| 1 |
Ne kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne babikoza ebyambalo ebyalangibwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ne bakolera Alooni ebyambalo ebitukuvu Mukama nga bwe yalagira Musa: |
| 2 |
N'akola ekkanzu eya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, erangiddwa. |
| 3 |
Ne baweesa zaabu, ne bagifuula ebipaapi, ne bagikomolamu obunyere, okugirunga mu kaniki, ne mu lugoye olw'effulungu, ne mu lumyufu, ne mu bafuta ennungi, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi. |
| 4 |
Ne bagikolako eby'okubibegabega ebyagattibwa yagattibwa ku nsonda zaayo zombi. |
| 5 |
N'olukoba olw'alangibwa n'amagezi, olwagiriko, okugisibyanga, lwali lwa lugoye lumu nayo era omulimu gwalwo gwafaanaaa nga yo; lwa zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, a'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 6 |
Ne balongoosa amayinja aga onuku, ne gayingizibwa mu mapeesa aga zaabu, ne gasalibwako ng'akabonero bwe kasalibwa, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri bwe gaali. |
| 7 |
N'agateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukizanga eri abaana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 8 |
N'akola ekyomukifuba, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi oku faanana ag'omulimu ogw'ekkanzu; kya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa. |
| 9 |
Kyenkanankana enjuyi zonna; ekyomukifuba baakifunyamu: obuwanvu bwakyo luta, n'obugazi bwakyo luta, nga kifunyiddwamu. |
| 10 |
Ne bakiteekamu ennyiziri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, ne topazi, ne kabunkulo lwe Iwali olunnyiriri olw'olubereberye. |
| 11 |
N'olunnyiriri olw'okubiri ejjinja erya nnawa ndagala, safiro, ne alimasi. |
| 12 |
N'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, sebu, ne amesusito. |
| 13 |
N'olunnyiriri olw'okuna berulo, oauku, ne yasipero: geetooloozebwa zaabu we gatonebwa. |
| 14 |
Amayinja ne gaba ng'amannya g'abaana ba Isiraeri, ekkumi n'abiri, ag'amannya gaabwe; ng'akabonero bwe kasalibwa, buli muntu ng'erinnya lye, ebika ekkumi n'ebibiri. |
| 15 |
Ne bakola ku kyomukifuba emikuufu ng'emigwa, obw'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi. |
| 16 |
Ne bakola amapeesa abiri aga zaabu, n'empeta bbiri eza zaabu; ne bateeka empeta ebbiri ku nsonda zombi ez'ekyomukifuba. |
| 17 |
Ne bateeka emikuufu gyombi obwa zaabu obulangibwa ku mpeta zombi ku nkomerero ez'ekyomukifuba. |
| 18 |
N'enkomerero zombi endala ez'emikuufu gyombi egirangibwa ne baziteeka ku mapeesa gombi, ne bagateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso. |
| 19 |
Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteekaku nsonda zombi ez'ekyomukifuba, ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda. |
| 20 |
Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku by'okubibegabega byombi eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'amagezi. |
| 21 |
Ne basiba eky'omukifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era ekyomukifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu; nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 22 |
N'akola omunagiro ogw'omu kkanzu gwa mulimu ogulangibwa, gwa kaniki gwonna; |
| 23 |
n'ekituli eky'omunagiro wakati mu gwo, ng'ekituli eky'ekizibawo eky'ekyuma, nga guliko olukugiro okwetooloola ekituli kyagwo, guleme okuyuzibwa. |
| 24 |
Ne bakola ku birenge by'omunagiro amakomamawanga aga kaniki n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, n'aga bafuta erangiddwa. |
| 25 |
Ne bakola endege eza zaabu ennungi, ne bateeka endege wakati w'amakomamawanga ku birenge by'omunagiro okwetooloola, wakati w'amakomamawanga; |
| 26 |
endege n'ekkomamawanga, endege n'ekkomamawanga, ku bireage by'omunagiro okwetooloola, okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 27 |
Ne bakolera Alooni ebizibawo ebya bafuta ennungi eby'omulimu ogulangibwa, n'abaana be, |
| 28 |
n'ekiremba ekya bafuta ennungi, n'enkuufiira ennungi eza bafuta ennungi, ne seruwale eza bafuta ennungi erangiddwa, |
| 29 |
n'olukoba olwa bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, omulimu ogw'omudaliza; nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 30 |
Ne bakola akapande ak'oku ngule entukuvu aka zaabu ennungi, ne bakawandiikako abigambo, ng'ebiwandiikibwa ku kabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA. |
| 31 |
Ne bakasibako akagoye aka kaniki, okukasiba ku kiremba waggulu; nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 32 |
Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu ne guggwa: era abaana ba Isiraeri baakola nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe baakola bwe batyo. |
| 33 |
Ne bagireetera Musa ennyumba, Eweema, n'ebintu byayo byonna, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; |
| 34 |
n'eky'okubikkako eky'amaliba g'endiga eza seddume amannyike amamyufu, n'eky'okubikkako eky'amaliba g'eŋŋonge, n'eggigi eryawulamu; |
| 35 |
essanduuko ey'obujulirwa, n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'okusaasira; |
| 36 |
emmeeza, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga; |
| 37 |
ekikondo ekirongoofu, eby'ettabaaza byakyo, bye by'ettabaaza eby'okulongoosebwanga, n'ebintu byakyo byonna, n'amafuta ag'ettabaaza; |
| 38 |
n'ekyoto ekya zaabu, n'amafuta ag'okufukangako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'eweema; |
| 39 |
ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; |
| 40 |
eby'okutimba eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byalwo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya, emigwa gyalwo, n'enninga zaalwo, n'ebintu byonna eby'okuweereza okw'omu nnyumba, eby'eweema ey'okusisinkanirangamu; |
| 41 |
ebyambalo ebyakolebwa obulungi eby'okuweererezangamu mu watukuvu, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweererezangamu mu bwakabona. |
| 42 |
Nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baakola omulimu gwonna. |
| 43 |
Musa n'alaba omulimu gwonna, era, laba, baali nga bagumaze; nga Mukama bwe yalagira, bwe batyo bwe baali bagukoledde ddala: Musa n'abasabira omukisa. |
| |
|