1 |
Ne Bamalayika babiri ne batuuka e Sodomu akawungeezi; ne Lutti yali atudde mu mulyango ogw'e Sodoma: Lutti n'abalaba, n'agolokoka okubasisinkana; n'avuunama amaaso ge
|
| 2 |
n'ayogera nti Laba nno, bakama bange, mwekooloobye, mbegayiridde, mu nnyumba ey'omuddu wammwe, musule okukeesa obudde, munaabe ebigere, mukeere enkya okugolokoka, mwegendere. Ne boogera nti Nedda; naye tunaasula mu luguudo okukeesa obudde. |
| 3 |
N'abawaliriza nnyo; ne beekooloobya ewuwe, ne bayingira mu nyumba ye; n'abafumbira embaga, n'ayokya omugaati ogutazimbulukuswa, ne, balya. |
| 4 |
Naye nga tebanneebaka, abasajja ab'omu kibuga, ab'e Sodoma, ne bazingiza ennyumba, abato era n'abakulu, abantu bonna nga bavudde mu bifo byonna: |
| 5 |
ne bayita Lutti, ne bamugamba nti Abasajja bali ludda wa abayingidde ewuwo ekiro kino? obafulumye gye tuli, tubamanye. |
| 6 |
Lutti n'afuluma gye bali mu mulyango, n'aggalawo oluggi ennyuma we. |
| 7 |
N'ayogera nti Mbeegayiridde, baganda bange, temukola bubi obwenkanidde wano. |
| 8 |
Laba nno, nnina abaana abawala babiri, abatamanyanga musajja; ka mbafulumye labo gye muli, mbeegayiridde, nammwe mubakole nga bwe kiri ekirungi mu maaso gammwe: naye abasajja abo temubakola kigambo; kubanga batuuse wansi w'ekisiikirize eky'akasolya kange. |
| 9 |
Ne boogera nti Vaawo. Ne boogera nti Olusajja luno lwayingira okuba omugenyi, naye kirugwanira okuba omulamuzi: kaakano tunakukola ggwe bubi okusinga abo. Ne bamunyigiriza nnyo omusajja, ye Lutti, ne basembera okumenya oluggi. |
| 10 |
Naye abasajja ne bagolola emikono, ne bayingiza Lutti mu nnyumba mwe baali, ne baggalawo oluggi. |
| 11 |
Ne bazibya amaaso g'abasajja abaali ku luggi, abato era n'abakulu: n'okwekooya ne beekooya nga banoonya oluggi. |
| 12 |
Abasajja ne bagamba Lutti nti Olina nate wano abalala? mukoddomi wo, n'abaana bo, ab'obulenzi n'ab'obuwala, ne bonna b'olina mu kibuga; bafulumye mu kifo muno: |
| 13 |
kubanga tunaazikiriza ekifo kino, kubanga okukaaba kwabwe kweyongedde nnyo mu maaso ga Mukama; era Mukama yatutumye okukizikiriza. |
| 14 |
Lutti n'afuluma n'ayogera ne bakoddomi be, abaawasa abawala be, n'agamba nti Mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama anaazikiriza ekibuga. Naye yaliŋŋanga asaaga eri bakoddomi be. |
| 15 |
Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bamwanguyiriza Lutti, nga boogera nti Golokoka, otwale mukazi wo, n'abaana bo abawala bombi abali wano: oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu obw'ekibuga. |
| 16 |
Naye n’alwa; abasajja ne bamukwata ku mukono gwe, ne ku mukono gwa mukazi we, ne ku mukono gw'abaana be abawala bombi; Mukama ng'atusaasira: ne bamuggyamu, ne bamuleeta ebweru w'ekibuga. |
| 17 |
Awo bwe baamala okubaggiramu ddala, n'ayogera nti Dduka oleme okufa; totunula nnyuma wo, so tolwa mu lusenyi lwonna; ddukira ku lusozi, oleme okuzikirizibwa. |
| 18 |
Lutti n'abagamba nti Nedda, mukama wange, nkwegayiridde: |
| 19 |
laba nno, omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, era ogulumizizza okusaasira kwo, kw'ondaze ng'omponya nneme okufa; ne siyinza kuddukira ku lusozi luno, akabi kaleme okuntuukako ne nfa: |
| 20 |
laba nno, ekibuga ekyo kwe kumpi okukiddukiramu, era kye kibuga ekitono: nkwegayiridde, nzirukire omwo, (si kitono?), n'obulamu bwange buliwona. |
| 21 |
N'amugamba nti Era nkukkirizza ne mu kigambo ekyo, obutasuula kibuga ky'oyogeddeko. |
| 22 |
Yanguwako, oddukire omwo; kubanga siyinza kukola kigambo, nga tonnatuuka omwo. Erinnya ly'ekibuga kyeryava liyitibwa Zowaali. |
| 23 |
Enjuba yali ng'emaze okuvaayo ku nsi Lutti bwe yatuuka mu Zowaali. |
| 24 |
Mukama n'alyoka atonnyesa ku Sodoma ne ku Ggomola omuliro n'ekibiriiti nga biva mu ggulu; |
| 25 |
n'asuula ebibuga ebyo, n'olusenyi lwonna, n'abo bonna abaatuulanga mu bibuga, n'ebyo ebyamera ku ttaka. |
| 26 |
Naye mukazi we n'atunula ennyuma we ng'amuvaako ennyuma, n'afuuka empagi ey'omunnyo. |
| 27 |
Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya n'agenda mu kifo mwe yayimirira mu maaso ga, Mukama: |
| 28 |
n'atunuulira e Sodoma n'e Ggomola, n'eri ensi yonna ey'olusenyi, n'alengera, era, laba, omukka ogw'ensi ne gunyooka ng'omukka ogw'ekikoomi. |
| 29 |
Awo, Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby'omu lusenyi, Katonda n'ajjukira Ibulayimu n'asindika Lutti ave wakati mu bibuga ebyasuulibwa, bwe yasuula ebibuga Lutti mwe yali atuula. |
| 30 |
Lutti n'alinnya n'ava mu Zowaali, n'atuula ku lusozi, n'abaana be abawala bombi naye; kubanga n'atya okutuula mu Zowaali: n'atuula mu mpuku, n'abaana be abawala bombi. |
| 31 |
N'omubereberye n'agamba omuto nti Kitaffe akaddiye, so tewali musajja mu nsi aliyingira gye tuli ng'empisa y'ensi zonna bw'eri: |
| 32 |
kale, tunywese kitaffe omwenge, naffe tunaasula naye, tukuume ezzadde lya kitaffe. |
| 33 |
Ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omubereberye n'ayingira, n'asula ne kitaawe; n'atamanya bwe yagalamira, newakubadde bwe yagolokoka. |
| 34 |
Awo ku lunaku olwaddako, omubereberye n'agamba omuto nti Laba, ekiro nasuze ne kitange: era tumunywese omwenge n'ekiro kino; naawe n'oyingira, n'osula naye, tukuume ezzadde lya kitaffe. |
| 35 |
Era ne banywesa kitaabwe omwenge n'ekiro ekyo: omuto n'agolokoka, n'asula naye; n'atamanya bwe yagalamira, newakubadde bwe yagolokoka. |
| 36 |
Bwe batyo abaana ba Lutti bombi abawala ne baba embuto za kitaabwe. |
| 37 |
Omubereberye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Moabu: oyo ye jjajja w'Abamoabu ne kaakano. |
| 38 |
Era n'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benami: oyo ye jjajja w'abaana ba Amoni ne kaakano. |
| |
|