 |
Era oliteeka emikuufu ebiri egirangibwa egya zaabu ku mpeta ebbiri ku nsonda ez'ekyomukifuba. |
|
| 25 |
N'enkomerero ebbiri endala ez'emikuufu egirangibwa ebbiri oliziteeka ku mapeesa abiri, n'ogateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso. |
|
| 26 |
Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi ez'ekyomukifuba; ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu inunda. |
|
| 27 |
Era olikola empeta bbiri eza zaabu, noziteeka ku by'oku bibegabega ebibiri eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi. |
|
| 28 |
Era balisiba eky'omukifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era ekyomukifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu. |
|
| 29 |
Era Alooni anaasituliranga amannya g'abaana ba Isiraeri mu kyomuikifuba eky'omusango ku mutima gwe, bw'anaayingiranga mu watukuvu, olw'okujjukiza mu maaso ga Mukama ennaku zonna. |
|
| 30 |
Era oliteeka mu kyomukifuba eky'omusango limu ne Suminu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama: ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna. |
|
| 31 |
Era olikola omunagiro ogw'omu kkanzu gwonna gwa kaniki. |
|
| 32 |
Era gulibeera n'ekituli wakati waagwo eky'omutwe: gulibeera n'olukugiro olw'omulimu ogulangibwa okwetooloola ekituli kyagwo, ng'ekituii eky'ekizibawo eky'ekyuma, guleme okuyuzibwa. |
|
| 33 |
Era ku birenge byagwo olikolako amakomamawanga aga kaniki, n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, okwetooloola ebirenge byagwo; n'endege eza zaabu wakati waago okwetooloola: |
| 34 |
endege eya zaabu n'ekkomamawanga, endege eya zaabu n'ekkomamawanga, ku birenge eby'omunagiro okwetooloola. |
|
| 35 |
Era gunaabanga ku Alooni okuweererezaamu: n'eddoboozi lyagwo linaawulirwanga bw'anaayingiranga mu watukuvu mu maaso ga Mukama, era bw'anaafulumanga, aleme okufa. |
|
| 36 |
Era olikola akapande aka zaabu ennungi, n'oyolako, ng'enjola ez'akabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA. |
|
| 37 |
N'okateeka ku kagoye aka kaniki, era kanaabeeranga ku kiremba; ku luuyi olw'omu maaso olw'ekiremba kwe kanaabeeranga. |
| 38 |
Era kanaabeeranga ku kyenyi kya Alooni, ne Alooni anaasitulanga obubi bw'ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye banaatukuzanga mu birabo byabwe byonna ebitukuvu; era kanaabeeranga ku kyenyi kye ennaku zonna, balyoke bakkirizibwe mu maaso ga Mukama. |
|
| 39 |
Era oliruka ekizibawo eky'akatimba ekya bafuta ennungi, era olikola ekiremba ekya bafuta ennungi, era olikola olukoba, omulimu ogw'omudaliza. |
|
| 40 |
Era abaana ba Alooni olibakolera ebizibawo, era olibakolera enkoba, n'obakolera n'enkufiira, olw'ekitiibwa n'olw'obulungi. |
|
| 41 |
N'obiteeka ku Alooni muganda wo, ne ku baana be awamu naye; n'obafukako amafuta, n'ojjuza emikono gyabwe, n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona. |
| 42 |
Era olibakolera seruwale za lugoye okubikka ku mubiri ogw'obwereere bwabwe; ziriva mu kiwato okukoma mu bisambi: |
|
| 43 |
era zinaabeeranga ku Alooni, ne ku baana be, bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza mu watukuvu; baleme okusitula obubi, n'okufa: kinaabeeranga kiragiro emirembe gyonna eri ye n'eri ezzadde lye eririmuddirira. |
|
| |
|
|