1 |
Ibulayimu yali akaddiye, ng'ayitiridde obukadde: era Mukama yawanga Ibulayimu omukisa mu bigambo byonna. |
|
| 2 |
Ibulayimu n'agamba omuddu we, omukulu w'ennyumba ye, eyafuganga byonna bye yalina, nti Nkwegayiridde, ssa omukono gwo wansi w'ekisambi kyange; |
|
| 3 |
nange naakulayiza Mukama, Katonda w'eggulu era Katonda w'ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani, be ntuulamu: |
|
| 4 |
naye oligenda mu nsi yange, era eri baganda bange, omuwasize omwana wange Isaaka omukazi. |
|
| 5 |
Omuddu n'amugamba nti Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange okutuuka mu nsi eno: kirignwanira okuzza omwana wo mu asi gye wavaamu? |
|
| 6 |
Ibulayimu n'amugamba nti Tozzangayo mwana wange n'akatono. |
|
| 7 |
Mukama, Katonda w'eggulu, eyanziya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi mwe nnazaalirwa, era eyayogera nange, nandayirira, ng'agamba nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno; oyo alituma malayika we okukukulembera, naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva eyo. |
|
| 8 |
N'omukazi bw'aliba nga takkirizza kujja naawe, kale nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange kino; kino kyokka, obutamuzzaayo mwana wange. |
|
| 9 |
Omuddu n'assa omukono gwe wansi w'ekisambi kya Ibulayimu mukama we, n'amulayirira mu kigambo ekyo. |
|
| 10 |
Omuddu n'atwala eŋŋamira kkumi, ez'omu ŋŋamira za mukama we, ne yeegendera; ng'alina ebintu byonna ebirungi ebya mukama we mu ngalo ze: n'agolokoka, n'agenda mu Mesopotamiya, mu kibuga kya Nakoli. |
|
| 11 |
N'afukamiza eŋŋamira ebweru w'ekibuga awali oluzzi lw'amazzi obudde nga buwungeera, obudde nga butuuse abakazi we baafulumi ranga okusena amazzi. |
|
| 12 |
N'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu. |
|
| 13 |
Laba, nnyimiridde ku nsulo z'amazzi; n'abaana abawala b'ab'omu kibuga bafuluma okusena amazzi: |
|
| 14 |
kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti Sena ensuwa yo, nkwegayiridde, nnywe; naye anaagamba nti Nnywa, nange nnaanywesa n'enhamira zo: oyo abeere oyo gwe walagirira omuddu wo Isaaka; era bwe ntyo bwe nnaategeera ng'olaze ekisa mukama wange. |
|
| 15 |
Kale olwatuuka, bwe yali ng'akyayogera, laba, Lebbeeka n'afuluma, eyazaalirwa Bessweri omwana wa Mirika; mukazi wa Nakoli, muganda wa Ibulayimu, ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye. |
|
| 16 |
N'omuwala yali mulungi nnyo okulaba, omuwala omuto, so nga tewali musajja eyamumanya: n'aserengeta ku nsulo, n'ajjuza ensuwa ye, n'ayambuka. |
|
| 17 |
Omuddu n'addukana mbiro okumusisinkana, n'ayogera nti Onnywese, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo. |
|
| 18 |
N'ayogera nti Nywa, mukama wange: n'ayanguwa n'assa ensuwa ye ku mukono gwe, n’amunywesa. |
|
| 19 |
Awo bwe yamala okumunywesa, n'ayogera nti Nnaasenera n'eŋŋamira zo zinywe zikkute. |
|
| 20 |
N'ayanguwa n'afuka ensuwa ye mu kyesero, n'addukana nate ku luzzi okusena, n'asenera eŋŋamira ze zonna. |
|
| 21 |
Omusajja n'amwekaliriza amaaso, ng'asirise, okutegeera nga Mukama awadde olugendo Iwe omukisa oba nga tawadde. |
|
| 22 |
Awo olwatuuka, eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta eya zaabu obuzito bwayo kitundu kya sekeri, n'emisagga egy'okubanga ku mikono gye obuzito bwagyo sekeri kkumi eza zaabu; |
