| 1 |
N'awulira ebigambo by'abatabani ba Labbaani, nga boogera nti Yakobo byonna ebyali ebya kitaffe abimuggyeeko; era mu ebyo ebyali ebya kitaffe mw'afunidde ekitiibwa ekyo kyonna. |
| 2 |
Yakobo n'alaba amaaso ga Labbaani, era laba, nga tegakyafaanana gy'ali ng'olubereberye. |
| 3 |
Mukama n'agamba Yakobo nti Ddayo mu nsi ya bajjajja bo, era eri baganda bo; nange naabeeranga wamu naawe. |
| 4 |
Yakobo n'atuma n'ayita Laakeeri ne Leeya bajje mu ddundiro awali ekisibo kye, |
| 5 |
n'abagamba nti Ndabye amaaso ga kitammwe nga tegakyafaanana gye ndi ng'olubereberye; naye Katonda wa kitange yabeeranga nange. |
| 6 |
Era mumanyi nga naweerezanga kitammwe n'amaanyi gange gonna. |
| 7 |
Era kitammwe yannimba, n'awaanyisanga empeera yange emirundi kkumi; naye Katonda teyamuganya kunkola bubi. |
| 8 |
Bwe yayogeranga bw'ati nti Eza bujagijagi ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza bujagijagi: era bwe yayogeranga bw'ati nti Eza biwuuga ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga. |
| 9 |
Bw'atyo Katonda ensolo za kitammwe yazimuggyako n'aziwa nze. |
| 10 |
Awo olwatuuka mu biro ekisibo bwe kyawaka amawako, ne nnyimusa amaaso gange, ne ndabira mu kirooto, era, laba, embuzi ennume ezaalinnyira ekisibo zaali za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo. |
| 11 |
Malayika wa Katonda n'aŋŋambira mlt kirooto nti Yakobo: ne njogera nti Nze nzuuno. |
| 12 |
N'ayogera nti Yimusa kaakaao amaaso go, olabe, embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo: kubanga ndabye byonna Labbaani by'akukolera. |
| 13 |
Nze Katonda w'e Beseri, gye wafukira amafuta ku mpagi, gye wanneeyamira obweyamo: kaakano golokoka, ove mu nsi eno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu. |
| 14 |
Laakeeri ne Leeya ne baddamu ne bamugamba nti Tukyalina omugabo oba busika mu anyumba ya kitaffe? |
| 15 |
Tetubalibwa nga bannaggwanga gy'ali? kubanga yatutunda, era n'ebintu byaffe abiriiridde ddala. |
| 16 |
Kubanga obugagga bwonna Katonda bw'aggye ku kitaffe, bwe bwaffe era bwa baana baffe: kale kaakano, kyonna Katonda ky'akugambye, kikole. |
| 17 |
Yakobo n'alyoka agolokoka, ne yeebagaza abaana be ne bakazi be ku ŋŋamira; |
| 18 |
n'atwala naye ebisibo bye byonna, n'ebintu byonna bye yali akuŋŋaanyizza, ebisibo bye yali afunye, bye yakuŋŋaanyiza mu Padanalaamu, agende eri Isaaka kitaawe mu nsi ya Kanani. |
| 19 |
Labbaani yali agenze okusala ebyoya by'endiga ze: Laakeeri n'abba baterafi ba kitaawe. |
| 20 |
Yakobo n'agenda mu kyama Labbaani Omusuuli nga tamanyi, kubanga teyamubuuIira ng'adduka. |
| 21 |
Bw'atyo n'adduka ne byonna bye yalina; n'agolokoka n'awunguka omugga, n'akyusa amaaso ge eri olusozi olwa Gireyaadi. |
| 22 |
Ne babuulira Labbaani ku lunaku olw'okusatu nga Yakobo yadduka. |
23 |
N'atwala naye baganda be, n’amugoberera olugendo lwa nnaku musaavu; n'amutuukako ku lusozi Gireyaadi. |
| 24 |
Katonda n'ajjira Labbaani Omusuuli mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi. |
| 25 |
Labbaani n'atuuka ku Yakobo. Yakobo yali asimbye eweema ye ku lusozi; ne Labbaani ne baganda be ne basimba ku lusozi Gireyaadi. |
| 26 |
Labbaani n'agamba Yakobo nti Wakola ki, okugenda ekyama nga simanyi, n'otwalira ddala abaana bange ng'abaanyagibwa n'ekitala? |
| 27 |
Kiki ekyakuddusa ekyama ng'onkisa ng'ogenda; n'otombuulira, ndyoke nkusiibule n'ekinyumu n'ennyimba, n'ebitaasa n'ennanga; |
| 28 |
n'otoŋŋanya kunywegera batabani bange ne bawala bange? kaakano okoze kya busirusiru. |
| 29 |
Kiri mu buyinza bw'omukono gwange okukukola obubi: naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro, nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi. |
| 30 |
Ne kaakano oyagala nnyo okugenda, kubanga olumirwa nnyo ennyumba ya kitaawo, (naye) kyewava obba bakatonda bange kiki? |
| 31 |
Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti Kubanga natya: kubanga nayogera nti Oleme okunziyako bawala bo olw'empaka. |
| 32 |
Buli gw'onoolaba ng'alina bakatoada bo, taabe mulamu: mu maaso ga baganda baffe yawulamu ebibyo ebiri ewange, obyetwalire. Kubanga Yakobo yali tamanyi nga Laakeeri ye yababba. |
| 33 |
33 Labbaani n'ayingira mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey'abazaana bombi; naye n'atabalaba. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu weema ya Laakeeri. |
| 34 |
Laakeeri yali atutte baterafi, n'abassa mu matandiiko g'eŋŋamira, n'abatuulako. Labbaani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabalaba. |
| 35 |
N'agamba kitaawe nti Mukama wange aleme okusunguwala kubanga siyinza kukuyimirira w'oli kubanga ndi mu mpisa, y'abakazi. N'anoonya, naye n'atalaba baterafi. |
| 36 |
Yakobo n'asunguwala, n'ayomba ne Labbaani: Yakobo n'addamun'agambaLabbaani nti Nsobezza ki? Nkoze kibi' ki ekikungoberesezza embiro? |
| 37 |
Kubanga oyazizza ebintu byange byonna, kiki ky'olabye kul bintu byonna eby'omu nnyumba yo? Kiteeke wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo, batusalire omusango fembi. |
| 38 |
Emyaka egyo abiri nabeeranga naawe; endiga zo n'embuzi zo enkazi tezisowolanga, n'ennume ez'omu kisibo kyo siziryanga. |
| 39 |
Eyataagulwanga ensolo saakuleeteranga; nze nnafiirwanga eyo; wagivunaa nanga mu mukono gwange, obanga yabbibwanga misana oba yabhibwanga kiro. |
| 40 |
Bwe nnaabeeranga bwe ntyo; emisana omusana gwanzigwerangako, n'ekiro empewo; n'otulo twambulanga mu maaso gange. |
| 41 |
Emyaka egyo abiri nabeeranga mu nnyumba yo; nakuweererezanga emyaka kkumi n'ena olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga olw'ekisibo kyo; naawe wawaanyisanga empeera yange emirundi kkumi. |
| 42 |
Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Ibulayimu, era Entiisa ya Isaaka, teyabeeranga nange, kaakano tewandiremye kunsindika bwereere. Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kw'emikono gyange, n'akujunga ekiro. |
| 43 |
Labbaani n'addamu n'agamba Yakobo nti Abawala be bawala bange, n'abaana be baana bange, n'ebisibo by'ebisibo byange, ne byonna by'olaba bye byange: ne leero nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba baana baabwe be baazaala? |
| 44 |
Kale nno kaakano, tulagaane endagaano, nze naawe; ebeerenga omujulirwa eri nze naawe. |
| 45 |
Yakobo n'addira ejjinja, n'alisimba okuba empagi. |
| 46 |
Yakobo n'agamba baganda be nti Mukuŋŋaanye amayinja; ne baddira amayinja, ne bagatuuma entuumu: ne baliira awo awali entuumu. |
| 47 |
Labbaani n'agituuma erinnya Yegalusakadusa: naye Yakobo n'agituuma Galeedi. |
| 48 |
Labbaani n'ayogera nti Entuumu eno ye mujulirwa eri nze naawe leero. Erinnya lyayo kyeryava libeera Galeedi: |
| 49 |
era Mizupa, kubanga yayogera nti Mukama atunulenga wakati wange naawe, bwe tuliba aga tetukyalabagana. |
| 50 |
Bw'onoobonyaabonyanga abaana bange, era bw'onoowasanga abalala awali abaana bange, tewali muntu ali naffe; laba, Katonda ye muiulirwa wakati wange naawe. |
| 51 |
Labbaani n'agamba Yakobo nti Laba entuumu eno, era laba n'empagi eno, gye nsimbye wakati wange naawe. |
| 52 |
Entuumu eno eneebeeranga omujulirwa, n'empagi ebeerenga omujulirwa, nga nze siriyita ku ntuumu eno okugenda gy'oli, era nga naawe toliyita ku ntuumu eno n'empagi eno okujja gye ndi, okukola obubi. |
| 53 |
Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe, alamule wakati waffe. Yakobo n'alayira Entiisa ya kitaawe Isaaka. |
| 54 |
Yakobo n'aweerayo saddaaka ku lusozi, n'ayita baganda be okulya emmere: ne balya emmere, ne babeera ku lusozi ne bakeesa obudde. |
| 55 |
Awo enkya mu makya Labbaani n'agolokoka, n'anywegera batabani be ne bawala be n'abasabira omukisa: Labbaani n'agenda, n'addayo mu kifo ye. |
| |
|