|
| 23 |
n'ayogera nti Ggwe oli mwana w'ani? mbuulira, nkwegayiridde. Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ebbanga ffe okusula omwo? |
|
| 24 |
N'amugamba nti Nze ndi mwana wa Bessweri omwana wa Mirika, gwe yazaalira Nakoli. |
|
| 25 |
Era nate n'amugamba nti Tulina essubi era n'ebyokulya ebinaazimala, era n'ebbanga ery'okusulamu |
|
| 26 |
Omusajja n'akutama, n'asinza Mukama. |
|
| 27 |
N'ayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ataleka kusaasira kwe n'amazima ge eri mukama wange: nze, Mukama annuŋŋamizza mu kkubo eri ennyumba ya baganda ba mukama wange. |
|
| 28 |
Omuwala n'addukana, n'abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ng'ebigambo ebyo bwe biri. |
|
| 29 |
Era Lebbeeka yalina mwannyina, erinnya lye Labbaani: Labbaani, n'afuluma n'adduka okusisinkana omusajja awali oluzzi. |
|
| 30 |
Awo olwatuuka, bwe yalaba empeta, n'emisagga egyali ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya Lebbeeka mwaanyina, ng'ayogera nti Bw'atyo omusajja bw'aŋŋambye; n'ajja eri omusajja; era, laba, yali ng'ayimiridde mu mbiriizi z'eŋŋamira awali ensulo. |
|
| 31 |
N'ayogera nti Yingira ggwe Mukama gw'awadde omukisa; kiki ekikuyimirizza ebweru? kubanga nteeseteese ennyumba, n'ekifo eky'eŋŋamira. |
|
| 32 |
Omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'asumulula eŋŋamira; n'awa essubi n'ebyokulya eby'ennamira, n'amazzi okunaaza ebigere bye n'ebigere by'abasajja abaali naye. |
|
| 33 |
Ne bateeka emmere mu maaso ge alye: naye n'ayogera nti Siirye nga sinnayogera bye nnatumibwa. N'ayogera nti Yogera. |
|
| 34 |
N'ayogera nti Nze ndi muddu wa Ibulayimu |
|
| 35 |
Era Mukama yawanga mukama wange omukisa mungi; era afuuse omukulu: era yamuwa embuzi n'ente, ne ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamira n'endogoyi. |
|
| 36 |
Ne Saala mukazi wa mukama wange n’azaalira! mukama wange omwana bwe yali ng'akaddiye: era oyo n'amuwa. byonna by'alina. |
|
| 37 |
Ne mukama wange n'andayiza, ag'ayogera nti Toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Abakanani, be ntuulira mu nsi yaabwe: |
|
| 38 |
naye oligenda eri ennyumba ya kitange, n'eri baganda bange, owasize omwana wange omukazi. |
|
| 39 |
Ne ŋŋamba mukama wange nti Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange. |
|
| 40 |
N'aŋŋamba nti Mukama, gwe ntambulira, mu maaso ge, alituma malayika we wamu naawe, aIiwa olugendo lwo omukisa; naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva mu baganda bange, ne mu nnyumba ya kitange: |
|
| 41 |
bw'otyo tolibaako musango olw'ekirayiro kyange, bw'olituuka mu baganda bange; nabo bwe batalikuwa mukazi, ggwe nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange. |
|
| 42 |
Leero ne njija awali oluzzi, ne njogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, bw'onoowa kaakano omukisa olugendo lwange lwe ŋŋenda: |
|
| 43 |
laba, nnyimiridde awali ensulo y'amazzi; kale kibeere bwe kiti; omuwala anaafuluma okusena, gwe nnaagamba nti Ompe, nkwegapiridde, otuzzi mu nsuwa yo nnywe: |
|
| 44 |
naye anaŋŋnamba nti nywa ggwe, era nze naasenera n'eŋŋamira zo: oyo abeere oyo Mukama gwe yalagirira omwana wa mukama wange. |
|
| 45 |
Bwe mbadde nga nkyayogera mu mutima gwange, laba, Lebbeeka n'afuluma ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye: n'aserengeta ku nsulo, n’asena: ne mmugamba nti Nnywe, nkwegayiridde. |
|
| 46 |
N'ayanguwa, n'assa ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n'ayogera nti Nywa, nange naanywesa n'eŋŋamira zo: ne nnywa, naye n'anywesa n'eŋŋamira. |
|
| 47 |
Ne mmubuuza ne njogera nti Ggwe oli mwana w'ani? N'ayogera nti Mwana wa Bessweri, omwana wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira: ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'emisagga ku mikono gye. |
|
| 48 |
Ne nkutama, ne nsinza Mukama, ne nneebaza Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, eyannuŋŋamya mu kkubo lyeanyini okuwasiza omwana we omwana wa mwannyina mukama wange. |
|
| 49 |
Ne kaakaano bwe munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mumbuulire; era bwe mutakkirize, mumbuulire; ndyoke nkyukire ku mukono ogwa ddyo, oba ku gwa kkono. |
|
| 50 |
Labbaani ne Bessweri ne balyoka baddamu ne boogera nti Ekigambo ekyo kivudde eri Mukama: tetuyinza kukubuulira bibi newakubadde ebirungi. |
|
| 51 |
Laba, Lebbeeka ali mu maaso go, mutwale, ogende, abeere mukazi w'omwana wa mukama wo, Mukama aga bw'ayogedde. |
|
| 52 |
Awo olwatuuka, omuddu wa Ibulayimu bwe yawuiira ebigambo ebyo, n'avuunama eri Mukama, |
|
| 53 |
Omuddu n'aleeta amakula aga ffeeza n'amakula aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Lenbeeka: era n'awa ne mwannyina ne nayina ebintu eby'omuwendo omungi. |
|
| 54 |
Ne balya ne banywa; ye n'abasajja abaali naye, ne basula ne bakeesa obudde; ne bagolokoka enkya, n'ayogera nti Munsiibute yende eri mukama wange. |
|
| 55 |
Ne mwannyina ne nnyina ne boogera nti Omuwala abeere naffe amale eanaku si nnyingi, ekkumi oba kusingawo; alyoke agende. |
|
| 56 |
N'abagamba nti Tondwisa, kubanga Mukama awadde omukisa olugendo lwange; munsiibule ŋŋende eri mukama wange. |
|
| 57 |
Ne boogera nti Tunaayita omuwala, tumubuuze mu kamwa ke. |
|
| 58 |
Ne ayita Lebbeeka, ne bamugamba Onoogenda n'omusajja ono? N'ayogera nti Nnaagenda. |
|
| 59 |
Ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n'omulenzi we, n'omuddu wa Ibulayimu, n'abasajja be. |
|
| 60 |
Ne basabira Lebbeeka omukisa, ne bamugamba nti Mwannyinaffe, beeranga nnyina w’abantu obukumi enkumi n’ezzadde lyo liryenga omulyango gw’abo ababakyawa. |
|
| 61 |
Lebbeeka n’agolokoka n’abazaana be, ne beebagala ku ŋŋamirane bagenda n’omusajja: omuddu n’atwala Lebeeka ne yeegendera. |
|
| 62 |
Isaaka najja ng’ava mu kkubo ery’e Beerirakairoi: kubanga yali atuula mu nsi ey’obukiika obwa ddyo. |
|
| 63 |
Isaaka n'afuluma okufumiitiriza mu nnimiro akawungeezi : n'ayimusa amaaso ge, n'atula, era, laba, eŋŋamira nga zijja. |
|
| 64 |
Lebbeeka n'ayimusa amaaso ge, era bwe yalaba Isaaka, n'ava kuŋŋamira. |
|
| 65 |
N'agamba omuddu nti Musajja ki oyo atambulira mu ninniro okutusisinkaana? Omuddu n’ayogera nti Ye mukama wange: n’addira olugoye lwe olubikka mu maaso ne yeebikkako. |
|
| 66 |
Omuddu n’abuulira Isaaka byonna bye yakola |
|
| 67 |
Isaaka n'amuleeta mu nnyumba nnyina Saala, n'awasa Lebbeeka, n'aba mukazi we; n'amwagala: Isaaka n'asanyusibwa nnyina bwe yamala okufa. |
|
| |
|
|